1 Bassekabaka
1 Kabaka Dawudi yali akuze+ era ng’akaddiye nnyo, era wadde baamubikkanga bulangiti, teyabugumanga. 2 Awo abaweereza be ne bamugamba nti: “Ka banoonyeze mukama waffe kabaka omuwala embeerera anaamuweerezanga era anaamulabiriranga; aneebakanga mu kifuba kyo mukama waffe kabaka asobole okubuguma.” 3 Ne banoonya omuwala alabika obulungi mu nsi yonna eya Isirayiri, ne bafuna Abisaagi+ Omusunamu+ ne bamuleeta eri kabaka. 4 Omuwala oyo yali alabika bulungi nnyo, era yalabiriranga kabaka era n’amuweerezanga, naye kabaka teyeegattako naye.
5 Mu kiseera ekyo, Adoniya+ mutabani wa Kaggisi yali yeegulumiza ng’agamba nti: “Ŋŋenda kuba kabaka!” Yafuna eggaali n’abeebagazi b’embalaasi era n’abasajja 50 abaali ab’okuddukiranga mu maaso ge.+ 6 Naye kitaawe yali tamutuukirirangako kumubuuza* nti: “Lwaki okoze bw’otyo?” Adoniya yali alabika bulungi nnyo, era maama we yamuzaala nga Abusaalomu yamala dda okuzaalibwa. 7 Adoniya yateesa ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya awamu ne Abiyasaali+ kabona, ne bamuyamba era ne bamuwagira.+ 8 Naye Zadooki+ kabona, Benaya+ mutabani wa Yekoyaada, nnabbi Nasani,+ Simeeyi,+ Leeyi, n’abalwanyi ba Dawudi abazira,+ tebaawagira Adoniya.
9 Oluvannyuma Adoniya yaweerayo ssaddaaka+ z’endiga n’ente n’ensolo eza ssava okumpi n’ejjinja eriyitibwa Zokeresi, eririraanye Eni-rogeri, era n’ayita baganda be bonna batabani ba kabaka n’abasajja ba Yuda abaali abaweereza ba kabaka. 10 Naye teyayita nnabbi Nasani, ne Benaya, n’abalwanyi abazira, ne Sulemaani muganda we. 11 Awo Nasani+ n’agamba Basu-seba,+ nnyina wa Sulemaani,+ nti: “Tonnakiwulirako nti Adoniya+ mutabani wa Kaggisi afuuse kabaka, nga ne mukama waffe Dawudi talina ky’akimanyiiko? 12 Kale nno jjangu nkuwe amagezi, owonye obulamu bwo n’obulamu bwa mutabani wo Sulemaani.+ 13 Genda eri Kabaka Dawudi omugambe nti, ‘Mukama wange kabaka, si ggwe walayirira omuweereza wo ng’ogamba nti: “Mutabani wo Sulemaani y’anaaba kabaka nga nze nvuddewo, era y’anaatuula ku ntebe yange ey’obwakabaka”?+ Kati olwo lwaki Adoniya afuuse kabaka?’ 14 Bw’onooba ng’okyayogera ne kabaka, nange nja kuyingira, ŋŋambe kabaka nti ky’oyogera kituufu.”
15 Awo Basu-seba n’agenda eri kabaka mu kisenge kye. Kabaka yali akaddiye nnyo, era Abisaagi+ Omusunamu ye yali amulabirira. 16 Basu-seba n’akka ku maviivi n’avunnamira kabaka, kabaka n’amubuuza nti: “Oyagala nkukolere ki?” 17 Basu-seba n’amuddamu nti: “Mukama wange, ggwe walayirira omuweereza wo mu linnya lya Yakuwa Katonda wo nti, ‘Mutabani wo Sulemaani y’anaaba kabaka nga nze nvuddewo, era y’anaatuula ku ntebe yange ey’obwakabaka.’+ 18 Naye laba! Adoniya afuuse kabaka, nga mukama wange kabaka talina ky’akimanyiiko.+ 19 Awaddeyo ente nga ssaddaaka n’ensolo eza ssava, n’endiga mu bungi, era ayise batabani ba kabaka bonna, ne Abiyasaali kabona, ne Yowaabu omukulu w’eggye,+ naye omuweereza wo Sulemaani tamuyise.+ 20 Mukama wange kabaka, Abayisirayiri bonna batunuulidde ggwe obabuulire oyo agenda okutuula ku ntebe ya mukama wange kabaka nga ggwe ovuddewo. 21 Bw’otookole bw’otyo, mukama wange kabaka bw’anaagalamizibwa awamu ne bajjajjaabe, nze ne mutabani wange Sulemaani tujja kutwalibwa ng’ab’enkwe.”
