ESSUULA 38
Ensonga Lwaki Tusaanidde Okwagala Yesu
KUBA akafaananyi ng’oli mu lyato eribbira. Wandyagadde omuntu okukuyamba?— Watya singa omuntu awaayo obulamu bwe okukuyamba?— Ekyo Yesu Kristo kye yakola. Nga bwe twayiga mu Ssuula eya 37, yawaayo obulamu bwe ng’ekinunulo tusobole okulokolebwa.
Kya lwatu, Yesu tatununula nga tubbira mu mazzi. Atununula kuva mu ki? Okyajjukira?— Atununula okuva mu kibi n’okufa bye twasikira okuva ku Adamu. Newakubadde abantu abamu bakola ebintu ebibi ennyo, nabo Yesu yabafiirira. Wandiwaddeyo obulamu bwo okununula abantu ng’abo?—
Bayibuli egamba nti: “Kiba kizibu omuntu okufiirira omuntu omutuukirivu, naye oboolyawo omuntu ayinza okwewaayo okufiirira omuntu omulungi.” Wadde kiri kityo, Bayibuli egamba nti Yesu ‘yafiirira abantu abatatya Katonda.’ Mu abo mulimu n’abantu abataweereza Katonda! Bayibuli eyongera n’egamba nti: “Bwe twali nga tukyali boonoonyi [nga tukyakola ebintu ebibi], Kristo n’atufiiririra.”—Abaruumi 5:6-8.
Omanyi omu ku batume eyakolanga ebintu ebibi ennyo?— Omutume oyo yagamba nti: ‘Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi. Mu boonoonyi abo nze nsingayo.’ Omutume Pawulo ye yayogera ebigambo ebyo. Yagamba nti ‘yali talina magezi’ era nti yakolanga ‘ebintu ebibi.’—1 Timoseewo 1:15; Tito 3:3.
Lowooza ku kwagala okungi ennyo Katonda kwe yalina n’atuuka n’okutuma Omwana we afiirire abantu aboonoonyi! Nkusaba obikkule Bayibuli yo osome Yokaana essuula 3, olunyiriri 16. Wagamba nti: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.”
Yesu yalaga nti yali atwagala nnyo nga Kitaawe bw’atwagala. Oyinza okuba ng’okyajjukira nti mu Ssuula eya 30 ey’ekitabo kino, twasoma ku ngeri Yesu gye yabonyaabonyezebwa mu kiro kye yakwatirwamu. Yatwalibwa mu maka ga Kabona Asinga Obukulu, Kayaafa, ne bamuwozesa. Abajulizi ab’obulimba baaleetebwa ne boogera eby’obulimba ku Yesu, era abantu ne bamukuba ebikonde. Mu kiseera ekyo, Peetero yeegaana Yesu. Kati kuba akafaananyi nga tuli eyo era nga tulaba ekigenda mu maaso.
Obudde bukedde. Yesu abadde atunula ekiro kyonna. Olw’okuba okuwozesebwa okw’ekiro tekwabadde mu mateeka, amangu ago bakabona batuuza Olukiiko, oba kkooti y’Abayudaaya, basobole okuddamu okumuwozesa. Era baddamu okulumiriza Yesu nti yazza emisango mu maaso ga Katonda.
Bakabona balagira Yesu asibibwe, era ne bamutwala ewa Piraato, gavana Omuruumi. Bagamba Piraato nti: ‘Yesu awakanya gavumenti. Asaanidde okuttibwa.’ Naye Piraato akiraba nti bakabona boogera bya bulimba. N’olwekyo Piraato abagamba nti: ‘Siraba musango gwonna ku musajja ono. Ŋŋenda kumuta agende.’ Naye bakabona n’abantu abalala boogerera waggulu nti: ‘Nedda! Mutte!’
