ESSUULA 26
Lwaki Kizibu Nnyo Okukola Ekirungi?
SAWULO bwe yakolanga ebintu ebibi, ani yasanyukanga?— Sitaani Omulyolyomi. Era kyasanyusanga n’abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya. Kyokka Sawulo bwe yafuuka omugoberezi w’Omuyigiriza Omukulu era n’atuumibwa Pawulo, abakulembeze b’eddiini abo baamukyawa. Kati osobola okutegeera ensonga lwaki kizibu nnyo omuyigirizwa wa Yesu okukola ekirungi?—
Lumu, kabona omukulu ayitibwa Ananiya alina abasajja be yalagira bakube Pawulo mu maaso. Ananiya yagezaako n’okusibisa Pawulo mu kkomera. Pawulo yabonaabona nnyo bwe yafuuka omuyigirizwa wa Yesu. Ng’ekyokulabirako, abantu ababi baakuba Pawulo amayinja amanene nga baagala okumutta.—Ebikolwa 23:1, 2; 2 Abakkolinso 11:24, 25.
Bangi bajja kugezaako okutuleetera okukola ebintu ebitasanyusa Katonda. N’olwekyo lowooza ku bibuuzo bino: Oyagala nnyo okukola ekirungi? Oyagala nnyo okweyongera okukola ekirungi wadde ng’abalala bakukyawa? Ekyo kyetaagisa obuvumu, si bwe kiri?—
Oyinza okwebuuza, ‘Lwaki abantu banditukyaye olw’okukola ekirungi? Tebandisanyuse busanyusi?’ Bwe twandisuubidde. Abantu baayagala Yesu olw’ebintu ebirungi bye yakolanga. Lumu, abantu bonna ab’omu kibuga baakuŋŋaanira ku mulyango ogwali guyingira mu nnyumba Yesu mwe yabeeranga. Bajja kubanga Yesu yali awonya abantu abalwadde.—Makko 1:33.
Naye oluusi abantu tebaasanyukiranga ebyo Yesu bye yayigirizanga. Wadde nga bye yabayigirizanga byali bituufu, abamu baamukyawa nnyo olw’okwogera amazima. Lumu, kino kyaliwo mu Nazaaleesi, ekibuga Yesu gye yakulira. Yagenda mu kkuŋŋaaniro, Abayudaaya gye baakuŋŋaaniranga okusinza Katonda.
Ng’ali eyo, Yesu yayogera eri abantu ebigambo okuva mu Byawandiikibwa. Mu kusooka abantu baabyagala. Beewuunya ebigambo ebirungi bye yayogera. Baali tebayinza kukikkiriza nti ye yali omuvubuka eyakulira mu kibuga kyabwe.
Naye waliwo ekintu ekirala Yesu kye yayogera. Yayogera ku ngeri Katonda gye yafaayo ku bantu abataali Bayudaaya. Yesu bwe yayogera ekyo, abo abaali mu kkuŋŋaaniro banyiiga. Omanyi lwaki?— Baali balowooza nti be bokka Katonda be yali afaako mu ngeri ey’enjawulo. Baali balowooza nti ba waggulu okusinga abantu abalala. N’olwekyo baakyawa Yesu olw’ebyo bye yayogera. Omanyi kye baagezaako okumukola?—
Bayibuli egamba nti: ‘Baakwata Yesu ne bamufulumya ebweru w’ekibuga. Baamutwala waggulu ku lusozi era baali bagenda okumusuula wansi bamutte! Naye Yesu yabaddukako.’—Lukka 4:16-30.
Singa ekyo kyali kikutuuseeko, wandizeeyo okwogera n’abantu abo ebikwata ku Katonda?— Ekyo kyandikwetaagisiza okuba omuvumu, si bwe kiri?— Kyokka oluvannyuma lw’omwaka gumu, Yesu yaddayo e Nazaaleesi. Bayibuli egamba nti: ‘Yatandika okubayigiriza mu kkuŋŋaaniro lyabwe.’ Yesu teyalekera awo kwogera mazima olw’okutya abantu abaali batayagala Katonda.—Matayo 13:54.
Ku lunaku olulala olwa ssabbiiti, Yesu yali mu kkuŋŋaaniro awaali omusajja eyalina omukono ogukoozimbye. Yesu yali asobola okuwonya omusajja oyo olw’amaanyi Katonda ge yali amuwadde. Naye abamu ku basajja abaali mu kifo ekyo, baayagala okulemesa Yesu. Kiki Omuyigiriza Omukulu kye yandikoze?— Okusooka yabuuza nti: ‘Ani ku mmwe bw’aba n’endiga emu n’egwa mu kinnya ku Ssabbiiti, atagiggyamu?’
