1 Bassekabaka
11 Ng’oggyeeko muwala wa Falaawo,+ Kabaka Sulemaani yayagala abakazi bangi abagwira:+ abakazi Abamowaabu,+ Abaamoni,+ Abeedomu, Abasidoni,+ n’Abakiiti.+ 2 Baali ba mu mawanga Yakuwa ge yagamba Abayisirayiri nti: “Temugendanga mu bo,* era nabo tebajjanga mu mmwe, kubanga bajja kuleetera emitima gyammwe okugoberera bakatonda baabwe.”+ Naye Sulemaani yabeesibako* era yabaagala. 3 Yalina abakazi 700 abambejja, n’abazaana 300, era mpolampola bakazi be baakyusa omutima gwe. 4 Mu bukadde bwa Sulemaani,+ bakazi be baaleetera* omutima gwe okugoberera bakatonda abalala,+ era omutima gwe tegwemalira ku Yakuwa Katonda we ng’omutima gwa Dawudi kitaawe. 5 Sulemaani yasinza Asutoleesi+ katonda omukazi ow’Abasidoni, ne Mirukomu+ katonda eyeenyinyaza ow’Abaamoni. 6 Sulemaani yakola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa, era teyagoberera Yakuwa mu bujjuvu nga Dawudi kitaawe bwe yakola.+
7 Awo Sulemaani n’azimba ekifo ekigulumivu+ ku lusozi olwali mu maaso ga Yerusaalemi, eky’okusinzizaako Kemosi katonda eyeenyinyaza owa Mowaabu, n’ekirala eky’okusinzizaako Moleki+ katonda eyeenyinyaza ow’Abaamoni.+ 8 Ekyo kye yakolera bakazi be bonna abagwira abaanyookerezanga omukka gwa ssaddaaka era abaawangayo ssaddaaka eri bakatonda baabwe.
9 Yakuwa yasunguwalira Sulemaani kubanga omutima gwe gwali guvudde ku Yakuwa Katonda wa Isirayiri,+ eyamulabikira emirundi ebiri,+ 10 era eyali yamulabula obutasinza bakatonda balala.+ Naye teyakola ekyo Yakuwa kye yali amulagidde. 11 Awo Yakuwa n’agamba Sulemaani nti: “Olw’okuba okoze bw’otyo era n’otokuuma ndagaano yange n’okukwata amateeka gange nga bwe nnakulagira, mazima ddala nja kukuggyako obwakabaka, era nja kubuwa omu ku baweereza bo.+ 12 Naye ku lwa Dawudi kitaawo, ekyo sijja kukikola ng’okyali mulamu, wabula nja kubuggya ku mutabani wo.+ 13 Naye sijja kumuggyako bwakabaka bwonna.+ Nja kumuwa+ ekika kimu, ku lwa Dawudi omuweereza wange ne ku lwa Yerusaalemi kye nnalonda.”+
14 Awo Yakuwa n’ayimusiza Sulemaani omuziyiza+ ayitibwa Kadadi Omwedomu, ow’omu lulyo olulangira olwa Edomu.+ 15 Dawudi bwe yawangula Edomu,+ Yowaabu omukulu w’eggye yagenda okuziika abo abaali battiddwa, era yagezaako okutta buli musajja eyali mu Edomu. 16 (Yowaabu ne Isirayiri yonna baamala emyezi mukaaga mu Edomu okutuusa lwe yatta abasajja b’omu Edomu bonna.) 17 Naye Kadadi yadduka n’abamu ku baweereza ba kitaawe Abeedomu ne bagenda e Misiri; mu kiseera ekyo Kadadi yali akyali mwana muto. 18 Baava e Midiyaani ne bagenda e Palani+ ne baggyayo abasajja ne bagenda e Misiri eri Falaawo kabaka wa Misiri. Falaawo yawa Kadadi ennyumba n’ekibanja, era yamuwanga emmere. 19 Kadadi yaganja nnyo mu maaso ga Falaawo, n’atuuka n’okumuwa omukazi eyali muganda wa mukyala we Nnaabakyala Tapenesi. 20 Oluvannyuma lw’ekiseera, muganda wa Tapenesi yazaalira Kadadi omwana ow’obulenzi ayitibwa Genubasi, Tapenesi n’amukuliza* mu nnyumba ya Falaawo; Genubasi yabeeranga wamu n’abaana ba Falaawo mu nnyumba ya Falaawo.
21 Awo Kadadi bwe yali mu Misiri n’awulira nti Dawudi yali agalamiziddwa wamu ne bajjajjaabe,+ era nti ne Yowaabu omukulu w’eggye yali afudde.+ Kadadi n’agamba Falaawo nti: “Nsiibula ŋŋende mu nsi yange.” 22 Naye Falaawo n’amubuuza nti: “Kiki ky’obadde ojula ng’oli nange, ekikwagazisa okuddayo mu nsi yo?” Kadadi n’amuddamu nti: “Tewali, naye nkwegayiridde ndeka ŋŋende.”
