ESSUULA 15
Kye Tuyigira ku Kuba ab’Ekisa
OMANYI kye kitegeeza okuba omusosoze?—Kitegeeza obutayagala muntu olw’okuba endabika ye ya njawulo ku yiyo oba olw’okuba ayogera olulimi olutali lulwo. N’olwekyo obusosoze buzingiramu okuba n’endowooza enkyamu ku muntu nga tonnaba kumutegeera bulungi.
Olowooza kiba kirungi okugamba nti omuntu tomwagala nga tonnaba kumutegeera bulungi oba olw’okuba mwawufu ku ggwe?— Nedda, tekiba kirungi okusosola omuntu era tekiba kikolwa kya kisa. Tetusaanidde kuyisa bubi muntu olw’okuba mwawufu ku ffe.
Lowooza ku kino. Olinayo omuntu gw’omanyi nga langi ye ya njawulo ku yiyo oba ng’ayogera olulimi olutali lulwo?— Era oyinza n’okuba ng’omanyiiyo abantu abalabika nga baawufu ku balala olw’akabenje ke baafuna oba olw’obulwadde. Abantu ng’abo obaagala era obalaga ekisa?—
Bwe tuwuliriza Omuyigiriza Omukulu, Yesu Kristo, tujja kuba ba kisa eri abantu bonna. Tetusaanidde kusosola muntu olw’ensi gy’avaamu oba olwa langi ye. Tusaanidde okumulaga ekisa. Wadde nga bangi kino tebakikola, Yesu yayigiriza nti tusaanidde okulaga abantu bonna ekisa. Ka twetegereze ensonga eno.
Omuyudaaya eyasosolanga abantu abalala yajja eri Yesu n’amubuuza nti, ‘Nkole ki okusobola okubeerawo emirembe gyonna?’ Yesu yali akimanyi nti oboolyawo omusajja oyo yali ayagala amuddemu nti abantu b’eggwanga lyaffe oba aba langi yaffe, be bokka be tusaanidde okulaga ekisa. N’olwekyo mu kifo ky’okuddamu ekibuuzo kye, Yesu yamubuuza nti: ‘Amateeka ga Katonda gatugamba kukola ki?’
Omusajja yaddamu nti: ‘Oteekwa okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, era oteekwa okwagala muntu munno nga bwe weeyagala wekka.’ Yesu n’amugamba nti: ‘Ozzeemu bulungi. Kolanga bw’otyo era ojja kufuna obulamu obutaggwaawo.’
Naye omusajja oyo yali tayagala kulaga kisa oba kulaga kwagala abo abataali ba ggwanga lye. N’olwekyo, yagezaako okufunayo ensonga gye yeekwasa. Yabuuza Yesu nti: “Muntu munnange y’ani?” Ayinza okuba nga yali asuubira Yesu okumuddamu nti: “Gye mikwano gyo” oba nti, “Be bantu abakufaanana.” Okusobola okuddamu ekibuuzo kye, Yesu yamugerera olugero olukwata ku Muyudaaya n’Omusamaliya. Yamugamba bw’ati:
Waaliwo omusajja eyali ava e Yerusaalemi ng’aserengeta e Yeriko. Omusajja oyo yali Muyudaaya. Bwe yali atambula n’agwa mu banyazi. Baamukuba n’agwa wansi, ne batwala ssente ze n’engoye ze. Abanyazi baamukuba nnyo katono bamutte ne bamuleka ku mabbali g’ekkubo.
Nga wayiseewo akaseera katono, kabona yajja ng’atambula mu kkubo eryo. Yalaba omusajja eyali atuusiddwako ebisago eby’amaanyi. Ggwe kiki kye wandikoze?— Kabona yamwebalama n’adda ku luuyi olulala olw’ekkubo. Teyayimirira. Tewali kintu kyonna kye yakola okuyamba omusajja oyo.
