Isaaya
28 Zisanze engule* y’abatamiivu ba Efulayimu+ ey’okweraga*
N’ekimuli ekiwotoka eky’obulungi bwayo obw’ekitiibwa
Ekiri ku mutwe gw’ekiwonvu ekigimu eky’abo abatamidde omwenge!
2 Laba! Yakuwa alina omuntu ow’amaanyi.
Ng’enkuba erimu omuzira n’okubwatuka, nga kibuyaga ow’amaanyi ayonoona ebintu,
Ng’enkuba erimu okubwatuka, ereeta amataba ag’amaanyi,
Aligikkata ku ttaka.
4 N’ekimuli ekiwotoka eky’obulungi bwayo obw’ekitiibwa,
Ekiri ku mutwe gw’ekiwonvu ekigimu,
Kiriba ng’ettiini erisooka okwengera ng’ekiseera eky’omusana tekinnatandika.
Omuntu bw’aliraba alinoga n’alimira mangu ddala.
5 Ku lunaku olwo Yakuwa ow’eggye alifuuka ngule ey’ekitiibwa era omuge ogulabika obulungi eri abantu be abaliba basigaddewo.+ 6 Era oyo atuula okulamula alimuwa omwoyo gw’obwenkanya, n’abo abaziyiza abalabe ababa bazze okulumba ku mulyango alibawa amaanyi.+
7 Ne bano bawaba olw’omwenge;
Emyenge gyabwe gibaleetera okutagala.
Kabona ne nnabbi bawaba olw’omwenge;
Omwenge gubatabulatabula,
Era batagala olw’omwenge gwabwe;
Okwolesebwa kwabwe kubawabya,
Era tebasalawo bulungi.+
8 Emmeeza zaabwe zijjudde ebisesemye
—Biri buli wamu.
9 Bagamba nti: “Ani gw’anaayigiriza,
Era ani gw’anannyonnyola obubaka?
Abo abaakava ku mata?
Abo abaakaggibwa ku mabeere?
10 Kubanga buli kiseera agamba nti: ‘Kiragiro ku kiragiro, kiragiro ku kiragiro,
Lunyiriri ku lunyiriri, lunyiriri ku lunyiriri,*+
Wano katono, na wali katono.’”
11 Alyogera n’abantu bano ng’akozesa abo abananaagira era aboogera olulimi olugwira.+ 12 Lumu yabagamba nti: “Kino kye kifo eky’okuwummuliramu. Oyo akooye k’awummule; kino kye kifo eky’okuddiramu obuggya,” naye ne bagaana okuwuliriza.+ 13 N’olwekyo ekigambo kya Yakuwa gye bali kiriba kiti:
“Kiragiro ku kiragiro, kiragiro ku kiragiro,
Lunyiriri ku lunyiriri, lunyiriri ku lunyiriri,*+
Wano katono, na wali katono,”
Ne kiba nti bwe balitambula,
Balyesittala ne bagwa kya bugazi
Ne bamenyeka era ne bagwa mu mutego ne bakwatibwa.+
14 N’olwekyo muwulire ekigambo kya Yakuwa mmwe abeewaana,
Mmwe abafuga abantu bano abali mu Yerusaalemi,
15 Kubanga mugamba nti:
Mukoka ow’amaanyi bw’alikulugguka,
Talitutuukako,
Kubanga obulimba twabufuula kiddukiro kyaffe
Era mu bulimba mwe twekwese.”+
16 N’olwekyo bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
“Laba nteeka mu Sayuuni ejjinja eryagezesebwa, libeere omusingi,+
Ejjinja ery’omuwendo ery’oku nsonda,+ ery’omusingi omunywevu.+
Tewali n’omu alikkiririzaamu alitiitiira.+
17 Obwenkanya ndibufuula omuguwa ogupima+
N’obutuukirivu ndibufuula ekikozesebwa okupima obutereevu bw’ekintu.*+
Omuzira gulisaanyaawo ekiddukiro eky’obulimba,
Era amazzi galyanjaala mu kifo eky’okwekwekamu.
Mukoka ow’amaanyi bw’alikulugguka,
Alibasesebbula.
19 Buli lw’alikulugguka,
Alibatwala;+
Kubanga alikulugguka buli ku makya,
Alikulugguka emisana n’ekiro.
Ntiisa yokka y’eribaleetera okutegeera ebyawulirwa.”*
20 Kubanga ekitanda kimpi nnyo omuntu okukyegololerako,
N’eky’okwebikka kifunda nnyo omuntu okukyezingamu.
21 Yakuwa aliyimuka nga bwe yakola ku Lusozi Perazimu;
Aligolokoka nga bwe yakola mu kiwonvu okumpi ne Gibiyoni,+
Asobole okukola ekikolwa kye—ekikolwa kye ekitali kya bulijjo—
Era asobole okukola omulimu gwe—omulimu gwe ogutali gwa bulijjo.+
Enjegere ezibasibye zireme okwongera okunywezebwa,
Kubanga mpulidde okuva eri Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye
23 Mutege amatu muwulire eddoboozi lyange;
Musseeyo omwoyo muwulirize kye ŋŋamba.
24 Omulimi amala ekiseera kyonna ng’atema amavuunike,
Ng’akabala era ng’akuba ettaka naye n’atasiga nsigo?+
25 Bw’amala okuttaanya ettaka,
Tamansa kkumino omuddugavu era n’asiga kkumino,
Era tasimba eŋŋaano n’obulo ne ssayiri mu bifo byabyo
27 Kubanga kkumino omuddugavu tebamuwuula nga bakozesa ekyuma ekiwuula,+
Era nnamuziga y’ekigaali teyisibwa ku kkumino.
Wabula kkumino omuddugavu awuulibwa na muggo,
Ne kkumino naye awuulibwa na muggo.
28 Omuntu asekula emmere ey’empeke okusobola okukolamu omugaati?