22 Bwe yali ng’akyayogera ne kabaka, nnabbi Nasani n’ayingira.+ 23 Amangu ago ne bagamba kabaka nti: “Nnabbi Nasani wuuno azze!” Awo n’agenda mu maaso ga kabaka n’avunnama era ne yeeyala wansi. 24 Nasani n’agamba nti: “Mukama wange kabaka, wagamba nti, ‘Adoniya y’anaaba kabaka nga nze nvuddewo, era nti y’anaatuula ku ntebe yange ey’obwakabaka’?+ 25 Kubanga olwa leero agenze okuwaayo ssaddaaka+ ez’ente n’endiga n’ensolo eza ssava mu bungi, era ayise batabani ba kabaka bonna, n’abakulu b’eggye, ne Abiyasaali kabona;+ era bali eyo balya era banywera wamu naye, era bagamba nti, ‘Kabaka Adoniya awangaale!’ 26 Naye nze omuweereza wo, ne Zadooki kabona, ne Benaya+ mutabani wa Yekoyaada, ne Sulemaani omuweereza wo, tatuyise. 27 Mukama wange kabaka y’akkirizza kino okubaawo, n’atagamba muweereza we oyo agwanidde okutuula ku ntebe ya mukama wange ey’obwakabaka ng’avuddewo?”
28 Kabaka Dawudi n’amuddamu nti: “Mumpitire Basu-seba.” Awo Basu-seba n’ayingira n’ayimirira mu maaso ga kabaka. 29 Kabaka n’alayira ng’agamba nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu eyannunula mu nnaku yange yonna,+ 30 nga bwe nnakulayirira mu linnya lya Yakuwa Katonda wa Isirayiri nga ŋŋamba nti, ‘Mutabani wo Sulemaani y’anaaba kabaka nga nze nvuddewo, era y’anadda mu kifo kyange n’atuula ku ntebe yange ey’obwakabaka!’ ekyo kye ŋŋenda okukola olwa leero.” 31 Awo Basu-seba n’avunnama era ne yeeyala wansi mu maaso ga kabaka n’agamba nti: “Mukama wange Kabaka Dawudi awangaale!”
32 Amangu ago Kabaka Dawudi n’agamba nti: “Mumpitire Zadooki kabona, ne nnabbi Nasani, ne Benaya+ mutabani wa Yekoyaada.”+ Awo ne bajja mu maaso ga kabaka. 33 Kabaka n’abagamba nti: “Mugende n’abaweereza ba mukama wammwe, mwebagaze mutabani wange Sulemaani ennyumbu yange,*+ mumuserengese e Gikoni.+ 34 Awo Zadooki kabona ne nnabbi Nasani bajja kumufukako amafuta+ okuba kabaka wa Isirayiri; era mujja kufuuwa eŋŋombe mugambe nti, ‘Kabaka Sulemaani awangaale!’+ 35 Mujja kumugoberera ng’akomawo, era ajja kuyingira atuule ku ntebe yange ey’obwakabaka; y’ajja okuba kabaka mu kifo kyange, era nja kumutongoza ng’omukulembeze wa Isirayiri ne Yuda.” 36 Awo Benaya mutabani wa Yekoyaada n’addamu kabaka ng’agamba nti: “Amiina! Yakuwa Katonda wa mukama wange kabaka k’akikakase. 37 Nga Yakuwa bwe yabanga ne mukama wange kabaka, era bw’atyo abeerenga ne Sulemaani,+ era agulumize entebe ye ey’obwakabaka n’okusinga eya mukama wange Kabaka Dawudi.”+
