Ekyamateeka
17 “Towangayo eri Yakuwa Katonda wo ssaddaaka ey’ente oba ey’endiga eriko obulemu oba ekikyamu kyonna, kubanga ekyo kya muzizo eri Yakuwa Katonda wo.+
2 “Bwe wanaalabikanga mu ggwe mu kimu ku bibuga Yakuwa Katonda wo by’akuwa, omusajja oba omukazi akola ekintu ekibi mu maaso ga Yakuwa Katonda wo n’amenya endagaano ye,+ 3 n’awaba n’atandika okusinza bakatonda abalala n’okubavunnamira, oba n’avunnamira enjuba oba omwezi oba eggye lyonna ery’oku ggulu,+ ekintu kye saalagira;+ 4 bwe bakikubuuliranga oba bw’okiwuliranga, okinoonyerezangako n’obwegendereza. Bwe kikakasibwanga nti ddala kituufu+ ekintu ekyo eky’omuzizo kikoleddwa mu Isirayiri, 5 omusajja oba omukazi anaabanga akoze ekintu ekyo ekibi omutwalanga wabweru w’enzigi z’ekibuga kyo n’akubibwa amayinja n’afa.+ 6 Oyo anaabanga ow’okuttibwa, attibwenga nga waliwo obujulizi bwa* bantu babiri oba basatu.+ Tattibwenga nga waliwo obujulizi bwa muntu omu.+ 7 Abajulizi be banaasookanga okumukuba amayinja okumutta, n’abantu abalala bonna ne balyoka bamukuba. Oggyangawo ekibi mu mmwe.+
8 “Bwe wanaabangawo ensonga enzibu ennyo mu kimu ku bibuga byo n’ekulema okulamula, ensonga ezingiramu okuyiwa omusaayi,+ oba enkaayana, oba okukola ekikolwa eky’obukambwe, oba ensonga endala yonna, ositukanga n’ogenda mu kifo Yakuwa Katonda wo ky’anaalonda.+ 9 Ogendanga eri bakabona Abaleevi n’eri omulamuzi+ aliba alamula mu kiseera ekyo, n’obeebuuzaako, ne bakuwa ensala y’omusango.+ 10 Okolanga nga bwe banaabanga basazeewo nga bali mu kifo Yakuwa ky’anaalonda. Ofubanga okukola byonna bye banaabanga bakulagidde. 11 Okolanga ng’amateeka ge banaakulaganga bwe gali, era nga bwe banaabanga basazeewo.+ Tovanga ku ekyo kye banaabanga basazeewo n’okyukira ku ddyo oba ku kkono.+ 12 Omuntu anaawaganyalanga n’agaana okuwuliriza kabona aweereza mu maaso ga Yakuwa Katonda wo oba okuwuliriza omulamuzi, anattibwanga.+ Oggyangawo ekibi mu Isirayiri.+ 13 Abantu bonna banaakiwuliranga ne batya, era tebaddengamu kuwaganyala.+
14 “Bw’onootuuka mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa, n’ogitwala era n’ogibeeramu, n’ogamba nti, ‘Ka nneeteerewo kabaka ng’amawanga gonna aganneetoolodde bwe gakola,’+ 15 weeteerangawo kabaka Yakuwa Katonda wo gw’alironda.+ Kabaka gw’olyeteerawo alina kuba omu ku baganda bo. Tolikkirizibwa kweteerawo mugwira atali muganda wo. 16 Naye kabaka teyeefuniranga mbalaasi nnyingi,+ oba okuzzaayo abantu e Misiri okwongera okufuna embalaasi,+ kubanga Yakuwa yabagamba nti, ‘Temuddangayo e Misiri.’ 17 Era tawasanga bakazi bangi, omutima gwe guleme okukyuka;+ era teyeefuniranga ffeeza na zzaabu mungi.+ 18 Bw’anaatuulanga ku ntebe y’obwakabaka bwe, aneewandiikiranga mu kitabo* Amateeka gano ng’agakoppolola mu ekyo bakabona Abaleevi kye batereka.+
19 “Era anaabeeranga nakyo, era anaakisomanga ennaku zonna ez’obulamu bwe,+ ayige okutya Yakuwa Katonda we n’okukwata ebigambo byonna eby’Amateeka gano n’ebiragiro bino ng’abikolerako.+ 20 Olwo omutima gwe tegujja kwekulumbaliza ku baganda be era tajja kukyuka kuva ku biragiro kudda ku ddyo oba ku kkono, asobole okufuga ekiseera ekiwanvu mu bwakabaka bwe, ye ne batabani be, mu Isirayiri.