Okuva
32 Abantu ne balaba nga Musa aluddewo okukka okuva ku lusozi.+ Ne bakuŋŋaanira awali Alooni ne bamugamba nti: “Situka otukolere katonda anaatukulemberamu,+ kubanga tetumanyi kituuse ku musajja ono Musa, eyatuggya mu nsi ya Misiri.” 2 Awo Alooni n’abagamba nti: “Muggye eby’oku matu ebya zzaabu+ ku matu g’abakyala bammwe ne batabani bammwe ne bawala bammwe mubindeetere.” 3 Abantu bonna ne baggya eby’oku matu ebya zzaabu ku matu gaabwe ne babitwalira Alooni. 4 Alooni n’abaggyako zzaabu, n’amukolamu ekifaananyi* ky’ennyana+ ng’akozesa ekyuma ekyola. Abantu ne batandika okugamba nti: “Isirayiri, ono ye Katonda wo eyakuggya mu nsi ya Misiri.”+
5 Alooni bwe yalaba ekyo, n’azimba ekyoto mu maaso g’ennyana, oluvannyuma n’alangirira nti: “Enkya wajja kubaawo okukwata embaga ya Yakuwa.” 6 Ku lunaku olwaddako ne bagolokoka ku makya nnyo ne batandika okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka ez’emirembe. Abantu ne batuula, ne balya, ne banywa, oluvannyuma ne bayimuka okwesanyusaamu.+
7 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Genda, serengeta, kubanga abantu bo be waggya mu nsi ya Misiri beeyonoonye.+ 8 Bavudde mangu mu kkubo lye nnabalagira okutambuliramu.+ Beekoledde ekifaananyi* ky’ennyana; bakivunnamira era bawaayo ssaddaaka gye kiri nga bwe bagamba nti, ‘Isirayiri, ono ye Katonda wo eyakuggya mu nsi ya Misiri.’” 9 Yakuwa era n’agamba Musa nti: “Nkirabye nti abantu bano bakakanyavu.*+ 10 Kale kaakano, leka obusungu bwange bubabuubuukire mbazikirize, ggwe nkufuule eggwanga eddene.”+
11 Awo Musa ne yeegayirira Yakuwa Katonda we+ ng’agamba nti: “Ai Yakuwa, lwaki obusungu bwo bubuubuukira abantu bo ng’omaze okubaggya mu nsi ya Misiri ng’okozesa obuyinza obungi n’omukono ogw’amaanyi?+ 12 Bw’onookikola Abamisiri bajja kugamba nti: ‘Yabaggya e Misiri ng’alina ekigendererwa ekibi. Yali ayagala kubattira mu nsozi era abasaanyizeewo ddala mu nsi.’+ Leka obusungu bwo weerowooze* oleme kutuusa kabi ku bantu bo. 13 Jjukira Ibulayimu, Isaaka, ne Isirayiri, abaweereza bo be walayirira n’obagamba nti: ‘Ndyaza ezzadde lyammwe ng’emmunyeenye ez’oku ggulu,+ era ensi eno yonna gye nnonze ndigiwa ezzadde lyammwe ebeere yaabwe emirembe n’emirembe.’”+
14 Awo Yakuwa ne yeerowooza* n’aleka akabi ke yali agambye okuleeta ku bantu be.+
15 Awo Musa n’akyuka, n’aserengeta okuva ku lusozi ng’akutte mu mukono+ gwe ebipande by’amayinja ebibiri eby’Obujulirwa.+ Ebipande by’amayinja byali biwandiikiddwako ku njuyi zaabyo zombi; byali biwandiikiddwako mu maaso n’emabega. 16 Ebipande by’amayinja ebyo Katonda ye yabikola, era n’ebigambo ebyaliko Katonda ye yabyolako.+ 17 Yoswa bwe yawulira amaloboozi g’abantu abaleekaana, n’agamba Musa nti: “Mpulira oluyoogaano lw’olutalo mu lusiisira.” 18 Naye Musa n’amuddamu nti:
“Ago si maloboozi ga kuyimba olw’okuwangula,*
Era si maloboozi ga kukungubaga olw’okuwangulwa;
Amaloboozi ge mpulira ga kuyimba kwa ngeri ndala.”