Yee, ne ku Ssabbiiti olunaku lwe baalina okuwummulirako, bandiggye endiga yaabwe mu kinnya. N’olwekyo Yesu yabagamba nti: ‘Kikulu nnyo n’okusingawo okuyamba omuntu ku Ssabbiiti, okuva bwe kiri nti omuntu wa muwendo nnyo okusinga endiga!’ Nga kyali kituukirawo Yesu okuyamba omusajja oyo ng’amuwonya!
Yesu yagamba omusajja oyo agolole omukono gwe. Amangu ago omukono gwe ne guwona. Ng’omusajja oyo yasanyuka nnyo! Naye ate kyali kitya eri abasajja abo abaali baagala okulemesa Yesu? Baasanyuka?— Nedda. Beeyongera okukyawa Yesu. Baafuluma ne bateesa engeri gye banaamuttamu!—Matayo 12:9-14.
Bwe kityo bwe kiri ne leero. Ne bwe tukola ki, tetusobola kusanyusa buli omu. N’olwekyo tusaanidde okusalawo ani gwe tusaanidde okusanyusa. Bwe kiba nti twagala kusanyusa Yakuwa Katonda n’Omwana we Yesu Kristo, tusaanidde okukolanga ebyo bye batuyigiriza. Naye bwe tubikola, ani ajja okutukyawa? Ani anaagezaako okutulemesa okukola ebintu ebirungi?—
Sitaani Omulyolyomi. Ate baani abalala abaanatulemesa?— Abo Omulyolyomi b’alimbye ne bakkiriza ebintu ebikyamu. Yesu yagamba abakulembeze b’eddiini ab’omu kiseera kye nti: “Muva eri kitammwe Omulyolyomi, era mwagala okukola ebyo by’ayagala.”—Yokaana 8:44.
Waliwo abantu bangi Omulyolyomi baayagala. Yesu abayita “ensi.” Olowooza ‘nsi’ ki Yesu gye yayogerako?— Ka tusome Yokaana essuula 15 olunyiriri 19 tulabe. Mu lunyiriri olwo, tusoma ebigambo bya Yesu bino: “Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo. Naye olw’okuba nnabalonda okuva mu nsi, temuli ba nsi, era olw’ensonga eyo ensi ky’eva ebakyawa.”
N’olwekyo ensi ekyawa abayigirizwa ba Yesu be bantu bonna abatali bagoberezi be. Lwaki ensi ekyawa abayigirizwa ba Yesu?— Kirowoozeeko. Ani afuga ensi?— Bayibuli egamba nti: “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” Omubi oyo ye Sitaani Omulyolyomi.—1 Yokaana 5:19.
Kati otegedde lwaki kizibu nnyo okukola ekirungi?— Sitaani n’ensi ye bakifuula kizibu nnyo gye tuli okukola ekirungi. Naye waliwo ensonga endala. Okyagijjukira?— Mu Ssuula eya 23 ey’ekitabo kino, twayiga nti ffenna twazaalibwa n’ekibi. Tekiriba kirungi nnyo ng’ekibi, awamu n’Omulyolyomi n’ensi ye nga tebikyaliwo?—
Bayibuli esuubiza nti: “Ensi eggwaawo.” Ekyo kitegeeza nti abo bonna abatali bagoberezi ba Yesu Omuyigiriza Omukulu bagenda kuzikirizibwa. Tebajja kukkirizibwa kubeerawo mirembe gyonna. Omanyi abanaabeerawo emirembe gyonna?— Bayibuli era egamba nti: “Oyo akola Katonda by’ayagala abeerawo emirembe gyonna.” (1 Yokaana 2:17) Yee, abo bokka abakola ebirungi, abakola ‘Katonda by’ayagala,’ be bajja okubeerawo emirembe gyonna mu nsi empya. N’olwekyo, ne bwe kiba nga kizibu okukola ekirungi, tusaanidde okukikola, si bwe kiri?—
Ka tusomere wamu ebyawandiikibwa bino ebiraga nti si kyangu okukola ebirungi: Matayo 7:13, 14; Lukka 13:23, 24; ne Ebikolwa 14:21, 22.