OKWEJJUKANYA EKITUNDU 4
Kubaganya ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga n’omusomesa wo:
Soma Engero 13:20.
Lwaki kikulu okwegendereza ng’olonda emikwano?
(Laba Essomo 48.)
Magezi ki agali mu Bayibuli agasobola okukuyamba bw’oba ng’oli . . .
mufumbo?
muzadde oba mwana?
Njogera ya ngeri ki esanyusa Yakuwa? Njogera ya ngeri ki etasanyusa Yakuwa?
(Laba Essomo 51.)
Misingi ki egiri mu Bayibuli egisobola okukuyamba ng’osalawo olugoye lw’onooyambala n’engeri gy’oneekolako?
(Laba Essomo 52.)
Oyinza otya okulonda eby’okwesanyusaamu ebisanyusa Yakuwa?
(Laba Essomo 53.)
Soma Matayo 24:45-47.
“Omuddu omwesigwa era ow’amagezi” y’ani?
(Laba Essomo 54.)
Oyinza otya okukozesa ebiseera byo, amaanyi go, n’ebintu byo, okuwagira ekibiina?
(Laba Essomo 55.)
Soma Zabbuli 133:1.
Biki by’osobola okukola okukuuma obumu mu kibiina?
(Laba Essomo 56.)
Biki bye tulina okukola okusobola okufuna obuyambi bwa Yakuwa nga tukoze ekibi eky’amaanyi?
(Laba Essomo 57.)
Soma 1 Ebyomumirembe 28:9.
Oyinza otya okulaga nti ‘weemalidde’ ku Yakuwa nga waliwo aboogera obubi ku Yakuwa n’ekibiina kye oba abavudde mu mazima?
Waliwo enkyukakyuka yonna gye weetaaga okukola okusobola okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa, era n’obutaba na kakwate konna n’eddiini ez’obulimba?
(Laba Essomo 58.)
Oyinza otya okweteekerateekera okuyigganyizibwa?
(Laba Essomo 59.)
Biki by’oteeseteese okukola okusobola okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo?
(Laba Essomo 60.)