ESSUULA 33
Yesu Asobola Okutukuuma
YESU bwe yakula n’ategeera engeri gye yakuumibwamu ng’akyali muto, olowooza yasaba Yakuwa era n’amwebaza?— Olowooza kiki Yesu ky’ayinza okuba nga yagamba Maliyamu ne Yusufu bwe yakitegeera nti baawonyaawo obulamu bwe nga baamutwala e Misiri?—
Kya lwatu Yesu takyali mwana muto. Era takyali ku nsi. Naye okyetegerezza nti abantu abamu leero Yesu bamutwala ng’omwana omuwere ali mu lutiba ensolo mwe ziriira?— Kino kyeyoleka nnyo mu biseera bya Ssekukkulu era mu bitundu bingi wabaayo ebifaananyi ebiraga Yesu nga muwere.
Wadde nga Yesu takyali ku nsi, olowooza mulamu?— Yee, yazuukizibwa okuva mu bafu era kati Kabaka ow’amaanyi mu ggulu. Olowooza kiki ky’ayinza okukola okukuuma abo abamuweereza?— Yesu bwe yali ku nsi, yalaga engeri gy’ayinza okukuumamu abo abaali bamwagala. Ka tulabe engeri gye yakolamu kino bwe yali n’abayigiriza be mu lyato.
Obudde bwali bwa lwaggulo. Yesu yali amaze olunaku lwonna ng’ayigiriza okumpi n’Ennyanja y’e Ggaliraaya, eweza mayiro nga 13 obugazi ate ng’obuwanvu eweza mayiro 7 1/2. Yagamba abayigirizwa be nti: “Tusomoke tugende emitala w’ennyanja.” N’olwekyo baalinnya eryato ne basaabala okugenda ku ludda olulala olw’ennyanja. Yesu yali akooye nnyo, n’agenda emabega mu lyato n’agalamira nga yeezizise omutto. Era otulo twamutwala.
Abayigirizwa baasigala batunula okusobola okuvuga eryato. Mu kusooka buli kimu kyali kigenda bulungi, naye mu kaseera katono omuyaga ogw’amaanyi gwatandika okukunta. Omuyaga n’amayengo byeyongera okuba eby’amaanyi. Amazzi gaatandika okuyiika mu lyato era eryato ne litandika okujjula amazzi.
Abayigirizwa baatya nnyo era baali balowooza nti bagenda kubbira. Naye Yesu teyatya. Yali akyebase emabega mu lyato. Oluvannyuma, abayigirizwa baamuzuukusa nga bagamba nti: ‘Omuyigiriza, Omuyigiriza, tuwonye; tunaatera okufiira mu muyaga guno.’ Yesu yazuukuka n’agamba omuyaga n’amayengo nti: “Sirika! Teeka!”
Amangu ago, omuyaga gwalekera awo okukunta era n’ennyanja n’eteeka. Abayigirizwa beewuunya nnyo. Baali tebalabanga ku kintu bwe kityo. Baatandika okwebuuza nti: “Ono ddala y’ani, alagira omuyaga n’ennyanja era ne bimuwulira?”—Lukka 8:22-25; Makko 4:35-41.
Yesu omumanyi?— Omanyi gye yaggya amaanyi amangi bwe gatyo?— Abayigirizwa kyali tekibeetaagisa kutya nga bali ne Yesu, kubanga teyali muntu wa bulijjo. Yali asobola okukola ebintu ebyewuunyisa omuntu omulala yenna bye yali tayinza kukola. Ka nkubuulireyo ekirala kye yakola ku nnyanja eyaliko omuyaga ogw’amaanyi.
Kino kyaliwo ku lunaku lulala. Bwe bwawungeera, Yesu yagamba abayigirizwa be okulinnya eryato bagende ku ludda olulala olw’ennyanja. Oluvannyuma Yesu yagenda yekka ku lusozi. Waali wasirifu ng’asobola okubeera eyo n’asaba Kitaawe, Yakuwa Katonda.
