Essuula Ey’ekkumi N’omunaana
“Si ba Nsi”
1. (a) Nga tannattibwa, Yesu yasaba ki ku lw’abayigirizwa be? (b) Lwaki kikulu nnyo ‘obutaba ba nsi’?
EKIRO ekyasembayo alyoke attibwe, Yesu yasabira abayigirizwa be. Ng’akimanyi nti Setaani yandibaleetedde ebizibu eby’amaanyi, Yesu yagamba Kitaawe: “Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakuumenga mu bubi. Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.” (Yokaana 17:15, 16) Lwaki kikulu nnyo okweyawula ku nsi? Kubanga Setaani ye mufuzi waayo. Abakristaayo tebaagala kubeera wansi w’obuyinza bwe.—Lukka 4:5-8; Yokaana 14:30; 1 Yokaana 5:19.
2. Mu ngeri ki Yesu gy’ataali wa nsi?
2 Yesu obutaba wa nsi tekyategeeza nti yali tayagala balala. Okwawukana ku ekyo, yawonya abalwadde, yazuukiza abafu, era n’ayigiriza abantu ku Bwakabaka bwa Katonda. Yawaayo n’obulamu bwe ku lw’abantu. Naye teyayagala ndowooza n’ebikolwa by’abo abaayoleka omwoyo gw’ensi ya Setaani. Bwe kityo, yalabula ku bintu ng’okwegomba okubi, okuluubirira ebintu, n’okunoonya ettuttumu. (Matayo 5:27, 28; 6:19-21; Lukka 20:46, 47) N’olwekyo nno, tekyewuunyisa nti Yesu yeewala eby’obufuzi by’ensi. Wadde yali Muyudaaya, teyalina ludda lw’awagira mu nkaayana z’eby’obufuzi wakati w’Abaruumi n’Abayudaaya.
“Obwakabaka Bwange Si bwa mu Nsi Muno”
3. (a) Kiki Abakulembeze b’eddiini y’Abayudaaya kye baavunaana Yesu eri Piraato, era lwaki? (b) Kiki ekyalaga nti Yesu yali tayagala kufuuka kabaka ku nsi?
3 Lowooza ku kyaliwo abakulembeze b’eddiini Abayudaaya bwe baakwata Yesu ne bamutwala ewa Pontiyo Piraato, gavana Omuruumi. Mu butuufu, abakulembeze abo baali banyiivu kubanga Yesu yali ayanise obunnanfuusi bwabwe. Nga baagala gavana oyo abeeko ky’akolawo ku Yesu, baavunaana Yesu omusango nga bagamba: “Ono twamulaba ng’akyamya eggwanga lyaffe, ng’abagaana okuwa Kayisaali omusolo, ng’ayogera yennyini okuba Kristo, kabaka.” (Lukka 23:2) Kya lwatu buno bwali bulimba kubanga emabegako abantu bwe baayagala okufuula Yesu kabaka, yagaana. (Yokaana 6:15) Yakimanya nti yali wa kubeera Kabaka ow’omu ggulu mu biseera eby’omu maaso. (Lukka 19:11, 12) Ate era, Yakuwa ye yali ow’okumufuula kabaka, so si bantu.
4. Yesu yalina ndowooza ki ku kusasula omusolo?
4 Ng’ebulayo ennaku ssatu Yesu akwatibwe, Abafalisaayo baagezaako okumukema ayogere ekintu ekyandimuviiriddeko okuvunaanibwa ku nsonga ezikwata ku kusasula omusolo. Naye yagamba: “Mundage eddinaali [essente ey’ekyuma ey’Abaruumi]. Ekifaananyi ekiriko n’obuwandiikeko by’ani?” Bwe baddamu nti “bya Kayisaali,” yabagamba nti: “Kale ebya [K]ayisaali mumusasulenga Kayisaali, n’ebya Katonda mumusasulenga Katonda.”—Lukka 20:23-25.
5. (a) Kiki Yesu kye yayigiriza abayigirizwa be abaserikale bwe bajja okumukwata? (b) Yesu yannyonnyola atya ekyo kye yali akoze? (c) Biki ebyava mu kuwozesebwa okwo?
5 Yesu teyakubiriza bantu kujeemera ba buyinza. Abaserikale n’abasajja abalala bwe bajja okumukwata, Peetero yaggyayo ekitala n’asalako okutu kw’omusajja omu. Naye Yesu yamugamba: “Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo: kubanga abo bonna abakwata ekitala balifa kitala.” (Matayo 26:51, 52) Olunaku olwaddako Yesu yannyonnyola Piraato, ng’agamba: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno: singa obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi muno, basajja bange bandirwanye ne ssiweebwayo mu Bayudaaya.” (Yokaana 18:36) Piraato yakiraba nti Yesu ‘teyalina musango.’ Naye, olw’okutya abantu, Piraato yawaayo Yesu okuwanikibwa.—Lukka 23:13-15, NW; Yokaana 19:12-16.
