Ekyamateeka
8 “Ebiragiro byonna bye mbawa leero mufeeyo nnyo okubikwata, musobole okweyongera okuba abalamu,+ mwale era mugende mutwale ensi Yakuwa gye yalayirira bajjajjammwe.+ 2 Jjukira olugendo oluwanvu Yakuwa Katonda wo lw’akutambuzza emyaka gino 40 mu ddungu,+ okukutoowaza n’okukugezesa+ amanye ekiri mu mutima gwo,+ obanga onookwatanga ebiragiro bye. 3 Yakutoowaza n’akuleka okulumwa enjala,+ n’akuliisa emmaanu,+ ggwe ne bakitaabo gye mwali mutamanyi, akuyigirize nti omuntu taba mulamu lwa mmere yokka, naye aba mulamu olwa buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.+ 4 Ebyambalo byo tebikaddiye era n’ebigere byo tebizimbye emyaka gino 40.+ 5 Okimanyi bulungi mu mutima gwo nti Yakuwa Katonda wo abaddenga akugolola ng’omuntu bw’agolola omwana we.+
6 “Kale kwatanga ebiragiro bya Yakuwa Katonda wo ng’otambulira mu makubo ge era ng’omutya. 7 Kubanga Yakuwa Katonda wo akutwala mu nsi ennungi,+ ensi erimu emigga, ensulo, n’enzizi z’amazzi agakulukutira mu nsenyi ne mu bitundu eby’ensozi, 8 ensi ey’eŋŋaano, ne ssayiri, n’emizabbibu, n’emitiini, n’enkomamawanga;+ ensi ey’amafuta g’ezzeyituuni n’omubisi gw’enjuki,+ 9 ensi omutajja kuba bbula lya mmere era mw’otojja kubaako ky’ojula; ensi erimu amayinja omuva ekyuma era n’ensozi mw’ojja okusima ekikomo.
10 “Bw’olyanga n’okkuta, otenderezanga Yakuwa Katonda wo olw’ensi ennungi gy’akuwadde.+ 11 Weegendereze oleme kwerabira Yakuwa Katonda wo n’otokwata biragiro bye n’amateeka ge bye nkuwa leero. 12 Bw’olyanga n’okkuta, era n’ozimba amayumba amalungi n’ogabeeramu,+ 13 n’amagana go n’ebisibo byo ne byala, ne ffeeza ne zzaabu n’ebintu byo byonna ne byala, 14 tofunanga amalala mu mutima gwo+ ne weerabira Yakuwa Katonda wo eyakuggya mu nsi ya Misiri, mu nnyumba ey’obuddu,+ 15 eyakuyisa mu ddungu eddene era ery’entiisa+ omuli emisota n’enjaba eby’obusagwa era eririmu ettaka ekkalu omutali mazzi. Yakuggira amazzi mu lwazi olugumu,+ 16 era yakuliisa emmaanu+ mu ddungu, bakitaabo gye baali batamanyi, akutoowaze+ era akugezese osobole okuganyulwa mu biseera eby’omu maaso.+ 17 Bw’ogambanga mu mutima gwo nti, ‘Obuyinza bwange n’amaanyi g’omukono gwange bye binsobozesezza okufuna obugagga buno,’+ 18 ojjukiranga nti Yakuwa Katonda wo y’akuwa amaanyi agakusobozesa okufuna eby’obugagga,+ alyoke atuukirize endagaano gye yalayirira bajjajjaabo, nga bwe kiri leero.+
19 “Naye bw’olyerabira Yakuwa Katonda wo n’ogoberera bakatonda abalala n’obaweereza era n’obavunnamira, nkulabula leero nti ojja kusaanawo.+ 20 Okufaananako amawanga Yakuwa g’azikiriza mu maaso go, naawe bw’otyo bw’olisaanawo kubanga oliba towulirizza ddoboozi lya Yakuwa Katonda wo.+