Olubereberye
9 Katonda n’awa Nuuwa ne batabani be omukisa n’abagamba nti: “Muzaale mwale mujjuze ensi.+ 2 Ebiramu byonna ebiri mu nsi, n’ebibuuka byonna, n’ebitambulira ku ttaka byonna, n’eby’ennyanja byonna eby’omu nnyanja, binaabatyanga. Biweereddwayo mu mukono gwammwe.*+ 3 Buli nsolo ennamu etambula eneebanga kya kulya gye muli.+ Byonna mbibawadde nga bwe nnabawa ebimera.+ 4 Naye temulyanga ennyama erimu obulamu bwayo, nga gwe musaayi gwayo.+ 5 Ate era, omusaayi gwammwe bwe gunaayiibwanga, nnaavunaananga oyo anaabanga aguyiye oba ekyo ekinaabanga kiguyiye. Ekiramu kyonna bwe kinaayiwanga omusaayi gwammwe kinaafanga. Muganda wammwe bw’anaasaanyangawo obulamu bwammwe, nnaamuvunaananga olw’obulamu obwo.+ 6 Oyo yenna anaayiwanga omusaayi gw’omuntu, n’ogugwe abantu banaaguyiwanga,+ kubanga omuntu Katonda yamukola mu kifaananyi kye.+ 7 Kale muzaale mwale mweyongere nnyo mu nsi, mubeere bangi.”+
8 Katonda n’ayogera ne Nuuwa ne batabani be ng’ali wamu nabo, n’abagamba nti: 9 “Kaakano nkola endagaano nammwe+ n’ezzadde lyammwe erinaddawo, 10 era na buli kiramu ekiri nammwe, ebinyonyi, n’ensolo, n’ebiramu ebirala byonna ebiri nammwe ku nsi; byonna ebivudde mu lyato—ebiramu byonna eby’oku nsi.+ 11 Nkola endagaano eno nammwe: Ebirina omubiri* byonna tebiriddamu kuzikirizibwa mataba, era amataba tegaliddamu kuzikiriza nsi.”+
12 Katonda era n’agamba nti: “Kano ke kabonero ak’endagaano gye nkola nammwe n’ebiramu byonna ebiri nammwe. Endagaano eno ya mirembe gyonna egiriddawo. 13 Nteeka musoke wange ku bire, era anaabanga akabonero ak’endagaano gye nkoze n’ensi. 14 Buli lwe nnaaleetanga ebire ku nsi, musoke anaalabikanga ku bire. 15 Era nja kujjukiranga endagaano yange gye nkoze nammwe n’ebiramu ebya buli kika; era amazzi tegaliddamu nate kufuuka mataba okuzikiriza ebirina omubiri byonna.+ 16 Musoke anaalabikanga ku bire, era nnaamulabanga ne nzijukira endagaano ey’olubeerera gye nkoze n’ebiramu ebya buli kika ebiri ku nsi.”
17 Katonda n’addamu n’agamba Nuuwa nti: “Kano ke kabonero ak’endagaano gye nkoze n’ebirina omubiri byonna ebiri ku nsi.”+
18 Batabani ba Nuuwa abaava mu lyato be bano: Seemu, Kaamu, ne Yafeesi.+ Oluvannyuma Kaamu yazaala Kanani.+ 19 Abasatu bano be baali batabani ba Nuuwa, era abantu bonna ku nsi baasibuka mu bano ne basaasaana.+
20 Nuuwa yatandikira ku kulima, n’asimba ennimiro y’emizabbibu. 21 Lumu yanywa omwenge n’atamiira, ne yeeyambula n’asigala bwereere mu weema ye. 22 Kaamu kitaawe wa Kanani n’alaba kitaawe ng’ali bwereere, n’agenda n’abuulira baganda be ababiri abaali ebweru. 23 Awo Seemu ne Yafeesi ne bakwata olugoye ne baluteeka ku bibegaabega byabwe ne bayingira nga batambula kyennyumannyuma ne babikka ku bwereere bwa kitaabwe nga tebatunuddeeyo. Bwe batyo ne batalaba bwereere bwa kitaabwe.
24 Nuuwa bwe yazuukuka ng’omwenge gumuweddeko, n’ategeera mutabani we asembayo obuto kye yali amukoze, 25 n’agamba nti:
“Kanani akolimirwe.+
Abeerenga muddu wa baganda be asembayo okuba owa wansi.”+
26 Era n’agattako nti:
27 Katonda awe Yafeesi ekifo ekigazi,
Yafeesi abeerenga mu weema za Seemu.
Era naye Kanani abeerenga muddu we.”
28 Nuuwa yawangaala emyaka emirala 350 oluvannyuma lw’Amataba.+ 29 Emyaka gyonna Nuuwa gye yawangaala gyali 950, n’afa.