Zekkaliya
4 Malayika eyali ayogera nange n’akomawo n’anzuukusa ng’azuukusa omuntu ali mu tulo. 2 Awo n’aŋŋamba nti: “Kiki ky’olaba?”
Ne mmuddamu nti: “Ndaba ekikondo ky’ettaala nga kyonna kya zzaabu,+ era nga waggulu kiriko ekibya. Kiriko n’ettaala musanvu,+ era ettaala ezo eziri waggulu ku kyo zirina enseke musanvu. 3 Okumpi nakyo waliwo emiti gy’emizeyituuni ebiri.+ Ogumu guli ku mukono ogwa ddyo ogw’ekibya, ate omulala guli ku mukono ogwa kkono.”
4 Awo ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti: “Mukama wange, ebintu bino bitegeeza ki?” 5 Malayika eyali ayogera nange n’ambuuza nti: “Ddala tomanyi bintu ebyo kye bitegeeza?”
Ne mmuddamu nti: “Simanyi, mukama wange.”
6 Awo n’aŋŋamba nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agambye Zerubbaberi, ‘“Amagye oba amaanyi+ si bye bijja okusobozesa ebintu bino okubaawo, wabula omwoyo gwange,”+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba. 7 Weeyita ki ggwe olusozi oluwanvu? Ojja kufuuka museetwe+ mu maaso ga Zerubbaberi.+ Ajja kuleeta ejjinja ery’oku ntikko, era bajja kulikubira emizira nga bagamba nti: “Nga ddungi! Nga ddungi!”’”
8 Era Yakuwa n’aŋŋamba nti: 9 “Emikono gya Zerubbaberi gye gizimbye omusingi gw’ennyumba eno+ era gye gijja okugimaliriza.+ Era mulimanya nti Yakuwa ow’eggye y’antumye gye muli. 10 Ani anyoomye olunaku olw’entandikwa entono?*+ Balisanyuka era baliraba bbirigi* mu mukono gwa Zerubbaberi. Amaaso gano omusanvu ge maaso ga Yakuwa agatunulatunula mu nsi yonna.”+
11 Awo ne mmubuuza nti: “Emiti gy’emizeyituuni gino ebiri egiri ku mukono gw’ekikondo ky’ettaala ogwa ddyo n’ogwa kkono gitegeeza ki?”+ 12 Era ne mmubuuza nti: “Obutabi obubiri* obw’emizeyituuni obufuka amafuta aga langi eya kacungwa nga gayita mu nseke ebbiri eza zzaabu butegeeza ki?”
13 N’ambuuza nti: “Tomanyi bintu ebyo kye bitegeeza?”
Ne mmuddamu nti: “Simanyi, mukama wange.”
14 Awo n’aŋŋamba nti: “Ebintu ebyo bitegeeza abaafukibwako amafuta ababiri abayimiridde okumpi ne Mukama w’ensi yonna.”+