Yakobo
2 Baganda bange, mukkiririza mu Mukama waffe Yesu Kristo ow’ekitiibwa, ate mu kiseera kye kimu ne musosola abalala?+ 2 Kubanga omuntu anaanise empeta eza zzaabu ku ngalo ze era ayambadde engoye ennungi bw’ayingira mu lukuŋŋaana lwammwe, n’omwavu naye n’ayingira ng’ayambadde engoye enkyafu, 3 mufaayo ku oyo ayambadde engoye ennungi ne mumugamba nti: “Tuula wano mu kifo ekirungi,” naye ne mugamba omwavu nti: “Ggwe sigala ng’oyimiridde,” oba nti: “Tuula awo wansi okumpi n’akatebe kwe nteeka ebigere”?+ 4 Bwe muba nga bwe mutyo bwe mukola, muba temusosolagana mmwekka na mmwekka,+ era muba temufuuse balamuzi abasalawo obubi?+
5 Muwulire, baganda bange abaagalwa. Katonda teyalonda abantu ensi b’etwala okuba abaavu okubeera abagagga mu kukkiriza,+ era abasika b’Obwakabaka bwe yasuubiza abo abamwagala?+ 6 Naye mmwe munyooma abaavu. Abagagga si be babanyigiriza+ mmwe era ne babatwala mu mbuga z’amateeka? 7 Si be bavvoola erinnya eddungi lye mwaweebwa? 8 Kaakano bwe muba nga mugondera etteeka lya Kabaka ekkulu okusinziira ku kyawandiikibwa kino, “Yagalanga muliraanwa* wo nga bwe weeyagala,”+ mukola bulungi. 9 Naye bwe mweyongera okusosolagana,+ muba mwonoona, era amateeka galaga nti muba boonoonyi.+
10 Kubanga buli akwata Amateeka gonna, naye n’abaako ky’alemererwa okutuukiriza, aba amenye Amateeka gonna.+ 11 Kubanga oyo eyagamba nti, “Toyendanga,”+ era ye yagamba nti, “Tottanga.”+ Kale, bw’otoyenda naye n’otta, oba ofuuse mumenyi w’amateeka. 12 Mwogerenga era mweyisenga ng’abo abagenda okulamulwa okusinziira ku tteeka ly’abantu ab’eddembe.*+ 13 Oyo atali musaasizi ajja kusalirwa omusango awatali kusaasirwa.+ Obusaasizi businga okusalirwa omusango.
14 Kigasa ki baganda bange omuntu bw’agamba nti alina okukkiriza naye nga talina bikolwa?+ Okukkiriza okwo kuyinza okumulokola?+ 15 Singa muganda waffe oba mwannyinaffe aba talina kya kwambala* oba emmere emumala olunaku, 16 kyokka omu ku mmwe n’amugamba nti, “Genda mirembe, obugume era olye okkute,” naye n’atamuwa byetaago bya mubiri gwe, kiba kigasa ki?+ 17 Bwe kityo, n’okukkiriza bwe kutaba na bikolwa kuba kufu.+
18 Naye omuntu ayinza okugamba nti: “Olina okukkiriza, nze nnina ebikolwa. Ndaga okukkiriza kwo okutaliiko bikolwa, nange nkulage okukkiriza kwange mu bikolwa byange.” 19 Okkiriza nti waliwo Katonda omu? Okola bulungi. Ne badayimooni nabo bakkiriza era ne bakankana.+ 20 Naye okimanyi ggwe omuntu ataliimu nsa nti okukkiriza okutaliiko bikolwa tekugasa? 21 Ibulayimu kitaffe teyayitibwa mutuukirivu lwa bikolwa oluvannyuma lw’okuwaayo Isaaka mutabani we ku kyoto?+ 22 Olaba nti okukkiriza kwe kwagendera wamu n’ebikolwa bye, era olw’ebikolwa bye okukkiriza kwe kwatuukirira,+ 23 era ekyawandiikibwa kyatuukirira ekigamba nti: “Ibulayimu n’akkiririza mu Yakuwa* n’abalibwa okuba omutuukirivu,”+ era n’ayitibwa “mukwano gwa Yakuwa.”*+
24 Mulaba nti omuntu ayitibwa mutuukirivu lwa bikolwa, so si lwa kukkiriza kwokka. 25 Ne Lakabu malaaya teyayitibwa mutuukirivu olw’ebikolwa bye, oluvannyuma lw’okusembeza ababaka era n’abayisa mu kkubo eddala?+ 26 Mazima ddala, ng’omubiri ogutaliimu mwoyo* bwe guba omufu,+ bwe kutyo n’okukkiriza okutaliiko bikolwa kuba kufu.+