Engero
22 Okulondawo erinnya eddungi kisinga okulondawo eby’obugagga ebingi;+
Okussibwamu ekitiibwa* kisinga ffeeza ne zzaabu.
2 Abagagga n’abaavu kino kye bafaananya:*
Bonna Yakuwa ye yabatonda.+
3 Omuntu ow’amagezi alaba akabi ne yeekweka,
Naye atalina bumanyirivu agenda bugenzi mu maaso n’agwa mu mitawaana.
4 Obwetoowaze n’okutya Yakuwa
Bivaamu obugagga n’ekitiibwa n’obulamu.+
5 Amaggwa n’emitego biri mu kkubo ly’abatali bagolokofu,
Naye oyo ayagala obulamu bwe abyewala.+
12 Amaaso ga Yakuwa gakuuma okumanya,
Naye asaanyaawo ebigambo by’ab’enkwe.+
13 Omugayaavu agamba nti: “Ebweru eriyo empologoma!
Ejja kunzitira mu luguudo!”+
14 Akamwa k’omukazi omwenzi kinnya kiwanvu.+
Oyo Yakuwa gw’asalidde omusango alikigwamu.
19 Nkunnyonnyodde ebintu leero
Osobole okussa obwesige mu Yakuwa.
20 Nkuwandiikidde
Okukubuulirira n’okubaako bye nkuyigiriza,
21 Okukuyigiriza ebigambo ebituufu era ebyesigika,
Osobole okuddayo n’obubaka obutuufu eri oyo eyakutuma.
23 Kubanga Yakuwa ajja kukakasa nti balamulwa mu bwenkanya,+
Era ajja kuzikiriza abo ababanyaga.
24 Tokolagananga na muntu wa busungu,
Oba oyo ow’ekiruyi,
25 Sikulwa ng’oyiga emize gye
N’ogwa mu kyambika.+
26 Tobanga mu abo abakwatagana mu ngalo okukakasa endagaano,
Abeeyimirira abo ababa beewoze amabanja.+
27 Bw’oliremwa okusasula,
Balitwala ekitanda kyo kw’osula!
28 Tojjululanga kabonero ak’edda akalamba olusalosalo
Bajjajjaabo ke bassaawo.+
29 Olabye omusajja eyakuguka mu mulimu gwe?
Ajja kuyimirira mu maaso ga bakabaka;+
Tajja kuyimirira mu maaso g’abantu aba bulijjo.