Isaaya
8 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Funa ekipande ekinene+ okiwandiikeko n’ekkalaamu eya bulijjo* nti, ‘Makeru-salalu-kasu-bazi.’* 2 Era abajulirwa bano abeesigwa, Uliya+ kabona ne Zekkaliya mutabani wa Yeberekiya, ka bawandiike okukakasa nti kino kikoleddwa.”
3 Awo ne nneegatta* ne nnabbi omukazi,* n’aba olubuto era oluvannyuma n’azaala omwana ow’obulenzi.+ Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Mutuume Makeru-salalu-kasu-bazi, 4 kubanga omwana oyo aliba tannayiga kuyita nti, ‘Taata!’ oba nti ‘Maama!’ obugagga bw’e Ddamasiko n’omunyago gw’omu Samaliya biritwalibwa mu maaso ga kabaka wa Bwasuli.”+
5 Awo Yakuwa n’ayogera nange nate omulundi omulala n’aŋŋamba nti:
6 “Olw’okuba abantu bano bagaanye amazzi ga Sirowa*+ agakulukuta empolampola
Era ne basanyuka olwa Lezini ne mutabani wa Lemaliya,+
7 Yakuwa alibasindikira
Amazzi g’Omugga* amangi era ag’amaanyi,
Kabaka wa Bwasuli+ n’ekitiibwa kye kyonna.
Kabaka oyo alijjuza emigga gye gyonna
Era gyonna aligyanjaaza
8 N’ayita mu Yuda.
Alyanjaala n’ayitamu n’atuukira ddala mu bulago;+
Ebiwaawaatiro bye ebyanjuluziddwa birijjula mu nsi yo nga bwe yenkana obugazi,
9 Mmwe amawanga, mubeeko akabi ke mukola, naye mujja kusesebbulwa.
Muwulire mmwe mmwenna abali mu bitundu by’ensi eby’ewala!
Mweteekereteekere olutalo, naye mujja kusesebbulwa!+
Mweteekereteekere olutalo, naye mujja kusesebbulwa!
10 Mukole olukwe naye lujja kugwa butaka!
11 Omukono gwa Yakuwa ogw’amaanyi bwe gwali gundiko, bw’ati bwe yaŋŋamba ng’andabula nneme okukwata ekkubo ly’abantu bano:
12 “Abantu bano kye bayita olukwe, mmwe temukiyita lukwe!
Temutya ekyo kye batya;
Tekibakankanya.
13 Yakuwa ow’eggye gwe musaanidde okutwala nga mutukuvu,+
Gwe musaanidde okutya,
Era y’asaanidde okubaleetera okukankana.”+
14 Aliba ng’ekifo ekitukuvu,
Naye ng’alinga ejjinja ery’okwekoonako
Era ng’olwazi olw’okwesittalako+
Eri ennyumba za Isirayiri zombi.
Aliba ng’omutego era ng’ekyambika
Eri abantu b’omu Yerusaalemi.
15 Bangi balyesittala ne bagwa ne bamenyeka;
Baligwa mu kyambika ne bakwatibwa.
16 Zingako obukakafu obuli mu buwandiike;*
Teeka akabonero ku mateeka* ng’oli wamu n’abayigirizwa bange!
17 Nja kulindirira Yakuwa+ oyo akwese ennyumba ya Yakobo+ obwenyi bwe, era essuubi lyange nja kuliteeka mu ye.
18 Laba! Nze n’abaana Yakuwa b’ampadde+ tulinga obubonero+ era ng’ebyamagero mu Isirayiri ebiva eri Yakuwa ow’eggye abeera ku Lusozi Sayuuni.
19 Era bwe babagambanga nti: “Mwebuuze ku balaguzi oba ku bafumu abamuumuunya era abakaaba ng’obunyonyi;” abantu tebasaanidde kwebuuza ku Katonda waabwe? Ebikwata ku balamu basaanidde kubibuuza bafu?+ 20 Mu kifo ky’okukola batyo, amateeka n’obukakafu obuli mu buwandiike* bye basaanidde okwebuuzaako!
Bwe batayogera ng’ekigambo kino bwe kiri, tebaba na kitangaala.+ 21 Buli omu aliyita mu nsi ng’abonaabona era ng’alumwa enjala;+ era olw’okuba aliba alumwa enjala era nga musunguwavu, alitunula waggulu n’akolimira kabaka we ne Katonda we. 22 Oluvannyuma alitunula ku nsi era talibaako kirala kyonna ky’alaba okuggyako ennaku n’ekizikiza, ebiseera ebya kazigizigi n’ebiseera ebizibu, enzikiza ey’amaanyi nga tewali kitangaala.