Koseya
8 “Teeka eŋŋombe ku mumwa gwo.+
Waliwo ajja ng’empungu okulumba ennyumba ya Yakuwa,+
Olw’okuba bamenye endagaano yange,+ era olw’okuba bamenye amateeka gange.+
2 Bankaabirira nti, ‘Ai Katonda waffe, ffe Isirayiri tukumanyi!’+
3 Isirayiri asudde eri ebirungi.+
Omulabe k’amugobe.
4 Beerondera bakabaka, naye nga tebayitidde mu nze.
Beerondera abaami, naye nga sibakkirizza.
Baakola ebifaananyi mu ffeeza waabwe ne mu zzaabu waabwe,+
Era ekyo kijja kubaviirako okuzikirizibwa.+
5 Ggwe Samaliya, ekifaananyi kyo eky’ennyana kisuuliddwa eri.+
Obusungu bwange bubabuubuukidde.+
Balituusa wa okuba nga tebasobola kwetukuza ne baba nga tebaliiko musango guno?
6 Kino kyava mu Isirayiri.
Omukozi ye yakikola, era ekyo si Katonda;
Ekifaananyi ky’ennyana eky’e Samaliya kijja kufuuka bupapajjo.
Tewali kikolo kiriko mmere ekuze;+
Era kyonna ekiba kimeze tekivaamu buwunga.
Bwe wanaabaawo ekivaamu obuwunga, abagwira bajja kubulya.+
8 Isirayiri ejja kuliibwa.+
Bajja kubeera mu mawanga+
Nga balinga ekibya ekitalina mugaso.
9 Kubanga bagenze e Bwasuli;+ balinga endogoyi ey’omu nsiko ebeera yokka.
Efulayimu baguze bamalaaya okuba baganzi baabwe.+
10 Era wadde nga babagula mu mawanga,
Nja kubakuŋŋaanya wamu;
Bajja kutandika okubonaabona+ olw’omugugu kabaka n’abaami gwe batikka abantu.
11 Efulayimu akoze ebyoto bingi n’ayonoona.+
Byafuuka byoto bya kwonoonerako.+
12 Nnamuwandiikira ebintu bingi eby’omu mateeka gange,
Naye tebaabifaako.+
13 Bawaayo gye ndi ssaddaaka ng’ebirabo era balya ennyama yaazo,
Naye Yakuwa tazisanyukira.+
Kaakano ajja kujjukira okwonoona kwabwe, era ajja kubabonereza olw’ebibi byabwe.+
14 Isirayiri yeerabira Omutonzi+ we era yazimba amasinzizo;+
Ne Yuda yazimba ebibuga bingi ebiriko bbugwe.+
Naye nja kusindika omuliro mu bibuga bye,
Era gujja kwokya eminaala gya buli omu.”+