23 Katonda era yayimusiza Sulemaani omuziyiza omulala+ ayitibwa Lezoni mutabani wa Eriyada, eyali adduse ku mukama we Kadadezeri,+ kabaka wa Zoba. 24 Dawudi bwe yawangula abantu b’e Zoba,*+ Lezoni yakuŋŋaanya abasajja n’aba omukulu w’ekibinja ky’abazigu. Baagenda e Ddamasiko+ ne babeera eyo ne batandika okufugira mu Ddamasiko. 25 Yaziyiza Isirayiri ekiseera kyonna eky’obufuzi bwa Sulemaani, era yaleetera Isirayiri emitawaana nga Kadadi bwe yakolanga; Lezoni bwe yali afuga Busuuli yali tayagalira ddala Isirayiri.
26 Ate era waaliwo Yerobowaamu+ mutabani wa Nebati Omwefulayimu ow’e Zereda. Yali muweereza wa Sulemaani,+ era nnyina yali nnamwandu eyali ayitibwa Zeruwa. Oyo naye yajeemera* kabaka.+ 27 Ekyaviirako Yerobowaamu okujeemera kabaka kye kino: Sulemaani yali azimbye Ekifunvu*+ era n’aziba n’omuwaatwa ogwali mu bbugwe w’Ekibuga kya Dawudi kitaawe.+ 28 Yerobowaamu yali musajja alina obusobozi. Sulemaani bwe yalaba ng’omuvubuka oyo mukozi nnyo, n’amulonda okukulira+ ab’omu nnyumba ya Yusufu abaakolanga emirimu egy’obuwaze. 29 Mu kiseera ekyo Yerobowaamu yava e Yerusaalemi, era nnabbi Akiya+ Omusiiro n’amusanga mu kkubo. Akiya yali ayambadde ekyambalo ekipya, era abasajja abo bombi baali bokka ku ttale. 30 Akiya n’addira ekyambalo ekipya kye yali ayambadde n’akiyuzaamu ebitundu 12, 31 n’alyoka agamba Yerobowaamu nti:
“Weetwalire ebitundu kkumi, kubanga bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba: ‘Laba nzigya obwakabaka mu mukono gwa Sulemaani, era nja kukuwa ebika kkumi.+ 32 Naye ajja kusigaza ekika kimu+ ku lwa Dawudi omuweereza wange+ era ne ku lwa Yerusaalemi, ekibuga kye nnalonda mu bika byonna ebya Isirayiri.+ 33 Kino nja kukikola olw’okuba banvuddeko+ ne bavunnamira Asutoleesi katonda omukazi ow’Abasidoni, Kemosi katonda wa Mowaabu, ne Mirukomu katonda w’Abaamoni, era tebatambulidde mu makubo gange okukola ebirungi mu maaso gange, era tebakutte biragiro byange na mateeka gange nga Dawudi kitaawe bwe yakola. 34 Kyokka sijja kumuggyako bwakabaka bwonna, naye nja kumuleka abe mukulembeze ennaku zonna ez’obulamu bwe, ku lwa Dawudi omuweereza wange gwe nnalonda,+ kubanga yakwata amateeka gange n’ebiragiro byange. 35 Naye nja kuggya obwakabaka mu mukono gwa mutabani we mbukuwe, kwe kugamba, ebika kkumi.+ 36 Mutabani we nja kumuwa ekika kimu, Dawudi omuweereza wange abenga n’ettaala mu maaso gange mu Yerusaalemi,+ ekibuga kye nnalonda okuteeka omwo erinnya lyange. 37 Nja kukutwala, era ojja kufuga abantu bonna, era ojja kuba kabaka wa Isirayiri. 38 Ate era bw’onookolanga ebyo byonna bye nkulagira, n’otambulira mu makubo gange, n’okola ebirungi mu maaso gange ng’okwata ebiragiro byange n’amateeka gange, nga Dawudi omuweereza wange bwe yakola,+ nja kubeeranga naawe. Nja kukuzimbira ennyumba ey’olubeerera, nga bwe nnazimbira Dawudi,+ era nja kukufuula omufuzi wa Isirayiri. 39 Nja kufeebya ab’ezzadde lya Dawudi olw’ebikolwa byabwe ebibi,+ naye ekyo sirikikola ebbanga lyonna.’”+
40 Awo Sulemaani n’ayagala okutta Yerobowaamu, naye Yerobowaamu n’addukira e Misiri eri Sisaki+ kabaka wa Misiri,+ n’abeera eyo okutuusa Sulemaani lwe yafa.
41 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Sulemaani, ebyo byonna bye yakola, era n’amagezi ge, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo bya Sulemaani.+ 42 Ebbanga* Sulemaani lye yafugira Isirayiri yonna mu Yerusaalemi lyali emyaka 40. 43 Awo Sulemaani n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe, era n’aziikibwa mu Kibuga kya Dawudi kitaawe; Lekobowaamu+ mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.