Lukka
21 Awo n’ayimusa amaaso n’alaba abagagga nga basuula ebirabo byabwe mu busanduuko obusuulibwamu ssente.+ 2 Era n’alaba ne nnamwandu omwavu ng’asuulamu obusente bubiri obw’omuwendo omutono ennyo,*+ 3 n’agamba nti: “Mazima mbagamba nti, nnamwandu oyo omwavu ataddemu kingi okusinga abalala bonna.+ 4 Kubanga abo bonna ebirabo bye bataddemu bye bibadde bibafikkiridde, naye ye wadde ng’ali mu bwetaavu,* ataddemu byonna by’abadde alina.”+
5 Oluvannyuma, abamu bwe baali boogera ku ngeri yeekaalu gye yayooyootebwa n’amayinja amalungi n’ebintu ebyaweebwayo eri Katonda,+ 6 n’agamba nti: “Ebintu ebyo bye mulaba, ennaku zijja ejjinja lwe litalisigala ku linnaalyo; gonna galisuulibwa wansi.”+ 7 Awo ne bamubuuza nti: “Omuyigiriza, ebintu ebyo biribaawo ddi, era kabonero ki akaliraga ekiseera ebintu ebyo we biribeererawo?”+ 8 N’agamba nti: “Mwekuume muleme okubuzaabuzibwa;+ kubanga bangi balijjira mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze nzuuyo,’ era nti, ‘Ekiseera ekirindirirwa kinaatera okutuuka.’ Temubagobereranga.+ 9 Ate era bwe muwuliranga entalo n’obwegugungo,* temutyanga. Kubanga ebintu ebyo birina okusooka okubaawo, naye enkomerero terijja mangu ago.”+
10 Ate era n’abagamba nti: “Eggwanga lirirumba eggwanga,+ n’obwakabaka bulirumba obwakabaka.+ 11 Walibaawo musisi ow’amaanyi, era walibaawo enjala n’endwadde ez’amaanyi+ mu bifo ebitali bimu. Walibaawo ebintu ebitiisa era n’obubonero obw’amaanyi obuva mu ggulu.
12 “Naye ebyo byonna nga tebinnabaawo, abantu balibakwata ne babayigganya,+ era ne babawaayo mu makuŋŋaaniro ne mu makomera. Mulitwalibwa mu maaso ga bakabaka ne bagavana olw’erinnya lyange,+ 13 era ekyo kiribawa akakisa okuwa obujulirwa. 14 N’olwekyo, mumalirire mu mitima gyammwe obutasookanga kwegezaamu bwe muliwoza,+ 15 kubanga ndibawa ebigambo n’amagezi abalabe bammwe bonna bye bataliyinza kuziyiza oba kuwakanya.+ 16 Ate era bazadde bammwe ne baganda bammwe n’ab’eŋŋanda zammwe ne mikwano gyammwe balibawaayo,* era balitta abamu ku mmwe;+ 17 era mulikyayibwa abantu bonna olw’erinnya lyange.+ 18 Kyokka tewali na lumu ku nviiri ez’oku mitwe gyammwe olulizikirira.+ 19 Bwe muligumiikiriza, muliwonyaawo obulamu bwammwe.+
20 “Kyokka bwe muliraba Yerusaalemi nga kyetooloddwa amagye,+ awo mumanyanga nti okuzikirizibwa kwakyo kunaatera okutuuka.+ 21 Abo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi,+ abalikibaamu bakivangamu, n’abo abaliba mu byalo tebakiyingirangamu; 22 kubanga zino ziriba nnaku za kuwoolera ggwanga, ebintu byonna ebyawandiikibwa bisobole okutuukirizibwa. 23 Mu kiseera ekyo, zirisanga abakazi abaliba embuto n’abo abaliba bayonsa!+ Kubanga walibaawo obuyinike obw’amaanyi mu nsi era abantu bano balibonerezebwa. 24 Balittibwa n’ekitala era balitwalibwa mu mawanga gonna nga basibe.+ Yerusaalemi kijja kulinnyirirwa amawanga okutuusa ebiseera ebigereke eby’amawanga lwe biriggwaako.+
25 “Era walibaawo obubonero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye;+ era ku nsi amawanga galiba mu bulumi era nga tegamanyi kya kukola olw’okuyira n’okufuukuuka kw’ennyanja. 26 Abantu balizirika olw’okutya n’olw’okweraliikirira ebintu ebigenda okutuuka ku nsi, kubanga amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa. 27 Awo baliraba Omwana w’omuntu+ ng’ajjira mu kire ng’alina amaanyi n’ekitiibwa kingi.+ 28 Naye ebintu bino bwe biritandika okubaawo, muyimiriranga busimba ne muyimusa emitwe gyammwe, kubanga okununulibwa kwammwe kuliba kunaatera okutuuka.”
29 Awo n’abawa ekyokulabirako ng’agamba nti: “Mutunuulire omutiini n’emiti emirala gyonna.+ 30 Bwe gitojjera mumanya nti ekiseera eky’omusana kinaatera okutuuka. 31 Bwe kityo nammwe bwe mulabanga ebintu bino nga bibaawo, mumanyanga nti Obwakabaka bwa Katonda buli kumpi. 32 Mazima ddala mbagamba nti omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu byonna bimaze okubaawo.+ 33 Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo.+
34 “Mwekuumenga emitima gyammwe gireme kwemalira ku kulya n’okunywa+ n’okweraliikirira eby’obulamu,+ olunaku olwo ne lubagwako bugwi 35 ng’ekyambika.+ Kubanga lujja kutuuka ku abo bonna abali ku nsi. 36 Kale mutunulenga,+ nga musabanga ekiseera kyonna+ musobole okuyita mu bintu ebyo byonna ebijja okubaawo, era musobole n’okuyimirira mu maaso g’Omwana w’omuntu.”+
37 Emisana yayigirizanga mu yeekaalu, naye ekiro yagendanga n’abeera ku lusozi oluyitibwa Olusozi olw’Emizeyituuni. 38 Era abantu bonna bajjanga mu yeekaalu ku makya okumuwuliriza.