Olubereberye
37 Yakobo ne yeeyongera okubeera mu nsi ya Kanani kitaawe gye yabeeranga ng’omugwira.+
2 Bino bye byafaayo bya Yakobo.
Yusufu+ bwe yali nga wa myaka 17, yali alunda endiga+ n’abaana ba Biruka+ ne Zirupa+ baka kitaawe. Yusufu n’abuulira kitaawe ebintu ebibi baganda be bye baali bakola. 3 Isirayiri yali ayagala nnyo Yusufu okusinga batabani be+ abalala bonna kubanga yamuzaala mu bukadde bwe; era yali yamutungisiza ekyambalo ekiwanvu ekirabika obulungi. 4 Baganda be bwe baalaba nga kitaabwe amwagala nnyo okusinga baganda be abalala bonna, ne bamukyawa era ne baba nga tebakyayogera naye mu mirembe.
5 Oluvannyuma Yusufu yaloota ekirooto n’akibuulira baganda be,+ ne beeyongera okumukyawa. 6 N’abagamba nti: “Muwulire ekirooto kino kye nnaloose. 7 Twabadde tusiba ebinywa mu nnimiro, ekinywa ekyange ne kisituka ne kyesimba era ebinywa byammwe ne bikyetooloola ne bikivunnamira.”+ 8 Baganda be ne bamugamba nti: “Ky’otegeeza ogenda kwefuula kabaka waffe, oba nti olitufuga?”+ Ne beeyongera okumukyawa olw’ebirooto bye n’olw’ebyo bye yayogera.
9 N’aloota ekirooto ekirala n’akibuulira baganda be, n’agamba nti: “Nnaloose ekirooto ekirala. Ku luno nnalabye enjuba, omwezi, n’emmunyeenye 11 nga binvunnamira.”+ 10 N’akibuulira kitaawe ne baganda be. Kitaawe n’amunenya, n’amugamba nti: “Ekirooto kyo ekyo kitegeeza ki? Nze ne nnyoko ne baganda bo tulijja ne tukuvunnamira?” 11 Baganda be ne bamukwatirwa obuggya,+ naye kitaawe n’akikuumira mu birowoozo bye.
12 Baganda be ne bagenda okulunda ebisibo bya kitaabwe okumpi ne Sekemu.+ 13 Bwe waayitawo ekiseera Isirayiri n’agamba Yusufu nti: “Baganda bo tebalundira bisibo okumpi ne Sekemu? Jjangu nkutume gye bali.” Awo n’amuddamu nti: “Ndi mwetegefu okugenda!” 14 N’amugamba nti: “Genda olabe obanga baganda bo bali bulungi era olabe n’ebisolo bwe biri, okomewo ombuulire.” Bw’atyo n’amutuma okuva mu kiwonvu ky’e Kebbulooni,+ n’ayolekera e Sekemu. 15 Oluvannyuma omusajja n’amusanga ng’atambulatambula ku ttale, n’amubuuza nti: “Onoonya ki?” 16 N’amuddamu nti: “Nnoonya baganda bange. Nkwegayiridde mbuulira; balundira wa ebisibo?” 17 Omusajja n’amugamba nti: “Eno baavuddeyo, kubanga nnabawulidde nga bagamba nti: ‘Tugende e Dosani.’” Awo Yusufu n’agoberera baganda be n’abasanga e Dosani.
18 Awo ne bamulengera ng’akyali walako, era bwe yali nga tannabatuukako ne beekobaana okumutta. 19 Ne bagambagana nti: “Laba! Ssekalootera+ wuuli ajja. 20 Mujje tumutte tumusuule mu kimu ku binnya; tujja kugamba nti ensolo enkambwe yamulya. Tunaalaba ebirooto bye bwe binaatuukirira.” 21 Lewubeeni+ bwe yawulira ekyo n’agezaako okumuwonya baleme kumukolako kabi. Bw’atyo n’agamba nti: “Tetumutta.”+ 22 Lewubeeni n’ayongera n’abagamba nti: “Temuyiwa musaayi.+ Mumusuule mu kinnya kino ekiri mu ddungu, naye temumukolako kabi.”*+ Yali agenderera kumuwonya baleme kumukolako kabi, asobole okumuzzaayo eri kitaawe.
23 Yusufu olwali okutuuka awaali baganda be, ne bamwambulamu ekyambalo kye ekirabika obulungi kye yayambalanga.+ 24 Ne bamutwala ne bamusuula mu kinnya. Mu kiseera ekyo ekinnya kyali kikalu nga tekiriimu mazzi.
25 Awo ne batuula wansi okulya. Bwe baayimusa amaaso, ne balaba ekibinja ky’Abayisimayiri+ abaali bava e Gireyaadi nga bagenda e Misiri, era ng’eŋŋamira zaabwe zeetisse amasanda agawunya obulungi,* ne basamu, n’ebikuta by’emiti egy’amasanda.+ 26 Awo Yuda n’agamba baganda be nti: “Kinaatugasa ki okutta muganda waffe ne tukisa okufa kwe?+ 27 Mujje tumuguze+ Abayisimayiri tuleme kumukolako kabi kubanga muganda waffe era musaayi* gwaffe.” Ne bawuliriza muganda waabwe. 28 Awo abasuubuzi Abamidiyaani+ bwe baali bayitawo, baganda ba Yusufu ne bamuggyayo mu kinnya ne bamuguza Abayisimayiri ebitundu bya ffeeza 20.+ Abasajja abo ne batwala Yusufu e Misiri.
29 Lewubeeni bwe yaddayo ku kinnya n’asanga nga Yusufu taliimu, n’ayuza ebyambalo bye. 30 Bwe yaddayo eri baganda be abalala, n’abagamba nti: “Omwana taliimu! Kale nze nnaakola ntya?”
31 Awo ne batta embuzi ennume, ne baddira ekyambalo kya Yusufu ne bakinnyika mu musaayi gwayo. 32 Bwe baamala ne baweereza ekyambalo eri kitaabwe ne bagamba nti: “Kino kye twasanze. Kebera olabe obanga kino kye kyambalo ky’omwana wo.”+ 33 N’akikebera, n’agamba nti: “Kye kyambalo ky’omwana wange! Ensolo enkambwe eteekwa okuba nga yamulidde! Mazima ddala Yusufu yataaguddwataaguddwa!” 34 Awo Yakobo n’ayuza ebyambalo bye, ne yeesiba ekibukutu mu kiwato n’akungubagira mutabani we okumala ennaku nnyingi. 35 Batabani be ne bawala be bonna ne bamubudaabudanga, naye n’agaana okubudaabudibwa ng’agamba nti: “Ndikka emagombe*+ nga nkyakaabira omwana wange!” Bw’atyo kitaawe n’ayongera okumukaabira.
36 Abamidiyaani ne bamutunda e Misiri, ne bamuguza Potifaali omukungu wa Falaawo+ eyali omukulu w’abakuumi.+