ESSUULA EY’OKUTAANO
Tendeka Omwana Wo Okuva mu Buwere
1, 2. Abazadde banditunuulidde ani okufuna obuyambi mu kukuza abaana baabwe?
“ABAANA bwe busika bwa Mukama,” bw’atyo bwe yayogera omuzadde omu emyaka nga 3,000 egiyise. (Zabbuli 127:3) Mazima ddala, essanyu ery’okubeera omuzadde kirabo kya muwendo okuva eri Katonda, ekiyinza okufunibwa abafumbo abasinga obungi. Kyokka, abo abalina abaana batuuka okukimanya nti okugatta ku ssanyu, okubeera omuzadde kireeta obuvunaanyizibwa.
2 Naddala mu biseera bino, okukuza abaana mulimu gwa maanyi. Wadde kiri bwe kityo, bangi basobodde okukikola era omuwandiisi wa Zabbuli eyaluŋŋamizibwa ayoleka engeri gye kikolebwamu, ng’agamba: “Mukama bw’atazimba nnyumba, abagizimba bakolera bwereere.” (Zabbuli 127:1) Gy’okoma okugoberera ebiragiro bya Yakuwa, gy’okoma n’okuba omuzadde omulungi. Baibuli egamba: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. so teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe.” (Engero 3:5) Oli mwetegefu okuwuliriza okubuulirira kwa Yakuwa ng’otandika omulimu ogw’emyaka 20 ogw’okukuza omwana?
OKUKKIRIZA ENDOWOOZA YA BAIBULI
3. Buvunaanyizibwa ki bataata bwe balina mu kukuza abaana?
3 Mu maka mangi okwetooloola ensi, abasajja omulimu gw’okutendeka abaana bagutwala okuba ogw’abakazi. Kya mazima, Ekigambo kya Katonda kyogera ku buvunaanyizibwa bwa taata obw’okunoonyeza ab’omu maka ge eky’okulya. Kyokka, era kigamba nti alina obuvunaanyizibwa awaka. Baibuli egamba: “Teekateekanga omulimu gwo ebweru, ogwetegekerenga mu nnimiro; oluvannyuma n’olyoka ozimba ennyumba yo.” (Engero 24:27) Okusinziira ku ndowooza ya Katonda, bataata ne bamaama balina okukolera awamu mu kutendeka abaana.—Engero 1:8, 9.
4. Lwaki tetwandirowoozezza nti abaana abalenzi ba waggulu okusinga abawala?
4 Abaana bo obatwala otya? Lipoota zigamba nti mu Asia “abaana abawala tebaagalibwa.” Kigambibwa nti okusosola abaana abawala kukyaliyo mu Latini Amereka, wadde ne mu “maka agafunye ku buyigirize.” Kyokka, amazima gali nti abaana abawala si ba wansi ku baana abalala. Yakobo, omuzadde omumanyifu ow’edda, yayogera ku baana be bonna, nga mw’otwalidde n’abaana abawala be yalina mu kiseera ekyo, nga “abaana Katonda be [yampa].” (Olubereberye 33:1-5; 37:35) Mu ngeri y’emu, Yesu yawa omukisa “abaana abato bonna” (abalenzi n’abawala) abaaleetebwa gy’ali. (Matayo 19:13-15) Tuyinza okuba abakakafu nti yalaga endowooza ya Yakuwa.—Ekyamateeka 16:14.
