1 Abakkolinso
3 N’olwekyo ab’oluganda, saasobola kwogera nammwe ng’abantu ab’eby’omwoyo,+ naye nnayogera nammwe ng’abantu ab’omubiri, ng’abaana abato+ mu Kristo. 2 Nnabawa mata, so si mmere nkalubo, kubanga mwali temunnatuuka kulya. Mu butuufu, era ne kaakati temunnatuuka kulya,+ 3 kubanga mukyali ba mubiri.+ Kubanga bwe wabaawo obuggya n’okuyomba mu mmwe, temuba ba mubiri+, era muba temutambula ng’abantu abalala? 4 Kubanga omu bw’agamba nti: “Nze ndi wa Pawulo,” ate omulala nti: “Nze ndi wa Apolo,”+ muba temuli ng’abantu abalala?
5 Kati olwo Apolo y’ani? Ate Pawulo y’ani? Baweereza+ be mwayitiramu okufuuka abakkiriza, nga Mukama waffe bwe yawa buli omu. 6 Nze nnasiga,+ Apolo n’afukirira,+ naye Katonda ye yakuza. 7 N’olwekyo, atenderezebwa si y’oyo asiga oba afukirira, wabula Katonda akuza.+ 8 Oyo asiga n’oyo afukirira bonna bali omuntu omu,* naye buli muntu ajja kufuna empeera ye okusinziira ku mulimu gwe.+ 9 Tukolera wamu ne Katonda. Mmwe muli nnimiro ya Katonda erimwamu, ennyumba Katonda gy’azimba.+
10 Okusinziira ku kisa kya Katonda eky’ensusso ekyandagibwa, nnateekawo omusingi+ ng’omuzimbi omukugu,* naye omulala y’aguzimbako. Kyokka buli muntu yeegendereze engeri gy’aguzimbako. 11 Tewali muntu ayinza kuteekawo musingi mulala okuggyako ogwo ogwateekebwawo, nga guno ye Yesu Kristo.+ 12 Singa omuntu yenna azimba ku musingi ogwo zzaabu, ffeeza, amayinja ag’omuwendo, emiti, essubi, oba ebisusunku, 13 omulimu gwa buli muntu gujja kweyoleka; olunaku lujja kugwolesa, kubanga omuliro gujja kwoleka buli kimu+ era gujja kwoleka omulimu gwa buli muntu bwe gufaanana. 14 Singa omulimu omuntu yenna gw’azimbye ku musingi ogwo gusigalawo, ajja kuweebwa empeera; 15 omulimu gw’omuntu yenna bwe gwokebwa, ajja kufiirwa, naye ye ajja kulokolebwa, kyokka ajja kulokolebwa ng’alinga ayise mu muliro.
16 Temumanyi nti muli yeekaalu ya Katonda,+ era nti omwoyo gwa Katonda gubeera mu mmwe?+ 17 Singa omuntu azikiriza yeekaalu ya Katonda, Katonda ajja kumuzikiriza; kubanga yeekaalu ya Katonda ntukuvu, era yeekaalu eyo ye mmwe.+
18 Waleme kubaawo eyeerimbalimba: Omuntu yenna mu mmwe bw’alowooza nti mugezi mu nsi eno,* afuuke musiru asobole okubeera omugezi. 19 Kubanga amagezi g’ensi eno bwe busirusiru eri Katonda; kubanga kyawandiikibwa nti: “Akwasa abagezi mu bukujjukujju bwabwe.”+ 20 Era nti: “Yakuwa* akimanyi nti abantu abagezi bye balowooza tebiriimu nsa.”+ 21 N’olwekyo, waleme kubaawo yeenyumiririza mu bantu; kubanga ebintu byonna byammwe, 22 k’abe Pawulo, oba Apolo, oba Keefa,*+ oba ensi, oba obulamu, oba okufa, oba ebintu ebiriwo, oba ebyo ebigenda okujja, ebintu byonna byammwe; 23 mmwe muli ba Kristo,+ ate Kristo wa Katonda.