19 Musa bwe yatuuka okumpi n’olusiisira n’alaba ennyana+ n’abazina, obusungu bwe ne bubuubuuka, n’asuula ebipande by’amayinja bye yali akutte mu ngalo ze ne byatikirayatikira wansi okumpi n’olusozi.+ 20 N’addira ennyana gye baali bakoze n’agyokya omuliro n’agisekulasekula n’efuuka ensaano,+ n’agimansira ku mazzi n’alagira Abayisirayiri okuganywa.+ 21 Musa n’agamba Alooni nti: “Abantu bano baakukoze ki ggwe, olyoke obaleeteko ekibi eky’amaanyi bwe kiti?” 22 Alooni n’amuddamu nti: “Tosunguwala mukama wange. Okimanyi bulungi nti abantu bano beekubidde ku kukola bintu bibi.+ 23 Baŋŋambye nti, ‘Tukolere katonda anaatukulemberamu, kubanga tetumanyi kituuse ku musajja ono Musa, eyatuggya mu nsi ya Misiri.’+ 24 Nze kwe kubagamba nti, ‘Buli alina zzaabu amweggyeko amumpe.’ Awo ne mmusuula mu muliro ne muvaamu ennyana eyo.”
25 Musa n’alaba ng’abantu bakola nga bwe baagala olw’okuba Alooni yali tabakomyeeko, bwe batyo ne bafeebezebwa mu maaso g’abalabe baabwe. 26 Awo Musa n’ayimirira ku mulyango gw’olusiisira n’agamba nti: “Ani ali ku ludda lwa Yakuwa? Ajje gye ndi!”+ Awo Abaleevi bonna ne bakuŋŋaanira we yali. 27 N’abagamba nti: “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Buli omu ku mmwe yeesibe ekitala kye, ayiteeyite mu lusiisira ng’agenda mulyango ku mulyango atte muganda we ne muliraanwa we ne mukwano gwe ow’oku lusegere.’”+ 28 Abaleevi ne bakola ekyo Musa kye yabagamba. Abantu nga 3000 ne battibwa ku lunaku olwo. 29 Musa n’agamba nti: “Mweyawule* ku lwa Yakuwa olwa leero, kubanga buli omu ku mmwe akkirizza okutta mutabani we ne muganda we;+ olwa leero Katonda agenda kubawa omukisa.”+
30 Ku lunaku olwaddirira, Musa n’agamba abantu nti: “Mukoze ekibi eky’amaanyi ennyo, era kaakano ŋŋenda kwambuka eri Yakuwa, ndabe obanga nsobola okutangirira ekibi kyammwe.”+ 31 Bw’atyo Musa n’addayo eri Yakuwa n’amugamba nti; “Ng’abantu bano bakoze ekibi kya maanyi nnyo! Beekoledde katonda owa zzaabu!+ 32 Naye bw’oba ng’oyagala, basonyiwe ekibi kyabwe;+ bw’oba nga toobasonyiwe, nkwegayiridde nsangula mu kitabo ky’owandiise.”+ 33 Kyokka Yakuwa n’agamba Musa nti: “Buli ayonoonye mu maaso gange, gwe nja okusangula mu kitabo kyange. 34 Kaakano genda otwale abantu mu kifo kye nnakutegeezaako. Laba! Malayika wange agenda kukukulemberamu,+ era ku lunaku lwe nnaabasalira omusango, nja kubabonereza olw’ekibi kyabwe.” 35 Awo Yakuwa n’abonereza abantu olw’okuba baali bakoze ennyana okuyitira mu Alooni.