5. Bintu ki abafumbo bye balina okufumiitirizaako nga basalawo obunene bw’amaka gaabwe?
5 Abantu b’omu kitundu kyo basuubira omukazi okuzaala abaana bangi nga bwe kisoboka? Mu butuufu, kiba eri abafumbo bombi okwesalirawo abaana bameka be baagala okuzaala. Naye kiba kitya singa abazadde tebaba na busobozi bwa kuliisa, kwambaza, na kusomesa baana bangi? Ddala ddala, abafumbo basaanidde okukirowoozaako nga basalawo ku bunene bw’amaka gaabwe. Abamu abatasobola kulabirira baana baabwe bonna bakwasa ab’eŋŋanda zaabwe obuvunaanyizibwa obw’okubakulizaako abaana abamu. Enkola eno nnungi? Nedda. Era teggyako bazadde buvunaanyizibwa bwe balina eri abaana baabwe. Baibuli egamba: “Naye omuntu yenna bw’atajjanjaba babe, n’okusinga ab’omu nnyumba ye [“maka ge,” NW], nga yeegaanyi okukkiriza.” (1 Timoseewo 5:8) Abafumbo ab’obuvunaanyizibwa bagezaako okugera obungi bw’abaana be banaaba nabo mu “maka” gaabwe babe nga basobola ‘okujjanjaba abaabwe.’ Bayinza okwegema okuzaala abaana basobole okutuukiriza kino? Ne mu kino be balina okwesalirawo, era abafumbo bwe baba basazeewo okukola bwe batyo, be baba balina okweronderawo ebikozesebwa mu kugema okuzaala bye baagala okukozesa. “Kubanga buli muntu alyetikka omutwalo gwe ye.” (Abaggalatiya 6:5) Kyokka, engeri y’okwegema okuzaala eggyamu olubuto eba ekontana n’emisingi gya Baibuli. Yakuwa Katonda ye “nsibuko y’obulamu.” (Zabbuli 36:9, NW) N’olwekyo okuzikiriza obulamu nga bumaze okutondebwawo kiba kiraga obutawa Yakuwa kitiibwa era kuba kutta.—Okuva 21:22, 23; Zabbuli 139:16; Yeremiya 1:5.
OKUTUUSA KU MWANA WO BYE YEETAAGA
6. Okutendeka omwana kwanditandise ddi?
6 Engero 22:6 lugamba: “Manyiiza [“Tendeka,” NW] omwana omuto mu kkubo erimugwanira.” Okutendeka abaana nagwo mulimu mukulu ogw’abazadde. Naye okutendeka kuno kusaanidde kutandika ddi? Mangu ddala. Omutume Pawulo yakimanya nti Timoseewo yatendekebwa “okuva mu buwere.” (2 Timoseewo 3:15, NW) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyakozesebwa wano kiyinza okutegeeza akaana akawere oba n’omwana atannaba kuzaalibwa. (Lukka 1:41, 44; Ebikolwa 7:18-20) Bwe kityo, Timoseewo yatandika okutendekebwa ng’akyali muto nnyo—era nga bwe kyali kirina okuba. Ekiseera eky’obuwere kye kituufu okutandikiramu okutendeka omwana. N’omwana omuto alina enjala ey’okumanya.
7. (a) Lwaki kikulu nnyo abazadde bombi okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’omwana? (b) Nkolagana ki eyaliwo wakati wa Yakuwa n’Omwana we eyazaalibwa omu yekka?
7 “Bwe nnasooka okulaba omwana wange,” maama omu bwe yagamba, “Nnamwagalirawo.” Era bwe kityo bwe kiba eri bamaama abasinga obungi. Enkolagana eno ey’omukwano ennyo wakati wa maama n’omwana egenda yeeyongera gye beeyongera okubeera awamu oluvannyuma lw’okuzaala. Okuyonsa kwongera okunyweza omukwano ogwo. (Geraageranya 1 Abasessalonika 2:7.) Maama okuweeweeta omwana we ate nga bw’ayogera naye, bikulu nnyo mu kukola ku byetaago by’omwana eby’enneewulira ez’omunda. (Geraageranya Isaaya 66:12.) Naye ate taata? Naye ateekwa okuteekawo enkolagana ey’oku lusegere n’omwana we eyaakazaalibwa. Yakuwa kennyini kyakulabirako kirungi mu kino. Mu kitabo kya Engero, tuyiga ku nkolagana Yakuwa gy’alina n’Omwana we eyazaalibwa omu yekka, eyayogera bw’ati: “Mukama yali nange ekkubo lye we lyasookera . . . Era bulijjo yansanyukiranga.” (Engero 8:22, 30; Yokaana 1:14) Mu ngeri y’emu, taata omulungi ateekawo enkolagana ey’okwagala wakati we n’omwana we okuviira ddala ku ntandikwa y’obulamu bw’omwana. “Mulage okwagala kungi,” taata omu bw’agamba. “Tewali mwana yali afudde lwa kumuwambaatira na kumunywegera.”
8. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okukulaakulana mu bwongo amangu nga bwe kisoboka?
8 Kyokka abaana abawere beetaaga ekisingako awo. Okuva lwe bazaalibwa, obwongo bwabwe buba bwetegefu okuyingiza n’okutereka ebintu, era abazadde ye nsibuko enkulu ey’ebintu ebyo. Ka tutwale olulimi ng’ekyokulabirako. Abanoonyereza bagamba nti engeri omwana gy’ayigamu okwogera n’okusoma “erowoozebwa okuba ng’erina akakwate kanene n’enkolagana omwana gy’aba ne bazadde be ng’akyali muwere.” Yogera n’omwana wo era musomere okuva mu buwere. Mu bbanga ttono ajja kwagala okukukoppa, era onoolwaddaaki n’otandika okumuyigiriza okusoma. Kisoboka nti ajja kuyiga okusoma nga tannaba kuyingira ssomero. Kino kijja kuyamba nnyo naddala bw’oba ng’obeera mu nsi abasomesa mwe bali abatono era nga n’ebibiina bikubyeko.
9. Kiruubirirwa ki ekisinga obukulu abazadde kye beetaaga okujjukira?
9 Abazadde Abakristaayo kye basinga okufaako kwe kukola ku byetaago by’omwana eby’eby’omwoyo. (Laba Ekyamateeka 8:3.) Nga balina kiruubirirwa ki? Okuyamba omwana waabwe okukulaakulanya engeri ezifaananako n’eza Kristo, mu ngeri endala, okwambala “omuntu omuggya.” (Abeefeso 4:24) Okutuukiriza kino kibeetaagisa okulowooza ku bizimbisibwa ebirungi n’engeri z’okuzimba ennungi.
OMWANA WO MUYIGIRIZE AMAZIMA
10. Ngeri ki abaana ze balina okukulaakulanya?
10 Obugumu bw’ekizimbe businziira ku bintu ebyakozesebwa mu kukizimba. Omutume Pawulo yagamba nti ebizimbisibwa ebisinga obulungi eby’okuzimba engeri ez’Ekikristaayo ye “zaabu, ffeeza, amayinja ag’omuwendo omungi.” (1 Abakkolinso 3:10-12) Bino bikiikirira engeri gamba ng’okukkiriza, amagezi, okutegeera, obwesigwa, okuwa ekitiibwa, n’okusanyukira Yakuwa n’amateeka ge. (Zabbuli 19:7-11; Engero 2:1-6; 3:13, 14) Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okuviira ddala mu buto okukulaakulanya engeri zino? Nga bagoberera enkola eyateekebwawo edda ennyo.
11. Abazadde Abaisiraeri baayambanga batya abaana baabwe okukulaakulanya engeri Katonda z’ayagala?
11 Ng’eggwanga lya Isiraeri linaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize, Yakuwa yagamba abazadde Abaisiraeri: “Era ebigambo bino bye nkulagira leero binaabanga ku mutima gwo: era onoonyiikiriranga okubiyigiriza abaana bo, era onoobyogerangako bw’onootuulanga mu nnyumba yo, era bw’onootambulanga mu kkubo, era bw’onoogalamiranga era bw’onoogolokokanga.” (Ekyamateeka 6:6, 7) Yee, abazadde kibeetaagisa okuba ekyokulabirako, ab’omukwano, okussaawo empuliziganya, era abasomesa.