Oluvannyuma Piraato addamu okugamba bantu nti agenda kuta Yesu agende. Naye bakabona baleetera abantu okuleekanira waggulu nti: ‘Singa omuleka n’agenda, naawe oba owakanya gavumenti! Mutte!’ Ekibiina ky’abantu kyeyongera okuleekaana. Omanyi ekyo Piraato ky’akola?—
Yekkiriranya. Okusooka alagira ne bakuba Yesu kibooko. Oluvannyuma amuwaayo eri abaserikale bamutte. Bateeka engule ey’amaggwa ku mutwe gwa Yesu ne bamuvvunamira nga bamukiina. Oluvannyuma batikka Yesu omuti omunene ne bamutwala ebweru w’ekibuga mu kifo ekiyitibwa eky’Ekiwanga. Nga bali mu kifo ekyo, bakomerera emikono n’ebigere bya Yesu ku muti. Bayimiriza omuti ogwo kwe bamukomeredde. Yesu avaamu omusaayi mungi era awulira obulumi bwa maanyi nnyo.
Kyokka Yesu tafiirawo. Bakabona abakulu bamusekerera. Era n’abo abayita mu kkubo bamugamba nti: “Bw’oba oli mwana wa Katonda, va ku muti ogw’okubonaabona!” Naye Yesu amanyi ekyo Kitaawe kye yamutuma okukola. Akimanyi nti alina okuwaayo obulamu bwe obutuukiridde tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo. Oluvannyuma, ku ssaawa nga mwenda ez’olweggulo, Yesu ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka eri Kitaawe era n’afa.—Matayo 26:36–27:50; Makko 15:1; Lukka 22:39–23:46; Yokaana 18:1–19:30.
Nga Yesu yali wa njawulo nnyo ku Adamu! Adamu yali tayagala Katonda. Yamujeemera. Naffe Adamu yali tatwagala. Olw’okuba yayonoona, ffenna twazaalibwa n’ekibi. Naye Yesu yali atwagala era ng’ayagala ne Katonda. Yagonderanga Katonda. Era yawaayo obulamu bwe asobole okutuggya mu bizibu Adamu bye yatuleetera.
Osiima nnyo ekyo Yesu kye yatukolera?— Bw’osaba Katonda, omwebaza olw’okutuwa Omwana we?— Omutume Pawulo yasiima nnyo ekyo Kristo kye yamukolera. Pawulo yagamba nti Omwana wa Katonda ‘yanjagala ne yeewaayo ku lwange.’ (Abaggalatiya 2:20) Yesu yatufiirira nze naawe. Yawaayo obulamu bwe obutuukiridde tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo! Mazima ddala, eyo y’ensonga lwaki tusaanidde okwagala Yesu.
Omutume Pawulo yawandiikira bw’ati Abakristaayo ab’omu kibuga ky’e Kkolinso: “Okwagala kwa Kristo kutuleetera okubaako kye tukola.” Okwagala kwa Kristo kutuleetera kukola ki? Ggwe olowooza otya?— Weetegereze Pawulo ky’addamu: ‘Kristo yafiiririra bonna basobole okuba abalamu ku Lulwe. Tebasaanidde kuba balamu olw’okwesanyusa bokka.’—2 Abakkolinso 5:14, 15, Okusinziira ku nkyusa eyitibwa New Life Version.
Biki by’oyinza okukola okulaga nti oli mulamu olw’okusanyusa Kristo?— Ekimu ku byo, kwe kubuulira abalala by’oyize ku Yesu. Oba lowooza ku kino: Oyinza okuba ng’oli wekka era nga maama wo, taata wo oba omuntu omulala yenna talaba ky’okola. Onoolaba programu ku ttivi oba ebintu ku intaneeti by’omanyi nti tebisanyusa Yesu?— Kijjukire nti Yesu mulamu era asobola okulaba buli kimu kye tukola!
Ensonga endala lwaki tusaanidde okwagala Yesu kwe kuba nti twagala okukoppa Yakuwa. Yesu yagamba nti: “Kitange anjagala.” Omanyi lwaki Yakuwa ayagala Yesu era n’ensonga lwaki naffe tusaanidde okumwagala?— Kubanga Yesu yali mwetegefu okufa kisobozese ebyo Katonda by’ayagala okukolebwa. (Yokaana 10:17) N’olwekyo ka tukolere ku kubuulirira kuno okuli mu Bayibuli: “Mukoppe Katonda ng’abaana abaagalwa, era mutambulirenga mu kwagala nga Kristo bwe yabaagala ne yeewaayo ku lwammwe.”—Abeefeso 5:1, 2.
Okusobola okweyongera okusiima Yesu n’ekyo kye yatukolera, osabibwa okusoma Yokaana 3:35; 15:9, 10; ne 1 Yokaana 5:11, 12.