1 Samwiri
23 Awo ne bagamba Dawudi nti: “Abafirisuuti balwanyisa Keyira,+ era banyaga emmere ey’empeke eri mu mawuuliro.” 2 Dawudi ne yeebuuza ku Yakuwa+ nti: “Ŋŋende nnwanyise Abafirisuuti?” Awo Yakuwa n’agamba Dawudi nti: “Genda olwanyise Abafirisuuti onunule Keyira.” 3 Naye abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti: “Laba! Tutya nga tuli eno mu Yuda;+ kati olwo tetuutye nnyo n’okusingawo nga tugenze e Keyira okulwanyisa amagye g’Abafirisuuti?”+ 4 Dawudi n’addamu okwebuuza ku Yakuwa.+ Yakuwa n’amugamba nti: “Genda e Keyira, kubanga ŋŋenda kugabula Abafirisuuti mu mukono gwo.”+ 5 Awo Dawudi n’agenda n’abasajja be e Keyira, n’alwanyisa Abafirisuuti; yatta bangi nnyo, n’atwala ebisolo byabwe, n’anunula abantu b’omu Keyira.+
6 Abiyasaali+ mutabani wa Akimereki bwe yadduka n’agenda e Keyira eri Dawudi, yagenda ne efodi mu mukono gwe. 7 Awo ne bagamba Sawulo nti: “Dawudi agenze e Keyira.” Sawulo n’agamba nti: “Katonda amumpadde,*+ kubanga yeesudde mu mutego bw’ayingidde mu kibuga ekiriko enzigi n’ebisiba.” 8 Awo Sawulo n’akunga abantu bonna okugenda mu lutalo, okugenda e Keyira bazingize Dawudi n’abasajja be. 9 Dawudi bwe yakimanya nti Sawulo ateekateeka okumukolako akabi, n’agamba Abiyasaali kabona nti: “Leeta wano efodi.”+ 10 Dawudi n’agamba nti: “Ai Yakuwa Katonda wa Isirayiri, omuweereza wo awulidde nti Sawulo ayagala okujja e Keyira azikirize ekibuga ku lwange.+ 11 Abakulembeze* ba Keyira banampaayo mu mukono gwe? Sawulo anajja ng’omuweereza wo bw’awulidde? Ai Yakuwa Katonda wa Isirayiri, nkwegayiridde buulira omuweereza wo.” Awo Yakuwa n’amugamba nti: “Ajja kujja.” 12 Dawudi n’abuuza nti: “Abakulembeze ba Keyira banampaayo nze n’abasajja bange mu mukono gwa Sawulo?” Yakuwa n’amuddamu nti: “Bajja kubawaayo.”
13 Amangu ago Dawudi n’abasajja be nga 600 ne bava mu Keyira,+ ne bagenda yonna gye baasobola okugenda. Bwe baagamba Sawulo nti Dawudi adduse mu Keyira, Sawulo n’atagenda kumuwondera. 14 Dawudi n’abeera mu ddungu mu bifo ebizibu okutuukamu, mu kitundu eky’ensozi mu ddungu ly’e Zifu.+ Sawulo n’amunoonyanga buli kiseera,+ naye Yakuwa n’atamuwaayo mu mukono gwe. 15 Dawudi bwe yali mu ddungu ly’e Zifu e Kolesi, yali akimanyi nti Sawulo* amunoonya okumutta.
16 Awo Yonasaani mutabani wa Sawulo n’agenda eri Dawudi e Kolesi, n’amuzzaamu amaanyi yeeyongere okwesiga* Yakuwa.+ 17 Yamugamba nti: “Totya, Sawulo kitange tajja kukuzuula. Ggwe ojja okuba kabaka wa Isirayiri+ nga nze nkuddirira mu buyinza; ekyo ne Sawulo kitange akimanyi.”+ 18 Awo bombi ne bakola endagaano+ mu maaso ga Yakuwa, Dawudi n’asigalayo mu Kolesi, ate Yonasaani n’addayo ewuwe.
19 Oluvannyuma abasajja b’e Zifu baagenda eri Sawulo e Gibeya+ ne bamugamba nti: “Dawudi teyeekwese okumpi naffe+ mu bifo ebizibu okutuukamu mu Kolesi,+ ku Kasozi Kakira,+ akali ebukiikaddyo wa* Yesimoni?*+ 20 Ai kabaka, jjangu wonna w’onooba oyagalidde, tujja kumuwaayo mu mukono gwa kabaka.”+ 21 Awo Sawulo n’agamba nti: “Yakuwa abawe omukisa olw’okunkwatirwa ekisa. 22 Mugende mugezeeko okuzuula wennyini w’ali, n’omuntu eyamulaba, kubanga baŋŋamba nti mukujjukujju nnyo. 23 Munoonyereze n’obwegendereza mumanye ebifo byonna mwe yeekweka, mulyoke mukomewo gye ndi nga mulina obukakafu, ndyoke ŋŋende nammwe; bw’anaaba ng’ali mu kitundu ekyo, nja kumuwenja mu nkumi* zonna eza Yuda.”
24 Awo ne bagenda e Zifu+ basookeyo Sawulo, era Dawudi n’abasajja be baali mu ddungu ly’e Mawoni,+ mu Alaba+ ebukiikaddyo wa Yesimoni. 25 Oluvannyuma Sawulo yagenda n’abasajja be okumunoonya.+ Dawudi bwe baamugamba, amangu ago n’agenda awali olwazi+ n’abeera mu ddungu ly’e Mawoni. Sawulo bwe yakiwulira, n’awondera Dawudi mu ddungu ly’e Mawoni. 26 Sawulo bwe yatuuka ku luuyi olumu olw’olusozi, Dawudi n’abasajja be baali ku luuyi olulala olw’olusozi olwo. Dawudi yali ayanguwa ng’adduka+ Sawulo, naye Sawulo n’abasajja be baali bajja basembera bakwate Dawudi n’abasajja be.+ 27 Naye waaliwo omubaka eyajja eri Sawulo n’amugamba nti: “Komawo mangu, kubanga Abafirisuuti balumbye ensi yaffe!” 28 Awo Sawulo n’alekera awo okuwondera Dawudi+ n’addayo okulwanyisa Abafirisuuti. Ekifo ekyo kyebaava bakiyita Sera-kammalekosi.*
29 Dawudi n’avaayo eyo, n’ayambuka n’abeera mu bifo ebizibu okutuukamu mu Eni-gedi.+