Omusajja omulala munnaddiini naye yajja ng’atambula mu kkubo eryo. Yali Muleevi eyaweerezanga mu yeekaalu e Yerusaalemi. Yayimirira okumuyamba?— Nedda. Wabula naye yamuyitako buyisi nga kabona bwe yakola.
Oluvannyuma, Omusamaliya naye n’ajja ng’atambula. Osobola okumulaba mu kifaananyi?— Yalaba omusajja Omuyudaaya ng’agudde ku kkubo nga yenna aliko ebiwundu. Tusaanidde okukijjukira nti Abasamaliya n’Abayudaaya baali tebaagalana. (Yokaana 4:9) Kati olwo, Omusamaliya yandimuyiseeko buyisi n’atamuyamba? Yandigambye nti: ‘Lwaki nnyamba Omuyudaaya ono? Yandinnyambye singa nze mbadde nkubiddwa’?
Omusamaliya yalaba omusajja ng’agudde ku mabbali g’ekkubo, n’amusaasira. Yalaba nga tekisaanira kumuleka kufiira ku kkubo. N’olwekyo yava ku nsolo ye, n’asembera awali omusajja, n’amusiba ebiwundu. Yabifukako amafuta n’omwenge. Kino kyandiyambye ebiwundu okuwona. Oluvannyuma yasiba ebiwundu n’olugoye.
Omusamaliya yasitula omusajja oyo n’obwegendereza n’amutuuza ku nsolo ye. Baaserengeta mpolampola ne batuuka ku nnyumba omusula abatambuze. Omusamaliya yapangisiza omusajja oyo ekisenge eky’okusulamu, era n’amulabirira bulungi.
Awo Yesu n’abuuza omusajja ggwe yali ayogera naye nti: ‘Olowooza ani ku basajja bano abasatu eyali munne w’omuntu oyo eyagwa mu batemu?’ Wandizzeemu otya? Wandigambye nti kabona, oba Omuleevi, oba Omusamaliya?—
Omusajja yaddamu nti: ‘Omusajja eyayimirira n’afaayo ku musajja eyali akubiddwa ye yali munne w’omusajja oyo.’ Yesu n’amugamba nti: ‘Oli mutuufu. Naawe genda okolenga bw’otyo.’—Lukka 10:25-37.
Olugero olwo si lulungi nnyo? Lulaga bulungi abo be tusaanidde okutwala nga bannaffe. Bannaffe si gye mikwano gyaffe gyokka egy’oku lusegere. Era si beebo bokka aba langi yaffe oba aboogera olulimi lwaffe. Yesu yatuyigiriza okulaga abantu ekisa ka babe nga bava wa, bafaanana batya, oba boogera lulimi ki.
Bw’atyo ne Yakuwa Katonda bw’ali. Tasosola. Yesu yagamba nti, ‘Kitammwe ali mu ggulu omusana gwe agwakiza abantu abalungi n’ababi era enkuba ye agitonyeseza abantu abalungi n’ababi.’ N’olwekyo, tusaanidde okulaga abantu bonna ekisa nga Katonda bw’akola.—Matayo 5:44-48.
Kati olwo, bw’onoolaba omuntu ng’atuusiddwako akabi, onookola ki?— Watya singa omuntu oyo wa mu nsi ndala oba nga langi ye ya njawulo ku yiyo? Era osaanidde okumuyamba kubanga muntu munno. Bw’oba nga tosobola kumuyamba, osobola okusaba omuntu omukulu n’akuyambako. Oba oyinza okuyita owa poliisi oba omusomesa n’amuyamba. Bw’onookola bw’otyo, ojja kuba olaze ekisa ng’omusajja Omusamaliya.
Omuyigiriza Omukulu ayagala tube ba kisa. Ayagala tuyambe abantu bonna awatali kusosola. Eyo ye nsonga lwaki yagera olugero luno olw’Omusamaliya ow’ekisa.
Ku nsonga eno ey’okulaga abantu ekisa, ka babe ba langi ki oba ggwanga ki, soma Engero 19:22; Ebikolwa 10:34, 35; ne 17:26.