ESSUULA 67
“Tewali Muntu Eyali Ayogedde bw’Atyo”
ABASIRIKALE BASINDIKIBWA OKUKWATA YESU
NIKODEMU AWOLEREZA YESU
Yesu akyali mu Yerusaalemi ku Mbaga ey’Ensiisira. Musanyufu okuba nti ‘abantu bangi bamukkiririzaamu.’ Naye ekyo kinyiiza nnyo abakulembeze b’eddiini era basindika abasirikale okumukwata. (Yokaana 7:31, 32) Kyokka, Yesu tagezaako kwekweka.
Mu kifo ky’ekyo, Yesu yeeyongera okuyigiriza mu lujjudde mu Yerusaalemi, ng’agamba nti: “Nja kubeera nammwe akaseera katono nga sinnagenda eri Oyo eyantuma. Mujja kunnoonya naye temujja kundaba, era gye nnaabeera temuyinza kujjayo.” (Yokaana 7:33, 34) Ebigambo ebyo Abayudaaya balemererwa okubitegeera, era ne batandika okwebuuza: “Omusajja oyo ayagala kugenda wa gye tutayinza kumulabira? Ayagala kugenda eri Abayudaaya abaasaasaanira mu Bayonaani era ayigirize n’Abayonaani? Ategeeza ki bw’agamba nti, ‘Mujja kunnoonya naye temujja kundaba, era gye nnaabeera temuyinza kujjayo’?” (Yokaana 7:35, 36) Kyokka, Yesu ayogera ku ky’okuba nti agenda kufa oluvannyuma azuukire agende mu ggulu, abalabe be gye batasobola kutuuka.
Olunaku olw’omusanvu olw’embaga lutuuka. Okuva embaga eyo lwe yatandika, buli ku makya, kabona abaddenga ayiwa amazzi agaggiddwa mu Kidiba ky’e Sirowamu, ne gakulukuta okutuuka ku ntobo y’ekyoto. Oboolyawo ng’ayagala abantu bafumiitirize ku ekyo ekibaawo buli ku makya ku mbaga eyo, Yesu abagamba nti: “Bwe wabaawo alumwa ennyonta ajje gye ndi anywe. Oyo anzikiririzaamu, ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba: ‘Munda mu ye muliva emigga egy’amazzi amalamu.’”—Yokaana 7:37, 38.
Yesu ayogera ku ekyo ekijja okubaawo ng’abayigirizwa be bafukiddwako omwoyo omutukuvu ne bafuna essuubi ery’okugenda mu ggulu. Abayigirizwa ba Yesu abo bafukibwako amafuta oluvannyuma lwa Yesu okufa. Mu mwaka oguddako ku lunaku lwa Pentekooti, emigga gy’amazzi ag’obulamu gitandika okukulukuta ng’abayigirizwa abaafukibwako amafuta batandise okubuulira abalala amawulire amalungi.
Nga boogera ku ngeri Yesu gy’ayigirizaamu, abantu abamu bagamba nti: “Mazima ddala ono ye Nnabbi.” Bakiraba nti ono ye nnabbi eyasuubizibwa, asinga Musa. Abalala bagamba nti: “Ono ye Kristo.” Ate abalala bagamba nti: “Kristo agenda kuva Ggaliraaya? Ekyawandiikibwa tekigamba nti Kristo aliva mu zzadde lya Dawudi, era nti ajja kuva mu Besirekemu, ekibuga Dawudi gye yabeeranga?”—Yokaana 7:40-42.
Abantu beeyawuddemu. Wadde ng’abamu baagala Yesu akwatibwe, tewali n’omu amukwatako. Abasirikale baddayo eri abakulembeze b’eddiini nga tebakutte Yesu. Bakabona abakulu bababuuza nti: “Lwaki temumuleese?” Abasirikale baddamu nti: “Tewali muntu eyali ayogedde bw’atyo.” Abakulembeze b’eddiini banyiiga nnyo ne babagamba nti: “Nammwe ababuzaabuzizza? Waliwo n’omu ku bafuzi oba ku Bafalisaayo amukkiririzzaamu? Naye abantu bano abatamanyi Mateeka baakolimirwa.”—Yokaana 7:45-49.
Mu kiseera kino, Nikodemu, Omufalisaayo era omu ku b’Olukiiko Olukulu, atandika okuwolereza Yesu. Emyaka ng’ebiri n’ekitundu emabega, Nikodemu yagenda eri Yesu ekiro n’akiraga nti amukkiririzaamu. Kati Nikodemu abuuza nti: “Amateeka gaffe gakkiriza okusalira omuntu omusango nga tebannamuwozesa era nga tebannategeera ky’akoze?” Kiki kye bamugamba? Bamugamba nti: “Naawe ova Ggaliraaya? Noonyereza ojja kukiraba nti tewali nnabbi wa kuva Ggaliraaya.”—Yokaana 7:51, 52.
Ebyawandiikibwa tebikyogera butereevu nti nnabbi yandivudde mu Ggaliraaya. Wadde kiri kityo Ekigambo kya Katonda kiraga nti Kristo wa kuva eyo; obunnabbi bwalaga nti “ekitangaala eky’amaanyi” kyandirabiddwa mu “Ggaliraaya eky’amawanga.” (Isaaya 9:1, 2; Matayo 4: 13-17) Ate era ng’obunnabbi bwe bwalaga, Yesu yazaalibwa Besirekemu, era muzzukulu wa Dawudi. Wadde ng’ekyo Abafalisaayo bakimanyi, kirabika be baviiriddeko abantu abangi okuba n’endowooza enkyamu ku Yesu.