12. Lwaki kikulu nnyo abazadde okuba ekyokulabirako ekirungi?
12 Ba kyakulabirako. Okusooka, Yakuwa yagamba: “Ebigambo bino . . . binaabanga ku mutima gwo.” N’agattako nti: “Onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo.” N’olwekyo engeri za Katonda ziteekwa okusooka okuba mu mutima gw’omuzadde. Omuzadde ateekwa okwagala amazima era n’okugatambulizaako obulamu bwe. Olwo lw’anaasobola okutuuka ku mutima gw’omwana we. (Engero 20:7) Lwaki? Kubanga abaana bagoberera nnyo bye balaba okusinga bye bawulira.—Lukka 6:40; 1 Abakkolinso 11:1.
13. Mu kulabirira abaana baabwe, abazadde Abakristaayo bayinza batya okukoppa ekyokulabirako kya Yesu?
13 Ba mukwano gwabwe. Yakuwa yagamba abazadde Abaisiraeri: ‘Mwogere n’abaana bammwe bwe munaatuulanga mu nnyumba yammwe era bwe munaatambulanga mu kkubo.’ Kino kyetaagisa abazadde okuwaayo ebiseera okubeerako n’abaana ka babe nga balina eby’okukola byenkana wa. Kya lwatu nti Yesu yalaba ng’abaana bagwana okuweebwa ku biseera bye. Mu nnaku ezaasembayo mu buweereza bwe, abantu “bamuleetera abaana abato, okubakomako.” Yesu yakola atya? “N’abawambaatira, n’abawa omukisa.” (Makko 10:13, 16) Kirowoozeeko, Yesu yali anaatera okufa. Kyokka, yawaayo ekiseera okubeerako n’abaana bano era n’abafaako. Nga kya kuyiga kirungi nnyo!
14. Lwaki kya muganyulo abazadde okuwaayo ebiseera okubeerako n’omwana waabwe?
14 Ssaawo empuliziganya. Okuwaayo ekiseera okubeera awamu n’omwana wo kijja kukuyamba okufuna empuliziganya naye. Gy’okoma okwogera naye, gy’ojja okukoma okutegeera engeri ze. Kyokka, kijjukire nti okussaawo empuliziganya tekitegeeza kwogera bwogezi. “Nnalina okuyiga okuwuliriza,” maama w’abaana omu mu Brazil bwe yagamba, “okuwuliriza n’omutima gwange.” Obugumiikiriza bwe bwavaamu ebibala mutabani we bwe yatandika okumubuulira ebimuli ku mutima.
15. Kiki ekirina okujjukirwa bwe kituuka ku kwesanyusaamu?
15 Abaana beetaaga “ekiseera eky’okusekeramu . . . n’ekiseera eky’okuziniramu,” ekiseera eky’okwesanyusaamu. (Omubuulizi 3:1, 4; Zekkaliya 8:5) Okwesanyusaamu kuba kwa muganyulo nnyo abaana n’abazadde bwe bakufunira awamu. Kya nnaku nti mu maka mangi okwesanyusaamu kuba kulaba ttivi. Wadde nga programu ezimu ez’oku ttivi zisanyusa, nnyingi ku zo zoonoona empisa ennungi, era okulaba ttivi kutta empuliziganya mu maka. N’olw’ensonga eyo, lwaki temukolawo kintu kizimba awamu n’abaana bammwe? Muyimbe, muzannye emizannyo, mukyalire ab’emikwano, mugendeko mu bifo ebisanyusa. Ebintu ng’ebyo biyamba okunyweza empuliziganya.