Abayigirizwa Bagoberera Obukulembeze bwa Yesu
6. Abakristaayo abaasooka beewala batya omwoyo gw’ensi, era baalaga batya nti baagala abantu?
6 Bwe kityo, abayigirizwa ba Yesu baategeera kye kitegeeza obutabeera ba nsi. Kyali kitegeeza okwewala omwoyo n’ebikolwa by’ensi, ebitwaliramu eby’amasanyu ebirimu ettemu n’eby’obugwenyufu ebyabanga mu bifo Abaruumi gye baakuŋŋaaniranga okwesanyusaamu. Olw’okwewala ebintu ebyo, abayigirizwa baatwalibwa okuba abantu abataagala bannaabwe. Kyokka, tebaalina bukyayi bwonna eri bantu bannaabwe, wabula baakola nnyo okuyamba abalala okuganyulwa mu nteekateeka za Katonda ez’okufuna obulokozi.
7. (a) Olw’obutabeera ba nsi, kiki ekyatuuka ku bayigirizwa abaasooka? (b) Baatunuulira batya abafuzi n’okusasula emisolo, era lwaki?
7 Abagoberezi ba Yesu nabo baayigganyizibwa, era emirundi mingi okuyigganyizibwa okwo kwavanga eri abakungu ba gavumenti abaali bategeezeddwa eby’obulimba. Kyokka, mu 56 C.E., omutume Pawulo yawandiikira Abakristaayo mu Rooma, ng’abakubiriza ‘okugondera ab’obuyinza abafuga, kubanga tewali buyinza butava eri Katonda.’ Ekyo tekitegeeza nti Yakuwa y’ateekawo gavumenti z’ensi, naye azikkirizza okubaawo okutuusa Obwakabaka bwe lwe bulitandika okufuga ensi yonna. Nga kituukirawo, Pawulo yakubiriza Abakristaayo okussa ekitiibwa mu b’obuyinza n’okusasula emisolo.—Abaruumi 13:1-7; Tito 3:1, 2.
8. (a) Abakristaayo baakoma wa okugondera ab’obuyinza abafuga? (b) Abakristaayo abaasooka baakoppa batya ekyokulabirako kya Yesu?
8 Kyokka, obuwulize eri abafuzi buliko ekkomo. Bwe wabaawo okukontana wakati w’amateeka ga Yakuwa n’ag’abantu, abo abaweereza Yakuwa bagondera mateeka ge. Weetegereze ekitabo On the Road to Civilization—A World History kye kyogera ku Bakristaayo abaasooka: “Abakristaayo baagaana okukola emirimu egimu egy’abatuuze Abaruumi. Abakristaayo . . . baawulira nti kikontana n’okukkiriza kwabwe okuyingira mu magye. Tebeetaba mu bya bufuzi. Baagaana okusinza kabaka.” Kkooti enkulu ey’Abayudaaya bwe ‘yalagira’ abayigirizwa okulekera awo okubuulira, baddamu nti: “Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu.”—Ebikolwa 5:27-29.
9. (a) Lwaki Abakristaayo badduka mu kibuga Yerusaalemi mu 66 C.E.? (b) Mu ngeri ki ekyo gye kiri ekyokulabirako eky’omuganyulo?
9 Ku bikwata ku by’obufuzi n’entalo, abayigirizwa tebaalina ludda lwe bawagira. Mu 66 C.E., Abayudaaya mu Buyudaaya baajeemera Kayisaali. Mangu ddala eggye ly’Abaruumi lyazingiza Yerusaalemi. Abakristaayo abaali mu kibuga ekyo baakola ki? Bajjukira okubuulirira kwa Yesu okw’okuva mu kibuga. Abaruumi bwe bejjulula, Abakristaayo baasomoka Omugga Yoludaani ne baddukira mu nsozi za Pella. (Lukka 21:20-24) Eky’obutabaako ludda lwe bawagira kyali kyakulabirako kirungi eri Abakristaayo abeesigwa abaddawo oluvannyuma.
Abakristaayo Abatalina Ludda Lwe Bawagira mu Nnaku ez’Oluvannyuma
10. (a) Mulimu ki Abajulirwa ba Yakuwa gwe banyiikiridde, era lwaki? (b) Tebalina ludda lwe bawagira mu nsonga ki?
10 Waliwo ekibiina kyonna mu nnaku zino ez’oluvannyuma ekitalina ludda lwe kiwagira okufaananako Abakristaayo abaasooka? Yee, be Bajulirwa ba Yakuwa. Mu kiseera kino kyonna, banyiikidde okubuulira nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okuleeta emirembe egy’olubeerera, obulamu obulungi, n’essanyu eri abo abaagala obutuukirivu. (Matayo 24:14) Naye ku bikwata ku nkaayana mu mawanga, basigadde nga tebalina ludda lwe bawagira.
11. (a) Abajulirwa obutabaako ludda lwe bawagira kyawukana kitya n’ebikolwa by’abakulembeze b’eddiini? (b) Abajulirwa ba Yakuwa balina ndowooza ki ku ebyo abalala bye bakola mu by’obufuzi?
