Yeremiya
10 Muwulire ekigambo Yakuwa ky’aboogeddeko mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri. 2 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
3 Empisa z’amawanga tezirina kye zigasa.
Omubazzi atema omuti mu kibira,
N’agukolamu ebifaananyi.+
5 Okufaananako ebifaananyi ebikanga ebisolo mu nnimiro za ccukamba, nabyo tebisobola kwogera;+
Balina kubisitula busituzi olw’okuba tebisobola kutambula.+
Tobitya kubanga tebisobola kukola kabi konna,
Wadde okukola ekirungi kyonna.”+
6 Tewali alinga ggwe, Ai Yakuwa.+
Oli wa kitalo; erinnya lyo kkulu era lya maanyi.
7 Ani ataakutye, Ai ggwe Kabaka w’amawanga?+ Kubanga ogwanidde okutiibwa;
Tewali n’omu alinga ggwe,+
Mu b’amagezi bonna ab’omu mawanga n’ab’omu bwakabaka bwabwe bwonna.
8 Bonna tebategeera era basirusiru.+
Okuyigiriza okuva eri ebifaananyi ebyakolebwa mu muti kubuzaabuza abantu.+
9 Obubaati bwa ffeeza buva mu Talusiisi,+ ne zzaabu ava Yufaazi,
Abaweesi n’abakugu mu mirimu gy’emikono bamuteeka ku bifaananyi eby’emiti.
Abantu babyambaza engoye ezikoleddwa mu wuzi eza bbulu n’eza kakobe.
Byonna bikolebwa bantu bakugu.
10 Naye Yakuwa ye Katonda ddala.
Ye Katonda omulamu+ era ye Kabaka ow’emirembe n’emirembe.+
Ensi ejja kukankana olw’obusungu bwe,+
Era tewali ggwanga linaasobola kugumira kiruyi kye.
11 * Bw’oti bw’oba obagamba:
“Bakatonda abataakola ggulu na nsi
Bajja kusaanawo ku nsi ne wansi w’eggulu lino.”+
12 Ye yakola ensi ng’akozesa amaanyi ge,
Ye yanyweza ensi ng’akozesa amagezi ge,+
Era ye yabamba eggulu ng’akozesa okutegeera kwe.+
13 Eddoboozi lye lireetera
Amazzi agali mu ggulu okuyira,+
Era aleetera ebire okwambuka nga biva ku nkomerero y’ensi.+
14 Abantu bonna beeyisa mu ngeri etali ya magezi era etayoleka kumanya.
Abaweesi bonna bajja kuswala olw’ebifaananyi ebyole;+
Kubanga ebifaananyi byabwe eby’ebyuma* bya bulimba,
15 Tebirina kye bigasa,* era bigwana kusekererwa.+
Olunaku olw’okubisalira omusango bwe lulituuka birisaanawo.
16 Katonda wa* Yakobo talinga byo,
Kubanga ye yakola ebintu byonna,
Era Isirayiri gwe muggo gw’obusika bwe.+
Yakuwa ow’eggye lye linnya lye.+
17 Ggwe omukazi gwe bazingizza,
Kwata omugugu gwo oguggye wansi.
18 Kubanga bw’ati Yakuwa bw’agamba:
19 Zinsanze olw’obuvune bwange!+
Ekiwundu kyange tekisobola kuwona.
Era nnagamba nti: “Eno ndwadde yange, era nnina okugigumira.
20 Weema yange eyonooneddwa era emiguwa gya weema yange gyonna gikutuse.+
Abaana bange bandese era baweddewo.+
Tewali muntu asigaddewo ow’okusimba weema yange.
Eyo ye nsonga lwaki tebeeyisizza mu ngeri ey’amagezi,
Era ye nsonga lwaki endiga zaabwe zonna zisaasaanye.”+
22 Wulira amawulire!
Omusinde ogw’amaanyi guwulirwa nga guva mu nsi y’ebukiikakkono,+
Okufuula ebibuga bya Yuda amatongo, era ekisulo ky’ebibe.+
23 Nkimanyi bulungi, Ai Yakuwa, nti omuntu talina buyinza kweruŋŋamya.
Omuntu talina buyinza kuluŋŋamya bigere bye.+
25 Fuka obusungu bwo ku mawanga agakwesamba+
Ne ku bika byonna ebitakoowoola linnya lyo.