Engero
5 Mwana wange, ssaayo omwoyo eri amagezi gange.
Tega okutu eri okutegeera kwange,+
2 Olyoke okuume obusobozi bwo obw’okulowooza obulungi
N’emimwa gyo gikuume okumanya.+
3 Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya ng’ebisenge by’omubisi gw’enjuki,+
N’akamwa ke kasinga amafuta g’ezzeyituuni obuweweevu.+
5 Ebigere bye bikkirira mu kufa.
Ayolekera magombe.*
6 Talowooza ku kkubo ery’obulamu.
Abungeeta bubungeesi, tamanyi gy’alaga.
7 Kale baana bange, mumpulirize;
Temuvanga ku bigambo byange.
8 Omukazi ng’oyo omwewalanga;
N’oluggi lw’ennyumba ye tolusembereranga,+
9 Oleme kuggwaamu kitiibwa,+
Era oleme kubonaabona ekiseera ky’obulamu bwo ekisigaddeyo;+
10 N’abantu abalala baleme kutwala bya bugagga byo,*+
Era n’ebintu bye wateganira bireme kugenda mu nnyumba y’omugwira.
11 Oleme okusinda ku nkomerero y’obulamu bwo
Nga tokyalina maanyi, era nga n’omubiri gukuweddeko,+
12 N’ogamba nti: “Kale nnakyayira ki okubuulirirwa?
Omutima gwange gwanyoomera ki okunenyezebwa?
13 Saawuliriza ddoboozi ly’abo abanjigirizanga,
Era sassaayo mwoyo eri abasomesa bange.
14 Kaakano nnaatera okusaanawo
Ng’ekibiina kyonna kiraba.”+
16 Amazzi g’omu nsulo zo gandisaasaanidde ebweru,
Amazzi g’emigga gyo ne gasaasaana mu bifo ebya lukale?+
17 Leka gabe gago wekka,
So si ga bantu balala.+
Amabeere ge ka gakumatizenga* ebiro byonna.
K’osanyusibwenga okwagala kwe bulijjo.+
22 Ebyonoono by’omuntu omubi bimusuula mu mutego,
Emiguwa gy’ebibi bye gijja kumusiba.+
23 Ajja kufa olw’obutawabulwa,
Ajja kuwaba olw’obusirusiru bwe obungi.