11 Okwawukana ku ekyo, abakulembeze b’amadiini g’ensi beenyigidde mu by’obufuzi. Mu nsi ezimu bawagidde oba bavumiridde abamu ku abo abeesimbawo okulondebwa. Abakulembeze b’amadiini abamu bali mu bifo by’obufuzi. Abamu bakubiriza bannabyabufuzi okuwagira enteekateeka bo abakulembeze b’eddiini ze bawagira. Kyokka, Abajulirwa ba Yakuwa tebeenyigira mu bya bufuzi. Era tebayingirira balala bye bakola, gamba ng’okwegatta ku kibiina ky’obufuzi ekimu, okwesimbawo okulondebwa, oba okukuba obululu. Yesu yagamba nti abayigirizwa be si ba nsi, n’olwekyo Abajulirwa ba Yakuwa tebeenyigira mu bya bufuzi.
12. Amadiini g’omu nsi okubaako oludda lwe gawagira kivuddemu ki?
12 Nga Yesu bwe yalagula, enfunda n’enfunda amawanga galwanaganye. N’ebibinja mu ggwanga lye limu birwanaganye. (Matayo 24:3, 6, 7) Abakulembeze b’amadiini bawagidde agamu ku mawanga oba ebibinja ebirwanagana, era ne bakubiriza abagoberezi baabwe okukola kye kimu. Kiki ekivuddemu? Abantu abali mu ddiini emu battiŋŋanye olw’okuba amawanga gaabwe oba ebika bya njawulo. Kino kikontana n’ebyo Katonda by’ayagala.—1 Yokaana 3:10-12; 4:8, 20.
13. Obujulizi obuliwo bulaga ki ku nsonga y’Abajulirwa ba Yakuwa obutabaako ludda lwe bawagira?
13 Kyokka, Abajulirwa ba Yakuwa tebabaddeko ludda lwonna lwe bawagira mu bukuubagano bwonna. Magazini eyitibwa The Watchtower eya Noovemba 1, 1939, egamba: “Bonna abali ku ludda lwa Mukama waffe tebajja kubaako ludda lwe bawagira mu nsi ezirwanagana.” Abajulirwa ba Yakuwa mu mawanga gonna era mu buli mbeera bagoberera endowooza eno. Tebakkiriza bya bufuzi na ntalo mu nsi okwabuluzaamu oluganda lwabwe. “[Ba]weesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi, n’amafumu gaabwe okugafuula ebiwabyo.” Olw’okuba tebalina ludda lwe bawagira, tebeetaba mu ntalo nate.—Isaaya 2:3, 4; 2 Abakkolinso 10:3, 4.
14. Olw’obutaba ba nsi, kiki ekituuse ku Bajulirwa ba Yakuwa?
14 Kiki ekivudde mu butabaako ludda lwe bawagira? Yesu yagamba: “Kubanga temuli ba nsi . . . ensi kyeva ebakyawa.” (Yokaana 15:19) Bangi ku Bajulirwa ba Yakuwa basibiddwa mu makomera kubanga baweereza Katonda. Okufaananako ekyo ekyatuuka ku Bakristaayo mu kyasa ekyasooka, abamu batulugunyiziddwa, era ne battibwa. Ekyo kiri kityo kubanga Setaani “katonda ow’emirembe gino” aziyiza abaweereza ba Yakuwa, abatali ba nsi.—2 Abakkolinso 4:4; Okubikkulirwa 12:12.
15. (a) Amawanga gonna goolekedde ki, era Abajulirwa ba Yakuwa beewala ki? (b) Lwaki kikulu nnyo okweyawula ku nsi?
15 Abaweereza ba Yakuwa basanyufu olw’obutabeera ba nsi, kubanga amawanga gonna mu nsi goolekedde enkomerero yaago ku Kalumagedoni. (Danyeri 2:44; Okubikkulirwa 16:14, 16; 19:11-21) Ekyo tekijja kututuukako kubanga twewala okuba ab’ensi. Ng’abantu abali obumu okwetooloola ensi yonna, tuli beesigwa eri Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu. Kyo kituufu nti olw’obutaba ba nsi, tusekererwa era ne tuyigganyizibwa. Kyokka, mangu ddala, ebyo bijja kukoma okuva ensi eno embi eri wansi wa Setaani bw’ejja okuggibwawo ddala. Ku luuyi olulala, abo abaweereza Yakuwa bajja kubaawo emirembe gyonna mu nsi ye empya ey’obutuukirivu wansi w’Obwakabaka bwa Katonda.—2 Peetero 3:10-13; 1 Yokaana 2:15-17.
Eby’Okwejjukanya
• Yesu yalaga atya ekizingirwa mu ‘butaba ba nsi’?
• Abakristaayo abaasooka baalina ndowooza ki eri (a) omwoyo gw’ensi (b) abafuzi, ne (c) okusasula emisolo?
• Mu ngeri ki Abajulirwa ba Yakuwa mu kiseera kyaffe gye balaze nti tebalina ludda lwe bawagira ng’Abakristaayo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 165]
Yesu yannyonnyola nti ye n’abagoberezi be ‘tebaali ba nsi’