Abayigirizwa be baalinnya eryato ne batandika okusaabala ku nnyanja. Naye mu kaseera katono, omuyaga gwatandika okukunta. Gweyongera okuba ogw’amaanyi, era obudde bwali buzibye. Abasajja abo bassa amatanga g’eryato era ne batandika okukuba enkasi. Naye baali tebayinza kugenda wala kubanga omuyaga gwali gw’amaanyi nnyo. Omuyaga gwasuukunda nnyo eryato era n’amazzi gaali galiyiikamu. Baagezaako nnyo okutuuka ku lubalama, naye ne balemererwa.
Yesu yali akyali yekka ku lusozi era yalwayo. Naye bwe yalaba ng’abayigirizwa be bali mu kabi olw’amayengo ag’amaanyi, yava ku lusozi n’ajja ku lubalama lw’ennyanja. Yesu yali ayagala okuyamba abayigirizwa be, n’olwekyo yatandika okutambulira ku nnyanja eyaliko amayengo ag’amaanyi ng’agenda gye bali!
Kiki ekiyinza okubaawo singa ogezaako okutambulira ku mazzi?— Osobola okubbira. Naye Yesu yali wa njawulo. Yalina amaanyi ag’enjawulo. Yatambula olugendo luwanvu okusobola okutuuka ku lyato. Awo ng’obudde bunaatera okukya abayigirizwa baalaba Yesu ng’ajja gye bali ng’atambulira ku mazzi. Naye baali tebakikkiriza nti ye Yesu. Baatya nnyo, era ne baleekaana olw’okutya. Oluvannyuma Yesu n’abagamba nti: “Mugume, ye nze, temutya.”
Amangu ddala nga Yesu ayingidde mu lyato, omuyaga gwalekera awo okukunta. Era abayigirizwa be beewuunya nnyo. Baavvunamira Yesu ne bamugamba nti: “Mazima ddala oli Mwana wa Katonda.”—Matayo 14:22-33; Yokaana 6:16-21.
Tekyandibadde kirungi nnyo okubeerawo mu kiseera ekyo n’olaba Yesu ng’akola ebintu ng’ebyo?— Omanyi lwaki Yesu yakola ebyamagero ebyo?— Yakola ebyamagero ebyo kubanga yali ayagala abayigirizwa be era ng’ayagala okubayamba. Naye era yabikola okulaga amaanyi amangi ennyo ge yalina era ge yandikozesezza mu biseera eby’omu maaso ng’Omufuzi w’Obwakabaka bwa Katonda.
Ne mu kiseera kino, Yesu akozesa amaanyi ge okukuuma abagoberezi be, Sitaani n’atabalemesa kubuulira balala ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Kyokka Yesu takozesa maanyi ge okuwonya abayigirizwa be abalwadde oba okubakuuma baleme okulwala. N’abatume ba Yesu bonna oluvannyuma baafa. Yakobo muganda wa Yokaana yattibwa, ate ye Yokaana yasibibwa mu kkomera.—Ebikolwa 12:2; Okubikkulirwa 1:9.
Ne leero bwe kityo bwe kiri. Abantu ka babe nga baweereza Yakuwa oba nedda, bonna basobola okulwala era n’okufa. Naye mu kiseera ekitali kya wala, embeera ejja kukyuka Yesu bw’aliba ng’afuga nga Kabaka mu gavumenti ya Katonda. Abantu tebaliddamu kutya, kubanga Yesu alikozesa amaanyi ge okuyamba abo bonna abamugondera.—Isaaya 9:6, 7.
Ebyawandiikibwa ebirala ebiraga amaanyi amangi aga Yesu, oyo Katonda gw’alonze okuba Omufuzi mu Bwakabaka bwa Katonda, bye bino: Danyeri 7:13, 14; Matayo 28:18; ne Abeefeso 1:20-22.