Makko
5 Awo ne batuuka emitala w’ennyanja mu kitundu ky’Abagerasene.+ 2 Amangu ddala nga Yesu yaakava mu lyato, omusajja eyaliko omwoyo omubi yajja gy’ali ng’ava mu kifo awaali entaana.* 3 Eyo gye yabeeranga; era okutuusiza ddala mu kiseera ekyo, tewali muntu yali ayinza kumusiba n’amunyweza wadde ng’akozesezza lujegere. 4 Emirundi mingi yasibibwanga empingu n’enjegere, naye ng’abikutulakutula; era tewali muntu yenna yali amusobola. 5 Bulijjo emisana n’ekiro, yaleekaaniranga mu kifo awaali entaana* ne mu nsozi, era yeesalaasalanga amayinja. 6 Naye bwe yalengera Yesu, n’adduka n’avunnama mu maaso ge.+ 7 N’aleekaana nnyo ng’agamba nti: “Onnanga ki ggwe Yesu, Omwana wa Katonda Asingayo Okuba Waggulu? Nkulayiza mu linnya lya Katonda obutambonyaabonya.”+ 8 Kubanga Yesu yali agugamba nti: “Ggwe omwoyo omubi, va mu musajja ono.”+ 9 Naye Yesu n’agubuuza nti: “Erinnya lyo ggwe ani?” Ne gumuddamu nti: “Erinnya lyange nze Liigyoni,* kubanga tuli bangi.” 10 Ne gumwegayirira emirundi mingi obutagoba myoyo mu nsi eyo.+
11 Ku lusozi awo waaliwo eggana ly’embizzi+ eddene nga zirya.+ 12 Emyoyo ne gimwegayirira nga gigamba nti: “Tusindike mu mbizzi tuyingire omwo.” 13 N’agikkiriza. Awo emyoyo emibi ne gimuvaamu ne giyingira mu mbizzi, era eggana eryo eryali liweramu embizzi nga 2,000 ne lifubutuka ne ligenda ku kagulungujjo k’olusozi, ne liwanukayo ne ligwa mu nnyanja ne lisaanawo lyonna. 14 Naye abo abaali bazirunda ne badduka ne bategeeza ab’omu kibuga n’ab’omu byalo, era abantu ne bajja okulaba ekyali kibaddewo.+ 15 Bwe baatuuka awaali Yesu, ne balaba omusajja eyaliko dayimooni, oyo eyali agobeddwako eggye, ng’atudde ng’ayambadde era ng’ategeera bulungi, ne batya nnyo. 16 Abo abaali balabye ekyali kibaddewo ne babategeeza ebyali bituuse ku musajja eyaliko dayimooni era ne ku mbizzi. 17 Awo ne batandika okwegayirira Yesu ave mu kitundu kyabwe.+
18 Awo bwe yali alinnya eryato, omusajja eyali agobeddwako dayimooni n’amwegayirira agende naye.+ 19 Kyokka, teyamukkiriza, naye n’amugamba nti: “Genda eka mu b’eŋŋanda zo obabuulire byonna Yakuwa* by’akukoledde n’ekisa ky’akulaze.” 20 Omusajja oyo n’agenda n’atandika okulangirira mu Dekapoli* ebintu byonna Yesu bye yali amukoledde era abantu bonna ne beewuunya.
21 Yesu bwe yasaabala mu lyato n’addayo emitala, ekibiina ekinene ne kikuŋŋaanira we yali ku lubalama lw’ennyanja.+ 22 Awo omu ku bakulu b’ekkuŋŋaaniro ayitibwa Yayiro n’ajja, era bwe yamulaba n’avunnama mu maaso ge.+ 23 N’amwegayirira nnyo ng’agamba nti: “Muwala wange mulwadde nnyo.* Nkwegayiridde, jjangu omuteekeko emikono+ awone aleme okufa.” 24 Awo Yesu n’agenda naye, era abantu bangi nnyo ne bamugoberera nga bagenda bamunyigiriza.
25 Waaliwo omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky’omusaayi+ okumala emyaka 12.+ 26 Yali abonyeebonye nnyo olw’obujjanjabi abasawo bangi bwe baamuwanga, era ng’asaasaanyizza ssente ze zonna, naye n’atafunawo njawulo, wabula nga yeeyongera kuba bubi. 27 Bwe yawulira ebikwata ku Yesu, n’ajjira mu kibiina ky’abantu abaali bamugoberera, n’akwata ku kyambalo kye eky’okungulu,+ 28 kubanga yali agamba nti: “Ne bwe nnaakwata obukwasi ku kyambalo kye eky’okungulu nja kuwona.”+ 29 Amangu ago n’alekera awo okukulukuta omusaayi, era n’awulira mu mubiri gwe nti yali awonyezeddwa obulwadde obwo obwali bumubonyaabonya.
30 Amangu ago Yesu n’awulira ng’amaanyi+ gamuvuddemu, n’akyuka n’abuuza ekibiina ky’abantu nti: “Ani akutte ku kyambalo kyange eky’okungulu?”+ 31 Naye abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Olaba ekibiina ky’abantu kikunyigiriza ate n’obuuza nti, ‘Ani ankutteko?’” 32 Naye n’atunulatunula okulaba eyali amukutteko. 33 Omukazi ng’ategedde ekimutuuseeko, yatya nnyo era n’akankana; n’ajja n’afukamira mu maaso ge n’amubuulira buli kimu. 34 Yesu n’amugamba nti: “Muwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza. Genda mirembe+ era wonera ddala obulwadde obubadde bukubonyaabonya.”+
35 Bwe yali akyayogera, abasajja abamu abaava mu maka g’omukulu w’ekkuŋŋaaniro ne bajja ne bagamba nti: “Muwala wo afudde! Lwaki otawaanya omuyigiriza?”+ 36 Naye Yesu bwe yawulira bye baayogera, n’agamba omukulu w’ekkuŋŋaaniro nti: “Totya,* wabula laga okukkiriza.”+ 37 Awo n’atakkiriza muntu yenna kumugoberera okuggyako Peetero, Yakobo, ne Yokaana muganda wa Yakobo.+
38 Awo ne batuuka mu maka g’omukulu w’ekkuŋŋaaniro n’alaba abantu nga baaziirana, nga bakaaba, era nga bakuba ebiwoobe.+ 39 Bwe yayingira n’abagamba nti: “Lwaki mwaziirana, era lwaki mukaaba? Omwana tafudde, wabula yeebase.”+ 40 Awo ne batandika okumusekerera. Naye oluvannyuma lw’okubafulumya bonna wabweru, n’agenda ne kitaawe w’omwana ne nnyina n’abo be yajja nabo, n’ayingira omwana gye yali. 41 N’akwata omukono gw’omwana n’amugamba nti: “Talisa kumi,” ekivvuunulwa nti: “Muwala, nkugamba nti yimuka.”+ 42 Amangu ago omuwala n’ayimuka, n’atandika okutambula. (Yali wa myaka 12.) Awo bonna ne basanyuka nnyo. 43 Naye n’abakuutira obutabuulirako muntu yenna,+ era n’abagamba bawe omuwala eky’okulya.