16. Abazadde basaanidde kuyigiriza ki abaana baabwe ku Yakuwa, era bandikikoze batya?
16 Beera musomesa. “[Ebigambo bino] onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo,” bw’atyo Yakuwa bwe yagamba. Ennyiriri eziriraanyewo zikutegeeza biki eby’okuyigiriza n’engeri ey’okubiyigirizaamu. Okusooka, “onooyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna n’amaanyi go gonna.” (Ekyamateeka 6:5) Oluvannyuma, “ebigambo bino . . . onoonyiikiranga okubiyigiriza.” (Italiki zaffe.) Muyigirize ng’oluubirira okumusigamu okwagala Yakuwa n’amateeka ge n’omutima gwe gwonna. (Geraageranya Abebbulaniya 8:10.) Ebigambo ‘okunyiikira okuyigiriza’ bitegeeza okuyigiriza ng’oddiŋŋana. Bwe kityo, Yakuwa akugamba nti engeri enkulu ey’okuyambamu abaana bo okukulaakulanya engeri za Katonda kwe kumwogerako buli kiseera. Kino kitwaliramu n’okubayigiriza Baibuli obutayosa.
17. Kiki abazadde kye balina okukulaakulanya mu mwana waabwe? Lwaki?
17 Abazadde bangi bakimanyi nti okutuusa ekintu ku mutima gw’omwana si kyangu. Omutume Peetero yakubiriza Bakristaayo banne: “Ng’abaana abawere abaakajja bazaalibwe, mwegombenga [“mukulaakulanye okwegomba,” NW] amata ag’omwoyo agataliimu bulimba.” (1 Peetero 2:2) Ebigambo “mukulaakulanye okwegomba” biraga nti bangi mu buzaale baba tebayaayaanira mmere ya bya mwoyo. Abazadde kiyinza okubeetaagisa okunoonyawo amakubo okukulaakulanya okwegomba okwo mu mwana waabwe.
18. Ngeri ki ez’okuyigiriza Yesu ze yakozesa abazadde ze bakubirizibwa okugoberera?
18 Yesu yatuukanga ku mitima ng’akozesa ebyokulabirako. (Makko 13:34; Lukka 10:29-37) Engeri y’okuyigiriza eno ekolera ddala bulungi ku baana. Yigiriza emisingi gya Baibuli ng’okozesa engero ezinyuma, ezirimu ebifaananyi ebisikiriza, gamba ng’ezo ezisangibwa mu kitabo My Book of Bible Stories.a Leka abaana babeeko kye bakola. Bagambe bakube ebifaananyi era bazannye ku ebyo ebyaliwo mu Baibuli. Yesu yakozesanga n’ebibuuzo. (Matayo 17:24-27) Weeyambise enkola ye mu kuyiga kwammwe okw’amaka. Mu kifo ky’okwogera obwogezi etteeka lya Katonda, buuza ebibuuzo nga bino, Lwaki Yakuwa yatuwa etteeka lino? Kiki ekinaabaawo bwe tulikwata? Kiki ekinaabaawo bwe tutalikwata? Ebibuuzo ng’ebyo biyamba omwana okulowooza ku nsonga n’okulaba nti amateeka ga Katonda ga mugaso era malungi.—Ekyamateeka 10:13.
19. Singa abazadde bagoberera emisingi gya Baibuli nga bakolagana n’abaana baabwe, kinaaleeta miganyulo ki emikulu eri abaana?
19 Bw’obeera ekyokulabirako ekirungi, mukwano gwe, ng’osizzaawo empuliziganya, era n’oba musomesa, osobola okuyamba omwana wo okuviira ddala ku myaka gye egisooka okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa Katonda. Enkolagana eno ejja kuyamba omwana wo okuba Omukristaayo omusanyufu. Ajja kufuba okusigala nga munywevu mu kukkiriza kwe wadde ng’ayolekaganye n’okupikirizibwa okuva eri banne oba okukemebwa. Bulijjo muyambe okusiima enkolagana eno ey’omuwendo ennyo.—Engero 27:11.
