Isaaya
20 Mu mwaka Kabaka Salugoni owa Bwasuli mwe yatumira Talutani* e Asudodi,+ yalwanyisa Asudodi n’akiwamba.+ 2 Mu kiseera ekyo Yakuwa yayogera ng’ayitira mu Isaaya+ mutabani wa Amozi, n’amugamba nti: “Genda osumulule ebibukutu bye weesibye mu kiwato era oggyemu engatto mu bigere byo.” N’akola bw’atyo, n’atambula ng’ali bwereere* era nga tayambadde ngatto.
3 Awo Yakuwa n’agamba nti: “Ng’omuweereza wange Isaaya bw’atambudde ng’ali bwereere era nga tayambadde ngatto okumala emyaka esatu okuba akabonero+ era okuba okulabula ku ekyo ekirituuka ku Misiri+ ne ku Esiyopiya,+ 4 bw’atyo kabaka wa Bwasuli bw’alitwala abantu abaliba bawambiddwa e Misiri+ n’abaliba bawaŋŋangusiddwa okuva mu Esiyopiya, abalenzi n’abasajja abakulu, nga bali bwereere, nga tebambadde ngatto, era ng’obubina bwabwe buli bweru. Misiri eriswazibwa. 5 Balifuna entiisa era baliswala olw’okussa essuubi lyabwe mu Esiyopiya n’olw’okwenyumiririza mu Misiri. 6 Ku lunaku olwo abo ababeera ku lubalama luno baligamba nti, ‘Laba ekituuse ku ono mwe twali tutadde essuubi era gye twaddukira okufuna obuyambi n’okuwona kabaka wa Bwasuli! Kaakano tunaasobola tutya okuwonawo?’”