2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri
17 Yekosafaati mutabani we+ n’amusikira ku bwakabaka, era n’anyweza ekifo kye nga kabaka mu Isirayiri. 2 N’ateeka amagye mu bibuga bya Yuda byonna ebyaliko bbugwe era n’ateeka n’enkambi z’abasirikale mu nsi ya Yuda ne mu bibuga bya Efulayimu Asa kitaawe bye yawamba.+ 3 Yakuwa n’abeera wamu ne Yekosafaati kubanga yatambulira mu makubo Dawudi jjajjaawe ge yatambulirangamu,+ era teyanoonya Babbaali. 4 Yanoonya Katonda wa kitaawe,+ n’atambulira mu mateeka ge, n’atakola nga Isirayiri bwe yakolanga.+ 5 Yakuwa n’anyweza obwakabaka mu mukono gwe;+ Yuda yonna n’ewanga Yekosafaati ebirabo, n’aba n’obugagga bungi era n’ekitiibwa kingi nnyo.+ 6 N’aba muvumu mu kutambulira mu makubo ga Yakuwa, era n’aggya mu Yuda ebifo ebigulumivu+ n’ebikondo ebisinzibwa.*+
7 Mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwe yatumya abaami be bano: Beni-kayiri ne Obadiya ne Zekkaliya ne Nesaneeri ne Mikaaya, bayigirize mu bibuga bya Yuda. 8 Baali wamu n’Abaleevi bano: Semaaya ne Nesaniya ne Zebadiya ne Asakeri ne Semiramosi ne Yekonasaani ne Adoniya ne Tobiya ne Tobadoniya, era ne bakabona bano:+ Erisaama ne Yekolaamu. 9 Ne batandika okuyigiriza mu Yuda nga balina ekitabo ky’Amateeka ga Yakuwa;+ ne batalaaga ebibuga byonna ebya Yuda nga bayigiriza abantu.
10 Entiisa ya Yakuwa n’eba ku bwakabaka bwonna obw’ensi ezaali zeetoolodde Yuda, ne batalwanyisa Yekosafaati. 11 Abafirisuuti ne baleeteranga Yekosafaati ebirabo ne ssente ez’omusolo. Abawalabu nabo ne bamuleetera endiga ennume 7,700 n’embuzi ennume 7,700 okuva mu bisibo byabwe.
12 Yekosafaati ne yeeyongera okuba ow’amaanyi ennyo,+ n’azimba mu Yuda ebigo+ n’ebibuga ebyalimu amaterekero.+ 13 Yakola ebintu bingi mu bibuga bya Yuda; era yalina mu Yerusaalemi abasirikale, abalwanyi ab’amaanyi. 14 Baagabanyizibwamu ng’ennyumba za bakitaabwe bwe zaali. Okuva mu Yuda, abaali bakulira enkumi baali: omwami Aduna, eyalina abalwanyi ab’amaanyi 300,000.+ 15 Ye yali akulira omwami Yekokanani eyalina abasajja 280,000. 16 Era ye yali akulira Amasiya mutabani wa Zikuli eyeewaayo ku bubwe okuweereza Yakuwa, era yalina abalwanyi ab’amaanyi 200,000. 17 Ate okuva mu Benyamini,+ waaliwo Eriyada omulwanyi ow’amaanyi, era yalina abasajja 200,000 abaalina emitego gy’obusaale n’engabo.+ 18 Ye yali akulira Yekozabadi eyalina abasajja 180,000 abaali bategekeddwa okuweereza mu magye. 19 Abo be baaweerezanga kabaka nga tobaliddeeko abo be yateeka mu bibuga ebyaliko bbugwe mu Yuda yonna.+