OBUKULU BW’OKUKANGAVVULA
20. Okukangavvula kye ki, era kukolebwa kutya?
20 Okukangavvula ye ngeri y’okutendeka etereeza ebirowoozo n’omutima. Abaana bakwetaaga buli kiseera. Pawulo abuulirira bataata ‘balerenga [abaana baabwe] mu kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Mukama.’ (Abeefeso 6:4) Abazadde bateekwa kukangavvulira mu kwagala, nga Yakuwa bw’akola. (Abebbulaniya 12:4-11) Okukangavvula okwesigamiziddwa ku kwagala kuyinza okuweebwa mu ngeri ey’okunnyonnyola. Kyetuva tugambibwa “okuwuliriza okukangavvula.” (Engero 8:33, NW) Okukangavvula kwandiweereddwa kutya?
21. Misingi ki abazadde gye balina okujjukira nga bakangavvula abaana baabwe?
21 Abazadde abamu balowooza nti okukangavvula abaana baabwe kitegeeza kwogera nabo mu ddoboozi eritiisa, okubakayukira, oba okubavuma. Kyokka, ku nsonga y’emu, Pawulo alabula: “Nammwe, bakitaabwe, temusunguwazanga baana bammwe.” (Abeefeso 6:4) Buli Mukristaayo akubirizibwa okubeeranga “omukkakkamu eri bonna . . . abuulira n’obuwombeefu abawakanyi.” (2 Timoseewo 2:24, 25) Wadde ng’abazadde Abakristaayo bamanyi nti balina okuba abanywevu, tebeerabira bigambo ebyo nga bakangavvula abaana baabwe. Kyokka, ebiseera ebimu okubuulirira obubuulirizi tekimala, era okubonereza kuyinza okwetaagisa.—Engero 22:15.
22. Singa omwana alina okubonerezebwa, kiki ky’alina okuyambibwa okutegeera?
22 Abaana ab’enjawulo beetaaga okukangavvula kwa njawulo. Abamu tebatereezebwa na “kubuulirirwa [kwa] bigambo.” Abalinga abo, okubabonerezanga nga bajeemye kuyinza okuwonya obulamu bwabwe. (Engero 17:10; 23:13, 14; 29:19) Kyokka, omwana ateekwa okutegeera lwaki abonerezebwa. “Omuggo n’okunenya bireeta amagezi.” (Engero 29:15, italiki zaffe; Yobu 6:24) Ate era, okubonereza kulina we kukoma. Naye “ndikubonereza okutuuka we kisaanira,” bw’atyo Yakuwa bwe yagamba eggwanga lye. (Yeremiya 46:28b, NW) Baibuli terina wonna w’esembera kukuba na busungu oba okukuba okusukkiridde, okunuubula oba okuteeka ku mwana ebiwundu.—Engero 16:32.
23. Kiki omwana ky’asaanidde okutegeera ng’abonerezebwa abazadde be?
23 Yakuwa bwe yalabula abantu be nti yali agenda kubakangavvula, yasooka kugamba nti: “Totya . . . kubanga nze ndi wamu naawe.” (Yeremiya 46:28a) Mu ngeri y’emu, okubonereza kw’omuzadde, mu ngeri yonna gye kukolebwamu, tekusaanidde kuleka mwana ng’awulira nga takyayagalibwa. (Abakkolosaayi 3:21) Wabula, omwana asaanidde okuwulira nti akangavvuddwa lwa kuba omuzadde ‘ali wamu naye,’ ali ku luuyi lwe.
OMWANA WO MUKUUME ALEME KUTUUKIBWAKO KABI
24, 25. Abaana balina kukuumibwa kuva ku kabi ki ennaku zino?
24 Abantu abakulu bangi bwe bajjukira obuto bwabwe bwe bwali, balaba nga bwali bwa ssanyu. Bajjukira obukuumi bwe baalina, obwesige nti abazadde baabwe baali bajja kubalabirira, ka kibe ki oba ki. Abazadde baagala abaana baabwe bawulire bwe batyo, naye mu nsi ennyonoonefu ey’akakyo kano, kyeyongedde okuba ekikalubo okukuuma abaana.
