Olubereberye
40 Oluvannyuma lw’ebyo omusenero omukulu+ owa kabaka wa Misiri n’omufumbiro we omukulu ne basobya eri mukama waabwe kabaka. 2 Bw’atyo Falaawo n’asunguwalira abakungu be bano ababiri: omusenero omukulu n’omufumbiro omukulu,+ 3 n’abateeka mu kkomera ery’ennyumba y’omukulu w’abakuumi,+ Yusufu gye yali asibiddwa.+ 4 Omukulu w’abakuumi n’alonda Yusufu okubeera nabo abalabirirenga;+ ne babeera mu kkomera okumala ekiseera.*
5 Omusenero omukulu owa kabaka wa Misiri n’omufumbiro we, abaali basibiddwa mu kkomera, baaloota ebirooto mu kiro kimu, nga buli kirooto kirina amakulu ga njawulo. 6 Yusufu bwe yajja gye bali enkeera n’alaba nga banakuwavu. 7 N’abuuza abakungu ba Falaawo abo abaali basibiddwa naye mu nnyumba ya mukama we nti: “Kiki ekibanakuwazza bwe muti leero?” 8 Ne bamuddamu nti: “Buli omu ku ffe yaloose ekirooto naye tewali ayinza kutubuulira makulu gaakyo.” Yusufu n’abagamba nti; “Okutegeeza amakulu si kwa Katonda?+ Mubimbuulire.”
9 Awo omusenero omukulu n’abuulira Yusufu ekirooto kye n’amugamba nti: “Mu kirooto kyange nnalabye omuzabbibu. 10 Ku muzabbibu kwabaddeko obutabi busatu, era gwabadde guleeta ebikoola. Ne gumulisa n’oluvannyuma ne gubala ebirimba by’ezzabbibu ne byengera. 11 Ekikopo kya Falaawo kyabadde mu ngalo zange, ne nnoga ezzabbibu ne ngikamulira mu kikopo kya Falaawo, oluvannyuma ne nkimuwa.” 12 Yusufu n’amugamba nti: “Gano ge makulu gaakyo. Obutabi obusatu ze nnaku ssatu. 13 Mu nnaku ssatu Falaawo ajja kukusumulula* akuzzeeyo ku mulimu gwo;+ era ojja kukwasanga Falaawo ekikopo mu ngalo ze omuweereze eby’okunywa nga bwe wakolanga bwe wali omusenero we.+ 14 Naye bwe bikugenderanga obulungi onzijukiranga. Nkwegayiridde ondaganga okwagala okutajjulukuka n’onjogerako eri Falaawo nsobole okuggibwa mu kifo kino. 15 Kubanga nnawambibwa mu nsi y’Abebbulaniya;+ era tewali kintu kyonna kye nnali nkoze kuno ekiŋŋwanyiza okuteekebwa mu kkomera.”*+
16 Omufumbiro omukulu bwe yalaba ng’amakulu Yusufu g’awadde malungi, naye n’amugamba nti: “Nange nnaloose ekirooto nga nneetisse ku mutwe ebibbo bisatu ebirimu emigaati emyeru. 17 Mu kibbo ekyabadde kisooka waggulu mwabaddemu emigaati egya buli kika nga bagifumbidde Falaawo, era ng’ebinyonyi bigiriira mu kibbo ku mutwe gwange.” 18 Yusufu n’amuddamu nti, “Gano ge makulu gaakyo. Ebibbo ebisatu ze nnaku ssatu. 19 Mu nnaku ssatu Falaawo ajja kukutemako omutwe* akuwanike ku muti, era ebinyonyi bijja kulya ennyama yo.”+
20 Ku lunaku olw’okusatu gaali mazaalibwa+ ga Falaawo, n’afumbira abaweereza be bonna ekijjulo, era n’aggyayo* omusenero omukulu n’omufumbiro omukulu ng’abaweereza be bonna balaba. 21 Era n’azza omusenero omukulu ku mulimu gwe, ne yeeyongera okukwasanga Falaawo ekikopo. 22 Naye omufumbiro omukulu n’amuwanika nga Yusufu bwe yabategeeza amakulu g’ebirooto.+ 23 Kyokka omusenero omukulu teyajjukira Yusufu.+