Ebikolwa
3 Peetero ne Yokaana baali bagenda mu yeekaalu ku ssaawa ey’okusabiramu, essaawa ey’omwenda,* 2 era waaliwo omusajja eyazaalibwa nga mulema eyali asituliddwa. Buli lunaku yateekebwanga kumpi n’omulyango gwa yeekaalu ogwayitibwanga Omulyango Omulungi asobole okusabiriza ssente abo abaabanga bayingira mu yeekaalu. 3 Bwe yalaba Peetero ne Yokaana nga banaatera okuyingira mu yeekaalu, n’atandika okubasaba ssente. 4 Naye Peetero ne Yokaana ne bamutunuulira ne bamugamba nti: “Tutunuulire.” 5 N’abatunuulira ng’asuubira nti banaabaako kye bamuwa. 6 Naye Peetero n’amugamba nti: “Ffeeza ne zzaabu sibirina, naye kye nnina kye nkuwa. Mu linnya lya Yesu Kristo Omunnazaaleesi, tambula!”+ 7 Awo n’akwata omukono gwe ogwa ddyo, n’amuyimusa.+ Amangu ago ebigere bye n’obukongovule ne biguma;+ 8 n’asituka mangu, n’ayimirira,+ n’atandika okutambula n’ayingira nabo mu yeekaalu ng’atambula, ng’abuuka, era ng’atendereza Katonda. 9 Abantu bonna ne bamulaba ng’atambula era ng’atendereza Katonda, 10 ne bategeera nga ye musajja eyatuulanga ku Mulyango Omulungi ogwa yeekaalu+ ng’asabiriza ssente, ne beewuunya nnyo era ne bawuniikirira olw’ekyo ekyali kikoleddwa.
11 Omusajja oyo bwe yali akyekutte ku Peetero ne Yokaana, abantu bonna ne badduka ne bagenda we baali mu Lukuubo lwa Sulemaani,+ nga bawuniikiridde. 12 Peetero bwe yalaba kino, n’agamba abantu nti: “Abasajja Abayisirayiri, lwaki mututunuulira nga muwuniikiridde olwa kino, nga gy’obeera nti asobodde okutambula olw’amaanyi gaffe oba olw’okuba twemalira ku Katonda? 13 Katonda wa Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo,+ Katonda wa bajjajjaffe, agulumizizza Omuweereza we+ Yesu,+ gwe mwawaayo+ era ne mumwegaanira mu maaso ga Piraato wadde nga yali asazeewo okumusumulula. 14 Mwegaana omutukuvu oyo era omutuukirivu, ne musaba Piraato abasumululire omusajja omutemu,+ 15 kyokka ne mutta Omubaka Omukulu ow’obulamu.+ Naye Katonda yamuzuukiza okuva mu bafu era ekyo tukiwaako obujulirwa.+ 16 N’olwekyo, erinnya lye, oba okukkiriza kwe tulina mu linnya lye, kwe kusobozesezza omusajja ono gwe mulaba era gwe mumanyi okufuna amaanyi. Okukkiriza okwo kwe kuwonyezza omusajja ono gwe mulaba mu maaso gammwe. 17 Ab’oluganda, nkimanyi nti ekyo mwakikola mu butamanya,+ ng’abafuzi bammwe nabo bwe baakola.+ 18 Naye mu ngeri eyo Katonda atuukirizza ebintu bye yalangirira edda okuyitira mu bannabbi bonna, nti Kristo alibonaabona.+
19 “N’olwekyo, mwenenye,+ mukyuke,+ ebibi byammwe bisangulwe,+ Yakuwa* kennyini alyoke abawe ekiwummulo, 20 era alyoke atume Kristo gwe yabalondera, ng’oyo ye Yesu. 21 Oyo alina okusigala mu ggulu okutuusa mu biseera eby’okuzza obuggya ebintu byonna Katonda bye yayogera ng’ayitira mu bannabbi be abatukuvu ab’edda. 22 Mu butuufu, Musa yagamba nti: ‘Yakuwa* Katonda alibawa nnabbi okuva mu baganda bammwe alinga nze.+ Muteekwa okuwulira ebintu byonna by’alibagamba.+ 23 Mazima ddala omuntu yenna ataliwuliriza Nnabbi oyo, alizikirizibwa.’+ 24 Bannabbi bonna, okuva ku Samwiri n’abo abaamuddirira, baalangirira ennaku zino.+ 25 Mmwe baana ba bannabbi era ab’endagaano Katonda gye yakola ne bajjajjammwe+ ng’agamba Ibulayimu nti: ‘Ebika byonna ku nsi biriweebwa omukisa okuyitira mu zzadde lyo.’+ 26 Katonda bwe yalonda Omuweereza we, yasooka kumutumira mmwe+ abawe omukisa ng’abayamba okukyuka muleke ebikolwa byammwe ebibi.”