25 Ekintu ekibi ennyo ekibaluseewo mu myaka egyakayita kwe kukwata abaana. Mu Malaysia, okukwata abaana kweyongera emirundi ena mu myaka kkumi gyokka. Mu Germany abaana nga 300,000 bakwatibwa buli mwaka, ng’ate mu nsi emu ey’omu Amereka ow’Amaserengeta, okusinziira ku kunoonyereza okumu okukoleddwa, omuwendo gw’abaana abakwatibwa buli mwaka guwerera ddala 9,000,000! Eky’ennaku ennyo, abasinga obungi ku baana bano bakwatirwa mu maka mwennyini mwe babeera, nga n’ababakwata be bantu be bamanyi era be beesiga. Naye abaana basaanidde okufuna obukuumi obw’amaanyi okuva eri abazadde baabwe. Abazadde bayinza batya okuba abakuumi?
26. Ezimu ku ngeri abaana ze bayinza okukuumibwamu ze ziruwa, era okumanya kukuuma kutya omwana?
26 Okuva ebibaddewo lwe biraga nti abaana abatalina kye bamanyi ku bya kwetaba be basinga okukwatibwa, eky’obukuumi ekikulu kwe kuyigiriza omwana, wadde ng’akyali muto. Okumanya kusobola okumukuuma obutagenda “mu kkubo ly’obubi, eri abasajja aboogera eby’ekyejo.” (Engero 2:10-12) Kumanya ki? Okumanya emisingi gya Baibuli egikwata ku mpisa entuufu n’enkyamu. Era n’okumanya nti abantu abakulu abamu bakola ebintu ebibi era nti omuto talina kubagondera bwe baba bamugamba okukola ebikolwa ebibi. (Geraageranya Danyeri 1:4, 8; 3:16-18.) Okuyigiriza nga kuno tokukola mulundi gumu gwokka. Abaana abato abasinga obungi beetaaga okuddirwamu ekintu enfunda eziwera okusobola okukijjukira obulungi. Abaana nga bagenda bakula, taata yandiwadde muwala we ekitiibwa ekimugwanira ne maama yandikoze bw’atyo eri mutabani we—mu ngeri eno omwana ayambibwa okutegeera ekisaanira. Ate era, kya lwatu nti abazadde bwe mufaayo ennyo okulabirira abaana kino kye kimu ku bisingirayo ddala okuba eby’obukuumi eri okukwatibwa.
NOONYA OBULAGIRIZI BWA KATONDA
27, 28. Ani Nsibuko esinga obukulu ey’obuyambi eri abazadde nga boolekaganye n’omulimu gw’okukuza omwana?
27 Mazima ddala, okutendeka omwana okuva mu buwere mulimu gwa maanyi, naye abazadde abakkiriza tebalina kugwolekera bokka. Edda mu nnaku z’Abalamuzi, omusajja ayitibwa Manowa bwe yakimanya nga yali agenda kuba muzadde, yasaba Yakuwa okumuwa obulagirizi bw’okukuza omwana we. Yakuwa yaddamu okusaba kwe.—Ekyabalamuzi 13:8, 12, 24.
28 Mu ngeri y’emu leero, abazadde abakkiriza nga bakuza abaana baabwe, nabo basobola okwogera ne Yakuwa okuyitira mu kusaba. Okuba omuzadde mulimu gwa maanyi, naye guvaamu emiganyulo. Abakristaayo babiri abafumbo mu Hawaii bagamba: “Olina emyaka 12 egy’okutendekeramu omwana ng’emyaka emizibu egy’obuvubuka teginnatuuka. Naye bw’oba onyiikidde okukozesa emisingi gya Baibuli, kiba kiseera kya ssanyu na mirembe bwe basalawo mu mitima gyabwe nti baagala kuweereza Yakuwa.” (Engero 23:15, 16) Omwana wo bw’asalawo bw’atyo, naawe ojja kuwalirizibwa okwogera nti: “Abaana bwe busika bwa Mukama.”
a Kyakubibwa aba Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.