ESSUULA 8
Abalala Batusinga
NKAKASA nti okimanyi nti abalala batusinga amaanyi, obuyinza oba ekitiibwa. Olowooza ani atusinga mu byonna?— Yakuwa Katonda. Ate Omwana we, Omuyigiriza Omukulu? Naye wa waggulu okutusinga?— Kya lwatu, atusinga.
Yesu yali abeera ne Katonda mu ggulu. Yali Mwana we ow’omwoyo, oba malayika. Waliwo bamalayika abalala oba abaana ab’omwoyo Katonda be yatonda?— Yee, yatonda obukadde n’obukadde bwa bamalayika. Ne bamalayika abo ba waggulu okutusinga era batusinga amaanyi.—Zabbuli 104:4; Danyeri 7:10.
Omanyi erinnya lya malayika eyayogera ne Maliyamu?— Ye Gabulyeri. Yagamba Maliyamu nti omwana gwe yandizadde yandibadde Mwana wa Katonda. Katonda yaddira obulamu bw’Omwana we ow’omwoyo n’abuteeka mu lubuto lwa Maliyamu, Yesu n’azaalibwa ku nsi ng’omwana.—Lukka 1:26, 27.
Okkiriza nti ekyamagero ekyo kyaliwo? Okikkiriza nti Yesu yali abeera ne Katonda mu ggulu?— Yesu yagamba nti yali abeera naye. Ekyo Yesu yakimanya atya? Kiyinzika okuba nga bwe yali akyali muto, Maliyamu yamubuulira ebyo Gabulyeri bye yamugamba. Era kirabika Yusufu yagamba Yesu nti Katonda ye yali Kitaawe yennyini.
Yesu bwe yabatizibwa, Katonda yayogera ng’asinziira mu ggulu n’agamba nti: “Ono ye Mwana wange.” (Matayo 3:17) Era mu kiro ekyasembayo nga tannattibwa, Yesu yasaba nti: “Kitange, ngulumiza mbeere ku lusegere lwo, mu kitiibwa kye nnalina nga ndi ku lusegere lwo ng’ensi tennabaawo.” (Yokaana 17:5) Yee, Yesu yasaba azzibweyo mu ggulu addemu okubeera ne Katonda. Yandisobodde atya okubeera mu ggulu?— Nga Yakuwa Katonda azzeemu nate okumufuula omuntu ow’omwoyo, oba malayika.
Ka nkubuuze ekibuuzo kino ekikulu. Bamalayika bonna balungi? Olowooza otya?— Mu kusooka, bonna baali balungi. Kiri kityo kubanga Yakuwa ye yabatonda, era nga buli kimu ky’akola kiba kirungi. Naye oluvannyuma omu ku bamalayika yafuuka mubi. Ekyo kyabaawo kitya?
Okusobola okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo, tulina okwekenneenya ebyo ebyaliwo nga Katonda amaze okutonda Adamu ne Kaawa, omusajja n’omukazi abaasooka. Abantu abamu bagamba nti ebyo ebyogerwa ku Adamu ne Kaawa tebyaliyo ddala. Naye Omuyigiriza Omukulu yali akimanyi nti bituufu.
Katonda bwe yatonda Adamu ne Kaawa, yabateeka mu lusuku olulungi olwali mu kifo ekiyitibwa Adeni. Lwali lulabika bulungi nnyo. Bandizadde abaana bangi, ne babeera n’amaka amanene, era bandibadde mu Lusuku olwo emirembe gyonna. Naye waliwo ekintu ekikulu kye baali balina okuyiga. Ekintu ekyo twakyogeddeko dda. Naye ka tulabe obanga tukyakijjukira.
Yakuwa yagamba Adamu ne Kaawa nti baali basobola okulya ku bibala byonna ebyali ku miti egy’omu lusuku. Naye waliwo omuti gumu gwe baali batalina kulyako. Katonda yabagamba ekyandibatuuseeko nga baguliddeko. Yabagamba nti: ‘Mujja kufa.’ (Olubereberye 2:17) Kati olwo, kiki Adamu ne Kaawa kye baali balina okuyiga?—
Baali balina okuyiga obuwulize. Yee, okusobola okuba abalamu tulina okugondera Yakuwa Katonda! Kyali tekimala Adamu ne Kaawa okugamba obugambi nti baagala okugondera Yakuwa. Baali balina okukiraga mu bikolwa byabwe. Singa baagondera Katonda, kyandiraze nti bamwagala era nti baagala abeere Mufuzi waabwe. Era bandibadde mu Lusuku lwa Katonda emirembe gyonna. Naye bwe bandiridde ku muti ogwo, kyandiraze ki?—
Kyandiraze nti baali tebasiima ebyo Katonda bye yali abawadde. Ggwe wandigondedde Yakuwa singa waliyo?— Mu kusooka, Adamu ne Kaawa baamugondera. Naye oluvannyuma, omuntu owa waggulu okubasinga yalimbalimba Kaawa. Yamuleetera okujeemera Yakuwa. Omuntu oyo yali ani?—
Bayibuli egamba nti omusota gwayogera ne Kaawa. Kyokka okimanyi nti omusota tegusobola kwogera. Kati olwo gwasobola gutya okwogera?— Waliwo malayika eyakirabisa nti omusota gwe gwali gwogera. Naye malayika oyo yennyini ye yali ayogera. Malayika oyo yali atandise okufuna ebirowoozo ebibi. Yali ayagala Adamu ne Kaawa bamusinze. Yali ayagala bamugondere. Yali ayagala okutwala ekifo kya Katonda.
