Olubereberye
32 Yakobo ne yeeyongerayo ku lugendo lwe era bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana. 2 Yakobo bwe yabalaba, amangu ago n’agamba nti: “Lino lye ggye lya Katonda!” Ekifo ekyo kyeyava akituuma Makanayimu.*
3 Awo Yakobo n’atuma ababaka okumukulemberamu eri muganda we Esawu mu nsi ya Seyiri,+ mu kitundu kya Edomu,+ 4 n’abalagira nti: “Mugambe mukama wange Esawu nti, ‘Omuweereza wo Yakobo agambye nti: “Mbadde ne Labbaani ekiseera kiwanvu okutuusa kaakano.+ 5 Era nfunye ente, endogoyi, endiga, n’abaweereza abasajja n’abakazi,+ era mpeerezza mukama wange obubaka okumutegeeza ku kujja kwange, ankwatirwe ekisa.”’”
6 Oluvannyuma ababaka ne bakomawo eri Yakobo ne bamugamba nti: “Twasanga muganda wo Esawu era naye ali mu kkubo ajja okukusisinkana, era ali n’abasajja 400.”+ 7 Awo Yakobo n’atya nnyo era ne yeeraliikirira.+ N’ayawulamu ebibinja bibiri abantu abaali naye, n’ebisibo, n’ente, n’eŋŋamira. 8 N’agamba nti: “Esawu bw’anaalumba ekibinja ekimu, ekibinja ekirala kinaawonawo.”
9 Oluvannyuma Yakobo n’agamba nti: “Ai Katonda wa jjajjange Ibulayimu, Katonda wa kitange Isaaka, Ai Yakuwa, ggwe eyaŋŋamba nti, ‘Ddayo mu nsi yo, mu b’eŋŋanda zo, era nti nja kukukolera ebirungi,’+ 10 sigwanira kwagala kutajjulukuka na bwesigwa by’olaze omuweereza wo,+ kubanga nnasomoka omugga guno Yoludaani nga nnina muggo gwokka naye kaakano nnina ebibinja bibiri.+ 11 Nkusaba+ onnunule mu mukono gwa muganda wange Esawu kubanga ntya nti ayinza okujja n’annumba nze+ awamu n’abaana ne bannyaabwe. 12 Era ggwe wagamba nti: ‘Nja kukukolera ebirungi era ezzadde lyo ndirifuula ng’omusenyu gw’ennyanja ogutayinza kubalibwa olw’obungi.’”+
13 N’asula awo ekiro ekyo. N’atoola ku bintu bye awe muganda we Esawu ekirabo kino:+ 14 embuzi enkazi 200 n’embuzi ennume 20, endiga enkazi 200 n’endiga ennume 20, 15 eŋŋamira 30 ezaali ziyonsa, ente enkazi 40, ente ennume 10, endogoyi enkazi 20 n’endogoyi ennume 10.+
16 Awo n’azikwasa abaweereza be nga buli kibinja kiri kyokka, era n’abagamba nti: “Musomoke munkulemberemu era mulekewo ebbanga wakati w’ekibinja ekimu n’ekirala.” 17 Ate era n’alagira eyasooka nti: “Muganda wange Esawu bw’anaakusisinkana n’akubuuza nti, ‘Oli w’ani, era olaga wa, era ensolo zino ezikukulembeddemu z’ani?’ 18 ng’omuddamu nti, ‘Za muweereza wo Yakobo. Kye kirabo ky’aweerezza mukama wange Esawu,+ era naye kennyini atuvaako mabega.’” 19 N’alagira n’ow’okubiri, n’ow’okusatu, era n’abo bonna abaali bagoba ebisolo ng’agamba nti: “Bwe mutyo bwe munaagamba Esawu nga mumusisinkanye. 20 Era mumugambe nti, ‘Omuweereza wo Yakobo atuvaako mabega.’” Kubanga muli yagamba nti: ‘Bwe mmuwooyawooya nga nsoosaayo ekirabo,+ oluvannyuma bwe nnaamusisinkana ayinza okunnyaniriza.’ 21 Awo abaweereza be abaalina ebirabo ne bamukulemberamu ne basomoka, naye ye ekiro ekyo n’asula mu lusiisira.
22 N’asituka ekiro ekyo n’atwala bakazi be ababiri+ n’abaweereza be ababiri+ ne batabani be 11 ne basomokera ku musomoko gwa Yabboki.+ 23 Bw’atyo n’abatwala n’abasomosa omugga* ne byonna bye yalina.
24 Oluvannyuma Yakobo n’asigala yekka. Awo omusajja n’ajja n’atandika okumeggana naye okutuusa emmambya lwe yasala.+ 25 Omusajja bwe yalaba nga tayinzizza Yakobo, n’amukwata eggumba ly’ekisambi we lyegattira ku bbunwe, eggumba lya Yakobo ery’ekisambi ne liseeseetuka ng’ameggana naye.+ 26 Oluvannyuma omusajja n’amugamba nti: “Ndeka ŋŋende kubanga emmambya esala.” N’amuddamu nti: “Sijja kukuleka okutuusa ng’ompadde omukisa.”+ 27 Omusajja n’amubuuza nti: “Erinnya lyo ggwe ani?” N’amuddamu nti: “Yakobo.” 28 N’amugamba nti: “Tokyayitibwa Yakobo wabula Isirayiri,*+ kubanga omegganye ne Katonda+ era n’abantu, n’owangula.” 29 Yakobo n’amugamba nti: “Nkwegayiridde mbuulira erinnya lyo.” N’amuddamu nti: “Lwaki ombuuza erinnya lyange?”+ N’aweera awo Yakobo omukisa. 30 Yakobo n’atuuma ekifo ekyo Peniyeri,*+ kubanga yagamba nti, “Ndabye Katonda maaso ku maaso naye ne nsigala nga ndi mulamu.”+
31 Enjuba n’emwakako nga yaakava e Penuweri,* naye yali awenyera olwa bbunwe we.+ 32 Eyo ye nsonga lwaki n’okutuusa leero abaana ba Isirayiri tebalya kinywa ekiri awo eggumba ly’ekisambi we lyegattira ku bbunwe, kubanga omusajja yakwata Yakobo ku kinywa ekiri awo eggumba ly’ekisambi we lyegattira ku bbunwe.