Abaruumi
7 Ab’oluganda, (ŋŋamba abo abamanyi amateeka) temumanyi nti Amateeka gafuga omuntu ng’akyali mulamu? 2 Ng’ekyokulabirako, omukazi omufumbo aba wansi w’etteeka ly’omwami we, ng’omwami we akyali mulamu; naye omwami we bw’afa, aba takyali wansi wa tteeka lye.+ 3 N’olwekyo, omukazi bw’afumbirwa omusajja omulala ng’omwami we akyali mulamu, ayitibwa mwenzi.+ Naye omwami we bw’afa, aba takyali wansi wa tteeka lye, era taba mwenzi bw’afumbirwa omusajja omulala.+
4 N’olwekyo baganda bange, okuyitira mu mubiri gwa Kristo nammwe mwafa ku bikwata ku Mateeka, musobole okubeera wansi w’omulala,+ oyo eyazuukizibwa mu bafu,+ bwe kityo tusobole okubala ebibala,+ Katonda alyoke aweebwe ekitiibwa. 5 Bwe twali tukyagoberera omubiri, okwegomba okubi okwayolesebwa Amateeka kwakoleranga mu mibiri gyaffe nga kutuleetera okubala ebibala ebireeta okufa.+ 6 Naye kati tusumuluddwa okuva mu Mateeka,+ kubanga twafa ku bikwata ku ekyo ekyali kitukugira, tusobole okubeera abaddu mu ngeri empya okuyitira mu mwoyo,+ so si mu ngeri enkadde okuyitira mu mateeka agali mu buwandiike.+
7 Kati olwo tugambe ki? Amateeka galiko ekikyamu?* Nedda. Mazima ddala sanditegedde kibi singa tegaali Mateeka.+ Ng’ekyokulabirako, sanditegedde nti okwegomba kubi singa Amateeka tegaagamba nti: “Teweegombanga.”+ 8 Naye ekiragiro ky’awa ekibi akakisa okundeetera okwegomba okwa buli ngeri, kubanga awataali mateeka ekibi kyali kifu.+ 9 Mu butuufu, nnali mulamu awataali mateeka. Naye ekiragiro bwe kyajja, ekibi ne kifuuka kiramu nate, naye nze ne nfa.+ 10 Era ekiragiro ekyali eky’okuleeta obulamu,+ nnakizuula nga kireeta kufa. 11 Kubanga ekiragiro ky’awa ekibi akakisa, ekibi ne kinsendasenda era ne kinzita okuyitira mu kiragiro. 12 N’olwekyo, Amateeka ku bwago matukuvu, n’ekiragiro nakyo kitukuvu, kituukirivu, era kirungi.+
13 Kati olwo ekirungi kyandeetera kufa? N’akatono! Naye ekibi kye kyandeetera okufa, kiryoke kyeyoleke nti ekibi kye kyandeetera okufa nga kiyitira mu kirungi;+ era ekibi kiryoke kyeyongere okulabika nti kibi okuyitira mu kiragiro.+ 14 Tukimanyi nti Amateeka ga bya mwoyo, naye nze ndi wa mubiri era nnatundibwa mu kibi.+ 15 Kye nkola sikitegeera. Kubanga kye njagala si kye nkola, naye kye saagala kye nkola. 16 Naye bwe kiba nti kye saagala kye nkola, nzikiriza nti Amateeka malungi. 17 Naye si nze nkikola wabula ekibi ekiri mu nze.+ 18 Nkimanyi nti mu nze, kwe kugamba, mu mubiri gwange, temuli kirungi; kubanga njagala okukola ekirungi naye nnemwa okukikola.+ 19 Ekirungi kye njagala okukola si kye nkola, naye ekibi kye saagala kukola kye nkola. 20 Bwe kiba nti kye saagala kukola kye nkola, si nze mba nkikola, wabula ekibi ekiri mu nze.
21 Ndaba etteeka lino mu nze: Bwe njagala okukola ekituufu, ekibi kiba nange.+ 22 Mazima ddala nsanyukira etteeka lya Katonda mu mutima gwange,+ 23 naye mu mubiri gwange ndaba etteeka eddala erirwanyisa etteeka ery’omu birowoozo byange,+ era linfuula muddu wa tteeka lya kibi+ eriri mu mubiri gwange. 24 Nze nga ndi muntu munaku! Ani alinnunula mu mubiri ogundeetera okufa? 25 Katonda yeebazibwe okuyitira mu Yesu Kristo Mukama waffe! N’olwekyo nno, mu ndowooza yange ndi muddu w’amateeka ga Katonda, naye mu mubiri gwange ndi muddu w’etteeka ly’ekibi.+