N’olwekyo, malayika oyo omubi yateeka ebirowoozo ebibi mu Kaawa. Ng’ayitira mu musota yamugamba nti: ‘Katonda yakulimba. Tojja kufa ng’olidde ku muti ogwo. Ojja kubeera mugezi nga Katonda.’ Wandikkirizza ebigambo ebyo?—
Kaawa yatandika okwegomba ekyo Katonda kye yali tamuwadde. Yalya ku kibala ky’omuti gwe baali babagaanye okulyako. Era oluvannyuma n’awaako ne Adamu. Adamu teyakkiriza ebyo omusota bye gwayogera. Naye olw’okuba yali ayagala nnyo Kaawa okusinga Katonda, naye yalya ku muti ogwo.—Olubereberye 3:1-6; 1 Timoseewo 2:14.
Kiki ekyavaamu?— Adamu ne Kaawa baafuuka abantu abatatuukiridde, era oluvannyuma baakaddiwa, ne bafa. Era olw’okuba baali tebatuukiridde, n’abaana be baazaala bonna baali tebatuukiridde era oluvannyuma baakaddiwa ne bafa. Katonda yali tabalimbye! Mazima ddala omuntu alina okugondera Katonda okusobola okuba omulamu. (Abaruumi 5:12) Bayibuli etugamba nti malayika eyalimba Kaawa ayitibwa Sitaani Omulyolyomi, era nti bamalayika abalala abaafuuka ababi bayitibwa badayimooni.—Yakobo 2:19; Okubikkulirwa 12:9.
Kati otegeera ensonga lwaki malayika Katonda gwe yatonda nga mulungi oluvannyuma yafuuka mubi?— Malayika oyo yafuuka mubi kubanga yatandika okulowooza ebintu ebibi. Yali ayagala abe nga y’asinga okuba owa waggulu. Yali akimanyi nti Katonda yagamba Adamu ne Kaawa okuzaala abaana, era yali ayagala bonna bamusinze. Omulyolyomi ayagala okuleetera buli omu okujeemera Yakuwa. N’olwekyo, agezaako okututeekamu endowooza enkyamu.—Yakobo 1:13-15.
Omulyolyomi agamba nti tewali n’omu ayagala Yakuwa n’omutima gwe gwonna. Agamba nti nze naawe tetwagala Katonda era nti tetwagala kukola ebyo Katonda by’atugamba. Omulyolyomi era agamba nti tugondera Yakuwa ng’ebintu bitugendera bulungi. Omulyolyomi mutuufu? Tuli bwe tutyo?
Omuyigiriza Omukulu yagamba nti Omulyolyomi mulimba! Yesu yalaga nti ayagala nnyo Yakuwa ng’amugondera. Yesu yagonderanga Katonda ne bwe kyabanga kizibu okukikola. Yamugonderanga mu mbeera zonna, wadde ng’abantu abalala baagezangako okumulemesa okukikola. Yali mwesigwa eri Yakuwa okutuukira ddala ku kufa. Eyo ye nsonga lwaki Katonda yamuzuukiza asobole okuba omulamu emirembe gyonna.
Kati olwo, olowooza ani mulabe waffe asinga obukulu?— Sitaani Omulyolyomi. Osobola okumulaba?— Kya lwatu nedda! Naye tukimanyi nti waali. Wa waggulu okutusinga, era wa maanyi. Naye, ani owa waggulu okusinga Omulyolyomi?— Yakuwa Katonda. N’olwekyo tumanyi nti Katonda asobola okutukuuma.
Soma ebikwata ku Oyo gwe tusaanidde okusinza: Ekyamateeka 30:19, 20; Yoswa 24:14, 15; Engero 27:11; ne Matayo 4:10.