Isaaya
Ka gasembere googere.+
Ka tukuŋŋaane wamu wabeewo okusala omusango.
2 Ani alina gw’ayimusizza okuva ebuvanjuba,+
N’amuyita mu butuukirivu okujja awali ebigere bye,*
Okuwaayo amawanga gy’ali
N’okumusobozesa okuwangula bakabaka?+
Ani abafuula enfuufu mu maaso g’ekitala kye,
Abafuula ng’ebisubi ebifuumuulibwa embuyaga mu maaso g’omutego gwe ogw’obusaale?
3 Abagoba era tafuna kuziyizibwa kwonna
Ng’ayita mu makubo ebigere bye mwe bitayitanga.
4 Ani akoze kino,
Ayita ab’emirembe egy’enjawulo okuva ku lubereberye?
5 Ebizinga bikirabye ne bitya.
Ebitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala byatandika okukankana.
Abantu bajja ne basembera.
6 Buli omu ayamba munne
Era n’agamba muganda we nti: “Beera mugumu.”
7 Omukozi azzaamu omuweesi amaanyi;+
Oyo abyabyataza ng’akozesa ennyondo
Azzaamu amaanyi oyo akubirakubira ku luyijja.
Ayogera ku kugattibwa kw’ebyuma nti: “Kulungi.”
Awo ne kikomererwa n’emisumaali kireme kugwa.
8 “Naye ggwe Isirayiri, oli muweereza wange,+
Ggwe Yakobo gwe nnalonda,+
Ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange,+
9 Ggwe gwe nnaggya eyo ensi gy’ekoma,+
Era ggwe gwe nnayita okuva mu bitundu byayo ebisingayo okuba ewala.
Teweeraliikirira, kubanga nze Katonda wo.+
Nja kukuwa amaanyi era nja kukuyamba,+
Nja kukuwanirira n’omukono gwange ogwa ddyo ogw’obutuukirivu.’
11 Laba! Abo bonna abakusunguwalira bajja kuswazibwa era bajja kufeebezebwa.+
Abo abakulwanyisa bajja kumalibwawo era bajja kuzikirira.+
12 Ojja kunoonya abantu abalwana naawe naye tojja kubalaba;
Abantu abakulwanyisa bajja kuba ng’ekintu ekitaliiwo, ng’ekintu ekitaliimu nsa.+
13 Kubanga nze Yakuwa Katonda wo, nkwata omukono gwo ogwa ddyo,
Nze nkugamba nti, ‘Totya. Nja kukuyamba.’+
14 Totya, ggwe Yakobo olusiriŋŋanyi,*+
Mmwe abantu ba Isirayiri, nja kubayamba,” bw’agamba Yakuwa Omununuzi wammwe,+ Omutukuvu wa Isirayiri.
15 “Laba! Nkufudde ekyuma ekiwuula,+
Ekyuma ekiwuula ekipya ekirina amannyo ku njuyi zombi.
Ojja kulinnyirira ensozi ozibetente
Era obusozi ojja kubufuula ng’ebisusunku.
16 Ojja kubiwewa,
Empewo ebitwale;
Embuyaga ejja kubisaasaanya.
17 “Omunaku n’omwavu banoonya amazzi, naye tegaliiwo.
Olulimi lwabwe lukaze olw’ennyonta.+
Nze Yakuwa nja kubaanukula.+
Nze Katonda wa Isirayiri sijja kubaabulira.+
Eddungu nja kulifuula kidiba ky’amazzi
N’ensi enkalu nja kugifuula nsulo za mazzi.+
19 Nja kusimba mu ddungu omuti gw’entolokyo,
N’omuti gwa sita n’omukadasi n’omuti gwa payini.+
Nja kusimba mu ddungu omuti gw’omuberosi,
Wamu n’omutidali n’omuteyasi,+
20 Abantu bonna balyoke balabe era bamanye
Basseeyo omwoyo era bategeere
Nti omukono gwa Yakuwa gwe gukoze kino,
Era nti Omutukuvu wa Isirayiri y’akireese.”+
21 “Mwanje ensonga zammwe,” Yakuwa bw’agamba.
“Muleete obukakafu,” Kabaka wa Yakobo bw’agamba.
22 “Muleete obukakafu mutubuulire ebiribaawo.
Oba mutubuulire ebintu ebigenda okubaawo.+
23 Mutubuulire ebiribaawo mu biseera eby’omu maaso,
Tulyoke tumanye nti muli bakatonda.+
Mubeeko kye mukolawo, ekirungi oba ekibi,
Tuwuniikirire nga tukirabye.+
24 Laba! Muli kintu ekitaliiwo,
Era bye mukola tebiriimu nsa.+
Oyo yenna abalondawo mmwe wa muzizo.+
25 Nnyimusizza omuntu okuva ebukiikakkono era ajja kujja,+
Oyo ava ebuvanjuba+ ajja kukoowoola erinnya lyange.
Ajja kulinnyirira abafuzi ng’alinnyirira ebbumba,+
Ng’omubumbi bw’alinnyirira ebbumba ebbisi.
26 Kino ani yakyogerako okuva ku lubereberye tusobole okumanya,
Oba okuva mu biseera eby’edda tusobole okugamba nti, ‘Mutuufu’?+
Mazima ddala tewali n’omu yakirangirira!
Tewali n’omu yakyogerako!
Tewali yali awuliddeko kintu kuva gye muli!”+
27 Nze nnasooka okugamba Sayuuni nti: “Laba ebigenda okubaawo!”+
Era ndisindika e Yerusaalemi oyo alina amawulire amalungi.+
28 Nnakanda kutunula naye nga tewali n’omu;
Era mu bo temwalimu muwi wa magezi n’omu.
Nnabagambanga babeeko kye baddamu.
29 Laba! Bonna butaliimu.*
Bye bakola tebiriimu nsa.
Ebifaananyi byabwe eby’ekyuma* mpewo buwewo era tebirina mugaso.+