Firemooni
1 Nze Pawulo, omusibe+ ku lwa Kristo Yesu, nga ndi wamu ne Timoseewo+ muganda waffe, mpandiikira Firemooni omwagalwa era mukozi munnaffe, 2 ne Apofiya mwannyinaffe, ne Alukipo+ musirikale munnaffe, n’ekibiina ekikuŋŋaanira mu nnyumba yo:+
3 Ekisa eky’ensusso n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeere nammwe.
4 Bulijjo nneebaza Katonda wange nga nkwogerako mu ssaala zange,+ 5 bwe mpulira ku kwagala n’okukkiriza kw’olina eri Mukama waffe Yesu n’eri abatukuvu bonna. 6 Era nkusabira, okukkiriza ggwe awamu ne bakkiriza bano kwe mulina, kukusobozese okutegeera buli kintu ekirungi kye tulina mu Kristo. 7 Nnasanyuka nnyo era ne mbudaabudibwa bwe nnawulira ku kwagala kw’olina, kubanga emitima gy’abatukuvu gyazzibwamu nnyo amaanyi okuyitira mu ggwe ow’oluganda.
8 Wadde nga nnina obuyinza mu Kristo okukulagira okukola ekituufu, 9 nkukubiriza nga nsinziira ku kwagala kw’olina, nga bw’olaba nti nze Pawulo nkaddiye, era nga kati ndi musibe olwa Kristo Yesu. 10 Nkwegayirira ku lw’omwana wange Onesimo+ gwe nnazaalira+ mu kkomera. 11 Mu kusooka teyalina mugaso gy’oli naye kati wa mugaso gy’oli ne gye ndi. 12 Kaakano ono gwe njagala ennyo mmukomyawo gy’oli.
13 Nnandyagadde okumusigaza asobole okumpeereza mu kifo kyo nga ndi mu kkomera olw’amawulire amalungi.+ 14 Naye saagala kukola kintu kyonna nga tonzikirizza, ekintu ekyo ekirungi oleme kukikola lwa kuwalirizibwa, naye lwa kwagala.+ 15 Oboolyawo yakuddukako okumala akaseera* osobole okuddamu okuba naye emirembe n’emirembe, 16 nga takyali ng’omuddu+ naye ng’asingawo ku kuba omuddu, nga wa luganda omwagalwa,+ naddala eri nze, naye n’okukirawo eri ggwe, mu mubiri ne mu Mukama waffe. 17 N’olwekyo, bw’oba ng’ontwala nga mukwano gwo, mwanirize n’ekisa nga bwe wandinnyanirizza. 18 Ate era, bw’aba ng’alina ekikyamu kye yakukola oba ng’olina ky’omubanja, kiteeke ku nze. 19 Nze Pawulo mpandiika n’omukono gwange: nja kukisasula. Ate era, seetaaga na kukugamba nti, naawe kennyini olina ebbanja gye ndi. 20 Ow’oluganda, nkusaba onnyambe mu kino mu Mukama waffe; sanyusa omutima gwange mu Kristo.
21 Ndi mukakafu nti ojja kukola kye nkusabye. N’olwekyo, nkuwandiikira nga nkimanyi nti ojja kukola n’ekisingawo ku bye ŋŋambye. 22 Okugatta ku ekyo, ntegekera we nnaabeera kubanga nsuubira nti okuyitira mu ssaala zammwe nja kukomawo gye muli.+
23 Epafula+ musibe munnange mu Kristo Yesu akulamusizza, 24 ne Makko, ne Alisutaluuko,+ ne Dema,+ ne Lukka,+ bakozi bannange.
25 Ekisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu Kristo kibeere n’omwoyo gwe mulaga.