Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Bajja mu Maka Go Entakera?
Okwetooloola ensi, obunyiikivu Abajulirwa ba Yakuwa bwe balaga nga babuulira nnyumba ku nnyumba bumanyiddwa nnyo. Abantu abamu beebuuza ensonga lwaki Abajulirwa bajja mu maka gaabwe entakera, naddala bwe baba nga baali tebasiimye bubaka bw’Abajulirwa. Amabaluwa abiri agaawandiikibwa okuva mu Russia gayamba okunnyonnyola ensonga eno.
Masha, omuwala ow’emyaka 19 abeera mu Khabarovsk, agamba bw’ati: “Mu biseera eby’emabega, nneewaliranga ddala Abajulirwa ba Yakuwa.” Kyokka, oluvannyuma lw’okusoma magazini ezikubibwa Abajulirwa, yakyusa endowooza ye. “Byonna bye nsomye binyumidde nnyo era bibaddemu eby’okuyiga,” bw’atyo Masha bw’agamba, “naye ekisinga obukulu, bireetera omuntu okutunuulira ensi mu ngeri ey’enjawulo. Mpolampola nnatandika okutegeera ekigendererwa ky’obulamu.”
Ng’asinziira mu kibuga Ussuriysk, ekiri mayiro 50 mu bukiika kkono bwa Vladivostok, Svetlana yawandiika: “Nnaakatandika okusoma Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Magazini zino zeetaagibwa nnyo mu kiseera kyaffe kino. Nnyumirwa nnyo buli kitundu ekibeeramu. Zinyuma, ziyigiriza, era ziyamba. Mwebale nnyo okukola omulimu guno omulungi era ogwetaagisa.
Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna batwala ekibuuzo kya Pawulo kino nga kikulu nnyo: “[Abantu] baliwulira batya awatali abuulira?” (Abaruumi 10:14) Lwaki towaayo eddakiika ntonotono okuwuliriza Abajulirwa nga bakukyalidde omulundi omulala? Naawe oyinza okunyumirwa obubaka obubudaabuda obusangibwa mu Kigambo kya Katonda, Baibuli.