1 Abakkolinso
1 Nze Pawulo eyayitibwa okubeera omutume+ wa Kristo Yesu olw’okwagala kwa Katonda, awamu ne muganda waffe Sossene, 2 mpandiikira ab’omu kibiina kya Katonda ekiri mu Kkolinso,+ abaatukuzibwa mu Kristo Yesu,+ abaayitibwa okuba abatukuvu, awamu n’abo bonna abali mu buli kifo abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo,+ Mukama waabwe era owaffe:
3 Ekisa eky’ensusso n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n’eri Mukama waffe Yesu Kristo bibeere nammwe.
4 Bulijjo nneebaza Katonda wange ku lwammwe olw’ekisa eky’ensusso ky’abalaze okuyitira mu Kristo Yesu; 5 mu ye mugaggawaziddwa mu buli kintu, mu busobozi bw’okubuulira ekigambo ne mu kumanya okujjuvu,+ 6 kubanga obujulirwa obukwata ku Kristo+ bunyweredde ddala mu mmwe, 7 ne kiba nti tewali kirabo kye mutalina nga mulindirira okubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu Kristo.+ 8 Era Katonda ajja kubanyweza okutuukira ddala ku nkomerero, muleme kubaako kye muvunaanibwa ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu Kristo.+ 9 Katonda eyabayita okukolera awamu n’Omwana we Yesu Kristo Mukama waffe, mwesigwa.+
10 Kale ab’oluganda, mbakubiriza mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo okubeeranga obumu mu bye mwogera, era waleme kubaawo njawukana mu mmwe,+ wabula mubeerenga bumu mu ndowooza ne mu kigendererwa.+ 11 Ab’ennyumba ya Kuloowe bantegeeza ebibafaako baganda bange, nti mulina enjawukana. 12 Kye ntegeeza kye kino, nti buli omu ku mmwe agamba nti: “Nze ndi wa Pawulo,” “Ate nze ndi wa Apolo,”+ “Ate nze ndi wa Keefa,”* “Ate nze ndi wa Kristo.” 13 Kristo ayawuddwamu? Pawulo ye yakomererwa ku lwammwe? Oba, mwabatizibwa mu linnya lya Pawulo? 14 Nneebaza Katonda nti sirina n’omu ku mmwe gwe nnabatiza okuggyako Kulisupo+ ne Gayo.+ 15 N’olwekyo, tewali n’omu ayinza kugamba nti mwabatizibwa mu linnya lyange. 16 Kyo kituufu nti nnabatiza n’ab’omu nnyumba ya Siteefana,+ naye simanyi obanga waliwo omulala yenna gwe nnabatiza. 17 Kristo teyantuma kubatiza, wabula okulangirira amawulire amalungi,+ si mu magezi ga bigambo, omuti gwa Kristo ogw’okubonaabona* guleme okufuulibwa ekitagasa.
18 Kubanga ebigambo ebikwata ku muti ogw’okubonaabona* busirusiru eri abo abazikirira,+ naye eri ffe abalokolebwa, ge maanyi ga Katonda.+ 19 Kubanga kyawandiikibwa nti: “Ndireetera amagezi g’abasajja abagezigezi okusaanawo era n’okutegeera kw’abategeevu nja kukuggyawo.”+ 20 Omugezi aluwa? Omuwandiisi aluwa? Omuwakanyi w’ensi eno* aluwa? Amagezi g’ensi eno Katonda teyagafuula busirusiru? 21 Wadde ng’ensi mu magezi gaayo teyamanya Katonda,+ Katonda mu magezi ge+ yalaba nti kirungi okulokola abo abakkiriza ng’ayitira mu busirusiru+ bw’ebyo ebibuulirwa.
22 Abayudaaya basaba okulagibwa obubonero+ n’Abayonaani banoonya amagezi; 23 naye ffe tubuulira ebikwata ku Kristo eyakomererwa, eri Abayudaaya nkonge eyeesittaza, ate eri amawanga busirusiru.+ 24 Naye eri abo abaayitibwa, Abayudaaya n’Abayonaani, Kristo maanyi ga Katonda era magezi ge.+ 25 Kubanga ekintu kya Katonda eky’obusirusiru kiba kya magezi okusinga abantu, n’ekintu kya Katonda ekinafu kiba kya maanyi okusinga abantu.+
26 Ab’oluganda, bwe mutunuulira okuyitibwa kwammwe mukiraba nti abatwalibwa ng’abagezi abaayitibwa si bangi,+ ab’amaanyi si bangi, era n’ab’ebitiibwa* si bangi,+ 27 naye Katonda yalonda ebintu by’ensi ebisirusiru asobole okukwasa abagezi ensonyi; era Katonda yalonda ebintu by’ensi ebinafu asobole okukwasa ebintu eby’amaanyi ensonyi;+ 28 era Katonda yalonda ebintu by’ensi ebigayibwa, ebinyoomebwa, ebintu abantu bye batwala ng’ebitali bikulu, alyoke aggyewo ebintu ebitwalibwa ng’ebikulu,+ 29 waleme kubaawo n’omu eyeenyumiriza mu maaso ga Katonda. 30 Naye ku lulwe muli bumu ne Kristo Yesu afuuse gye tuli amagezi agava eri Katonda, n’obutuukirivu,+ n’okutukuzibwa,+ n’okusumululwa okuyitira mu kinunulo,+ 31 kisobole okuba nga bwe kyawandiikibwa nti: “Oyo eyeenyumiriza yeenyumiririze mu Yakuwa.”*+