Isaaya
57 Omutuukirivu azikiridde,
Naye tewali afuddeyo.
Abantu abeesigwa baggibwawo,*+
Ne wataba muntu yenna akitegeera nti omutuukirivu aggiddwawo
Aleme kutuukibwako kabi.
2 Ayingira mu mirembe.
Abo bonna abatambulira mu bugolokofu bagalamira mu ntaana zaabwe.*
3 “Naye mmwe musembere,
Mmwe abaana b’omukazi omulogo,
Mmwe abaana b’omwenzi era malaaya:
4 Ani gwe musekerera?
Ani gwe mwasamiza akamwa era ne mumusowolera olulimi?
Temuli baana ba kwonoona,
Abaana b’obulimba,+
5 Abo abeemalidde ku kuweereza bakatonda ab’obulimba mu miti eminene,+
Wansi wa buli muti ogulina ebikoola ebingi,+
Abattira abaana mu biwonvu,+
Mu mpompogoma z’enjazi?
6 Olonzeewo amayinja amaweweevu ag’omu kiwonvu.+
Ago gwe mugabo gwo.
Ogafukira ebiweebwayo eby’eby’okunywa era owaayo ebirabo gye gali.+
Ebyo biyinza okunsanyusa?
8 Oteeka ekijjukizo kyo emabega w’oluggi n’omwango.
Wandeka ne weeyambula;
Wayambuka n’ogaziya ekitanda kyo.
Wakola nabo endagaano.
9 Wagenda eri Mereki* ng’olina amafuta
Era ng’olina eby’akaloosa bingi.
Watuma ababaka bo ewala,
Bw’otyo n’okka emagombe.*
10 Wategana nnyo ng’otambulira mu makubo go amangi,
Naye tewagamba nti, ‘Tekigasa!’
Waddamu okufuna amaanyi.
Ye nsonga lwaki tolekera awo.*
11 Ani gwe watya era n’otekemuka
Olyoke otandike okulimba?+
Tewanzijukira.+
Tewafaayo.+
Saasirika era ne sibaako kye njogera?+
Kyewava olaga nti tontya.
13 Bw’onoosaba obuyambi,
Ebifaananyi byo bye wakuŋŋaanya tebijja kukuyamba.+
Byonna empewo ejja kubitwala,
Omukka obukka ogussibwa gujja kubifuumuula,
Naye oyo addukira gye ndi ajja kusikira ensi
Era ajja kubeera ku lusozi lwange olutukuvu.+
14 Kijja kugambibwa nti, ‘Mukole oluguudo, Mukole oluguudo! Muteeketeeke ekkubo!+
Muggye emisanvu mu kkubo ly’abantu bange.’”
15 Kubanga bw’ati Oyo Ali Waggulu era Agulumidde bw’agamba,
Oyo abeerawo emirembe n’emirembe+ era alina erinnya ettukuvu:+
“Mbeera mu kifo ekya waggulu era ekitukuvu,+
Kyokka era mbeera n’abo abanyigirizibwa* era abeetoowaze,
Okuzza obuggya omwoyo gw’abanaku,
16 Kubanga siribalwanyisa mirembe gyonna
Era sirisigala nga ndi musunguwavu ekiseera kyonna;+
Kubanga omwoyo gw’omuntu guyinza okunafuwa olw’okubeera nze,+
Era n’ebitonde ebissa omukka bye nnakola.
17 Nnamusunguwalira olw’okuba yeenoonyeza ebintu mu makubo amakyamu,+
Kyennava mmukuba, ne mmwekweka, era ne nsunguwala.
Naye yeeyongera kweyisa nga kyewaggula,+ ng’atambulira mu kkubo ly’omutima gwe.
19 “Ntonda ekibala ky’emimwa.
Emirembe egitaggwaawo gijja kuweebwa oyo ali ewala n’oyo ali okumpi,”+ Yakuwa bw’agamba,
“Era nja kumuwonya.”
20 “Kyokka ababi balinga ennyanja esiikuuse etasobola kuteeka,
Amazzi gaayo gafuukuula omuddo gw’omu nnyanja n’ebitosi.