2 Samwiri
1 Oluvannyuma lw’okufa kwa Sawulo, Dawudi yaddayo e Zikulagi+ ng’amaze okuwangula* Abamaleki, n’abeera eyo okumala ennaku bbiri. 2 Ku lunaku olw’okusatu, waaliwo omusajja eyava mu lusiisira lwa Sawulo n’agenda ng’ayuzizza ebyambalo bye era ng’ayiye n’enfuufu ku mutwe gwe. Bwe yatuuka awaali Dawudi n’akka ku maviivi ne yeeyala wansi.
3 Awo Dawudi n’amubuuza nti: “Ova wa?” N’amuddamu nti: “Nziruse mu lusiisira lwa Isirayiri.” 4 Dawudi n’amubuuza nti: “Bigenze bitya? Nkwegayiridde mbuulira.” N’amuddamu nti: “Abantu badduse mu lutalo, era bangi bagudde era bafudde. Ne Sawulo ne mutabani we Yonasaani nabo bafudde.”+ 5 Dawudi n’abuuza omuvubuka eyamuleetera amawulire nti: “Otegedde otya nti Sawulo ne mutabani we Yonasaani bafudde?” 6 Omuvubuka n’amuddamu nti: “Nneesanze ndi ku Lusozi Girubowa,+ ne ndaba Sawulo nga yeewaniridde ku ffumu lye, era ng’ab’amagaali n’abeebagadde embalaasi bagenda kumutuukako.+ 7 Bwe yakyuse n’andaba, n’ampita, ne mpitaba nti, ‘Nzuuno!’ 8 N’ambuuza nti, ‘Ggwe ani?’ Ne mmuddamu nti, ‘Ndi Mwamaleki.’+ 9 Awo n’aŋŋamba nti, ‘Nkwegayiridde, yimirira we ndi onzite, kubanga ndi mu bulumi bwa maanyi, ate nga nkyali mulamu.’ 10 Bwe ntyo ne nnyimirira we yabadde ne mmutta,+ kubanga nnategedde nti tajja kuwona olw’ebisago bye yabadde afunye. Nnamuggyeeko engule eyabadde ku mutwe gwe n’ekikomo ekyabadde ku mukono gwe, era mbireese gy’oli mukama wange.”
11 Awo Dawudi n’ayuza ebyambalo bye era n’abasajja be bonna abaali naye ne bakola kye kimu. 12 Ne bakuba ebiwoobe ne bakaaba era ne basiiba+ okutuusa akawungeezi, olwa Sawulo ne mutabani we Yonasaani, n’olw’abantu ba Yakuwa, n’olw’ennyumba ya Isirayiri,+ olw’okuba baali battiddwa n’ekitala.
13 Dawudi n’abuuza omuvubuka eyamuleetera amawulire nti: “Oli wa wa?” N’amuddamu nti: “Ndi mutabani wa mugwira, Omwamaleki.” 14 Dawudi n’amubuuza nti: “Lwaki tewatidde kugolola mukono gwo n’otta oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta?”+ 15 Dawudi n’ayita omu ku bavubuka n’amugamba nti: “Mutte.” Omuvubuka n’amutta.+ 16 Awo Dawudi n’amugamba nti: “Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo, kubanga akamwa ko ke kakulumirizza nti, ‘Nze nnasse oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta.’”+
17 Awo Dawudi n’ayimbira Sawulo ne mutabani we Yonasaani oluyimba luno olw’okukungubaga,+ 18 era n’alagira nti abantu ba Yuda bayigirizibwe oluyimba luno oluyitibwa “Omutego,” oluwandiikiddwa mu kitabo kya Yasali:+
19 “Ab’ekitiibwa battiddwa ku bifo byo ebigulumivu,+ ggwe Isirayiri.
Ab’amaanyi bagudde!
20 Temukyogerako mu Gaasi;+
Temukirangirira mu nguudo za Asukulooni,
Abawala b’Abafirisuuti baleme okusanyuka,
Abawala b’abasajja abatali bakomole baleme okujaganya.
21 Mmwe ensozi za Girubowa,+
Ku mmwe ka kuleme kubaako musulo wadde enkuba,
Wadde ennimiro ezivaamu ebintu ebisobola okuweebwayo eri Katonda,+
Kubanga eyo engabo ey’ab’amaanyi gye baagityoboolera,
Engabo ya Sawulo tekyali ngabo efukiddwako amafuta.
22 Omutego gwa Yonasaani tegwalemwanga+
Kuyiwa musaayi gw’abalabe era n’okusala amasavu g’ab’amaanyi.
N’ekitala kya Sawulo tekyakomangawo nga tekiwangudde.+
23 Sawulo ne Yonasaani,+ ababadde abaganzi* era ababadde baagalibwa ennyo nga balamu,
Ne mu kufa tebaawuliddwa.+
24 Mmwe abawala ba Isirayiri, mukaabire Sawulo
Eyabambaza ebyambalo ebimyufu ebitoneddwatoneddwa,
Eyateeka amajolobero aga zzaabu ku byambalo byammwe.
25 Ab’amaanyi bafiiridde mu lutalo!
Yonasaani attiddwa ku bifo byo ebigulumivu!+
Okwagala kwo gye ndi kubadde kunsingira okwagala kw’abakazi.+
27 Ab’amaanyi bafudde
N’eby’okulwanyisa bisaanyeewo!”