Ekyamateeka
13 “Bwe wabangawo mu mmwe nnabbi oba omuntu alagula ng’ayitira mu birooto n’akuwa akabonero oba n’abaako ky’alagula, 2 akabonero ako oba ekyo ky’alagudde ne kituukirira, n’akugamba nti, ‘Ka tugoberere bakatonda abalala, bakatonda b’otomanyi era tubaweereze,’ 3 towulirizanga bigambo bya nnabbi oyo oba omuloosi w’ebirooto+ oyo, kubanga Yakuwa Katonda wammwe abagezesa+ okumanya obanga mwagala Yakuwa Katonda wammwe n’omutima gwammwe gwonna n’obulamu bwammwe bwonna.+ 4 Yakuwa Katonda wammwe gwe muba mugoberera era gwe muba mutya era ebiragiro bye bye muba mukwata era eddoboozi lye lye muba muwuliriza; ye gwe muba muweereza era gwe muba munywererako.+ 5 Naye nnabbi oyo oba omuloosi w’ebirooto oyo attibwanga,+ kubanga anaabanga abagambye okujeemera Yakuwa Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ya Misiri era eyabanunula mu nnyumba ey’obuddu. Omuntu oyo akuggya mu kkubo Yakuwa Katonda wo lye yakulagira okutambulirangamu; oggyangawo ekibi mu mmwe.+
6 “Singa muganda wo, omwana wa nnyoko, oba mutabani wo oba muwala wo oba mukazi wo gw’oyagala ennyo oba mukwano gwo nfiirabulago, agezaako okukusendasenda mu kyama ng’agamba nti, ‘Tugende tuweereze bakatonda abalala,’+ bakatonda b’otomanyi era ne bajjajjaabo be baali batamanyi, 7 abamu ku bakatonda b’amawanga agakwetoolodde, ka gabe ago agakuli okumpi oba ago agakuli ewala, okuva ku luuyi olumu olw’ensi okutuuka ku lulala, 8 tokkirizanga by’akugamba era tomuwulirizanga;+ tomukwatirwanga kisa, era tomusaasiranga wadde okumuzibira, 9 naye omuttanga.+ Ggwe onoosookanga okumukuba amayinja okumutta, n’abalala bonna ne balyoka bamukuba amayinja.+ 10 Omukubanga amayinja n’afa,+ kubanga anaabanga agezezzaako okukukyusa okuva ku Yakuwa Katonda wo eyakuggya mu nsi ya Misiri, mu nnyumba ey’obuddu. 11 Kale Isirayiri yonna eneewuliranga n’etya, era tewali n’omu mu mmwe aliddamu kukola kintu kibi ng’ekyo.+
12 “Bw’owuliranga mu kimu ku bibuga byo Yakuwa Katonda wo by’agenda okukuwa obeeremu nga bagamba nti, 13 ‘Abasajja abatalina mugaso bavudde mu mmwe okukyamya abantu b’omu kibuga kyabwe nga bagamba nti: “Ka tugende tuweereze bakatonda abalala,” bakatonda be mutamanyi,’ 14 oneekenneenyanga n’onoonyereza era n’obuuliriza n’obwegendereza ku nsonga eyo;+ era bwe kinaakakasibwanga nti kituufu, nti ekintu ekyo eky’omuzizo kikoleddwa wakati mu ggwe, 15 ottanga abantu b’omu kibuga ekyo n’ekitala.+ Ekibuga ne byonna ebikirimu n’ensolo zaamu obizikirizanga.+ 16 Okuŋŋaanyizanga omunyago gwakyo gwonna wakati mu kibangirizi kyakyo n’oyokya ekibuga, era omunyago gwakyo gunaabanga ekiweebwayo ekiramba eri Yakuwa Katonda wo. Ekibuga kijja kufuuka ntuumu ya bifunfugu emirembe n’emirembe. Tekiddangamu okuzimbibwa nate. 17 Totwalanga ku bintu ebiba byawuddwawo okuzikirizibwa,+ Yakuwa alyoke akomye obusungu bwe, akukwatirwe ekisa, akusaasire, era akwaze nga bwe yalayirira bajjajjaabo.+ 18 Kubanga olina okugondera* Yakuwa Katonda wo ng’okwata ebiragiro bye byonna bye nkuwa leero, osobole okukola ekituufu mu maaso ga Yakuwa Katonda wo.+