38 Awo kabona Zadooki, nnabbi Nasani, ne Benaya+ mutabani wa Yekoyaada, n’Abakeresi, n’Abaperesi,+ ne baserengeta ne beebagaza Sulemaani ennyumbu ya Kabaka Dawudi,+ ne bamutwala e Gikoni.+ 39 Zadooki kabona n’aggya ejjembe ly’amafuta+ mu weema+ n’afuka amafuta ku Sulemaani,+ ne bafuuwa eŋŋombe, abantu bonna ne baleekaana nga bagamba nti: “Kabaka Sulemaani awangaale!” 40 Awo abantu bonna ne bamugoberera ne bambuka nga bafuuwa endere era nga bajaganya nnyo. Baali baleekaana nnyo, ne kiba nti ensi yatuuka n’okukankana.+
41 Adoniya n’abo bonna be yali ayise baawulira oluyoogaano olwo nga bamaze okulya.+ Yowaabu olwawulira eŋŋombe, n’agamba nti: “Oluyoogaano olwo oluli mu kibuga luva ku ki?” 42 Bwe yali ng’akyayogera, Yonasaani+ mutabani wa kabona Abiyasaali n’ajja. Adoniya n’amugamba nti: “Yingira, kubanga oli musajja mulungi,* era oteekwa okuba ng’amawulire g’oleese malungi.” 43 Naye Yonasaani n’agamba Adoniya nti: “Nedda! Mukama waffe Kabaka Dawudi afudde Sulemaani kabaka. 44 Kabaka atumye Zadooki kabona, ne nnabbi Nasani, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, n’Abakeresi, n’Abaperesi ne bagenda ne beebagaza Sulemaani ennyumbu ya kabaka.+ 45 Ate era Zadooki kabona ne nnabbi Nasani bamufuseeko amafuta e Gikoni okuba kabaka. Bwe bamaze ne bavaayo ne bambuka nga bajaganya, era ekibuga kyonna kirimu oluyoogaano. Ago ge maloboozi ge muwulidde, 46 ate era Sulemaani amaze okutuula ku ntebe y’obwakabaka. 47 N’ekirala, abaweereza ba kabaka bazze ne bayozaayoza mukama waffe Kabaka Dawudi nga bagamba nti, ‘Katonda wo k’afuule erinnya lya Sulemaani ery’ekitiibwa ennyo okusinga eriryo, n’entebe ye ey’obwakabaka k’agigulumize okusinga eyiyo!’ Awo kabaka n’avunnama ku kitanda kye. 48 Ate era kabaka agambye nti, ‘Yakuwa Katonda wa Isirayiri atenderezebwe, ataddewo olwa leero omuntu ow’okutuula ku ntebe yange ey’obwakabaka nga ndaba!’”
49 Abo bonna Adoniya be yali ayise ne batya nnyo, ne bayimuka, buli omu n’akwata lirye. 50 Adoniya naye yatya nnyo olwa Sulemaani, bw’atyo n’ayimuka n’agenda ne yeekwata ku mayembe g’ekyoto.+ 51 Awo ne bagamba Sulemaani nti: “Adoniya atidde nnyo Kabaka Sulemaani, era yeekutte ku mayembe g’ekyoto, ng’agamba nti, ‘Kabaka Sulemaani asooke andayirire nti tajja kutta muweereza we n’ekitala.’” 52 Awo Sulemaani n’agamba nti: “Bw’aneeyisa mu ngeri esaanira, tewali luviiri lwe na lumu lujja kugwa ku ttaka; naye ekintu ekibi bwe kinaazuulibwa mu ye,+ ajja kufa.” 53 Awo Kabaka Sulemaani n’atumya bamuggye ku kyoto. Adoniya n’ajja n’avunnamira Kabaka Sulemaani, oluvannyuma Sulemaani n’amugamba nti: “Genda ewuwo.”