Okuva
16 Nga bamaze okuva mu Erimu, ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri kyatuuka mu ddungu lya Sini,+ eriri wakati wa Erimu ne Sinaayi, ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’okubiri kasookedde bava mu nsi ya Misiri.
2 Awo ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri ne kitandika okwemulugunya ku Musa ne Alooni mu ddungu.+ 3 Baabagamba nti: “Waakiri omukono gwa Yakuwa gwandituttidde mu nsi ya Misiri, gye twaliiranga ennyama+ n’emmere ne tukkuta. Naye mutuleese mu ddungu lino, ekibiina kino kyonna mukisse enjala.”+
4 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Ŋŋenda kubatonnyeseza emmere okuva mu ggulu,+ era abantu bajja kufulumanga buli omu akuŋŋaanye emumala buli lunaku,+ ndyoke mbagezese ndabe obanga banaatambulira mu mateeka gange.+ 5 Naye ku lunaku olw’omukaaga+ bajja kukuŋŋaanyanga emmere ekubisaamu emirundi ebiri eyo gye bakuŋŋaanya bulijjo, era bajja kugifumbanga ng’olunaku olw’omusanvu terunnatandika.”+
6 Awo Musa ne Alooni ne bagamba Abayisirayiri bonna nti: “Akawungeezi mujja kumanya nti Yakuwa ye yabaggya mu nsi ya Misiri.+ 7 Ku makya mujja kulaba ekitiibwa kya Yakuwa, kubanga Yakuwa awulidde nga mumwemulugunyaako. Kale ffe baani mmwe okutwemulugunyaako?” 8 Musa era n’agamba nti: “Akawungeezi Yakuwa bw’anaabawa ennyama okulya, ne ku makya n’abawa emmere ne mukkuta, mujja kumanya nti Yakuwa awulidde okwemulugunya kwe mumwemulugunyaako. Naye ffe baani? Temwemulugunya ku ffe wabula ku Yakuwa.”+
9 Awo Musa n’agamba Alooni nti: “Gamba ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri nti, ‘Musembere mu maaso ga Yakuwa kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe.’”+ 10 Alooni bwe yali yaakamala okwogera eri ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri, ne bakyuka ne batunula ku luuyi olw’eddungu, era laba! ekitiibwa kya Yakuwa ne kirabika mu kire.+
11 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 12 “Mpulidde okwemulugunya kw’Abayisirayiri.+ Bagambe nti, ‘Akawungeezi* mujja kulya ennyama, ate ku makya mulye emmere mukkute,+ era mujja kumanya nti nze Yakuwa Katonda wammwe.’”+
13 Bwe bwawungeera, obugubi ne bugwa ne bubuna olusiisira lwonna,+ ate ku makya omusulo ne gugwa okwetooloola olusiisira lwonna. 14 Omusulo bwe gwakala, ku ttaka ly’omu ddungu+ kwaliko obuweke obutono obulinga omuzira. 15 Abayisirayiri bwe baabulaba, buli omu n’abuuza munne nti: “Kino kiki?” Baali tebabumanyi. Awo Musa n’abagamba nti: “Eyo ye mmere Yakuwa gy’abawadde okulya.+ 16 Bw’ati Yakuwa bw’alagidde, ‘Buli omu akuŋŋaanye gy’asobola okulya. Mujja kutwala kkomero*+ emu ku lwa buli muntu, okusinziira ku muwendo gw’abantu buli omu b’alina mu weema ye.’” 17 Abayisirayiri ne bakola bwe batyo; baakuŋŋaanyanga emmere, abamu nga bakuŋŋaanya nnyingi, ate abalala ntono. 18 Bwe baagipimanga mu kkomero, eyabanga akuŋŋaanyizza ennyingi teyafissangawo, era eyabanga akuŋŋaanyizza entono yabanga n’emumala.+ Buli omu yakuŋŋaanyanga eyo gy’asobola okulya.
19 Awo Musa n’abagamba nti: “Tewabaawo n’omu atereka ey’okulya enkya.”+ 20 Naye tebaawuliriza Musa. Abamu bwe baatereka ey’okulya enkeera, yajjamu envunyu n’ewunya, Musa n’abasunguwalira. 21 Buli ku makya, buli muntu yakuŋŋaanyanga gy’asobola okulya. Omusana bwe gwayakanga, ng’esaanuuka.
22 Ku lunaku olw’omukaaga gye baakuŋŋaanya yakubisaamu eya bulijjo emirundi ebiri,+ kkomero bbiri buli muntu. Awo abakulu ab’omu kibiina kyonna ne bagenda ne bategeeza Musa. 23 Musa n’abagamba nti: “Ekyo Yakuwa kye yagambye. Enkya kujja kuba kuwummula,* ssabbiiti ya Yakuwa entukuvu.+ Gye musobola okukolamu emigaati mugikolemu emigaati, gye musobola okufumba mugifumbe,+ endala yonna enneefikkawo mugitereke etuuse ku makya.” 24 Bwe batyo ne bagitereka okutuusa ku makya nga Musa bwe yalagira, era teyawunya wadde okujjamu envunyu. 25 Musa n’abagamba nti: “Mugirye leero, kubanga leero ssabbiiti ya Yakuwa. Olwa leero temujja kugisangayo ebweru w’olusiisira. 26 Mujja kugikuŋŋaanyanga ennaku mukaaga, naye olunaku olw’omusanvu Ssabbiiti.+ Ku olwo teebengayo.” 27 Kyokka ku lunaku olw’omusanvu abantu abamu baagenda okugikuŋŋaanya, naye tebaagisangayo.
28 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Mulituusa wa okugaana okukwata ebiragiro byange n’amateeka gange?+ 29 Mukimanye nti Yakuwa abawadde Ssabbiiti.+ Eyo ye nsonga lwaki ku lunaku olw’omukaaga abawa emmere ya nnaku bbiri. Buli muntu asigale ewuwe; tewaba n’omu ava ewuwe ku lunaku olw’omusanvu.” 30 Awo abantu ne bakwata Ssabbiiti* ku lunaku olw’omusanvu.+
31 Ab’ennyumba ya Isirayiri emmere eyo baagituuma “emmaanu.”* Yali ng’obusigo obutono obweru, era ng’ewooma ng’obugaati obubyabyatavu obulimu omubisi gw’enjuki.+ 32 Musa n’agamba nti: “Bw’ati Yakuwa bw’alagidde. ‘Mupime kkomero emu ey’emmaanu ey’okuterekebwa mu mirembe gyammwe gyonna,+ balyoke balabe emmere gye nnabaliisa mu ddungu nga mbaggya mu nsi ya Misiri.’” 33 Musa n’agamba Alooni nti: “Ddira ensumbi oteekemu kkomero emu ey’emmaanu ogiteeke mu maaso ga Yakuwa eterekebwe emirembe gyammwe gyonna.”+ 34 Awo Alooni n’agiteeka mu maaso g’Obujulirwa+ eterekebwe, nga Yakuwa bwe yalagira Musa. 35 Abayisirayiri baalya emmaanu okumala emyaka 40,+ okutuusa lwe baatuuka mu nsi eyalimu abantu.+ Baalyanga emmaanu okutuusa lwe baatuuka ku nsalo y’ensi ya Kanani.+ 36 Kkomero yenkana kimu kya kkumi ekya efa.*