Essuula ey’Omunaana
Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
Kiki Baibuli ky’etuyigiriza ku Bwakabaka bwa Katonda?
Kiki Obwakabaka bwa Katonda kye bunaakola?
Obwakabaka bwa Katonda bunaatuukiriza ddi ebyo Katonda by’ayagala ku nsi?
1. Ssaala ki emanyiddwa ennyo gye tugenda okwekenneenya?
ABANTU bukadde na bukadde okwetooloola ensi bamanyi essaala eyitibwa eya Kitaffe oba eya Mukama waffe. Essaala eyo Yesu Kristo kennyini ye yagituyigiriza. Essaala eyo ya makulu nnyo, era okwekenneenya ebintu ebisatu ebisooka ebigirimu kijja kukuyamba okuyiga ebisingawo ku ekyo Baibuli ky’eyigiriza.
2. Bintu ki ebisatu Yesu bye yayogerako ng’ayigiriza abayigirizwa be okusaba?
2 Ku ntandikwa y’essaala eyo, Yesu yakubiriza abaali bamuwuliriza: “Kale musabenga bwe muti, nti Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:9-13) Ebintu bino ebisatu Yesu bye yayogerako birina makulu ki?
3. Biki bye twetaaga okumanya ku Bwakabaka bwa Katonda?
3 Twayiga ebintu bingi ku linnya lya Katonda, Yakuwa. Ate era tuyize ne ku ebyo Katonda by’ayagala kwe kugamba by’akoze era ne by’anaakolera abantu mu biseera eby’omu maaso. Kati olwo, Yesu yali ategeeza ki bwe yatugamba okusaba nti: “Obwakabaka bwo bujje”? Obwakabaka bwa Katonda kye ki? Bunaatukuza butya erinnya lya Katonda nga buzze? Era, okujja kw’Obwakabaka obwo kulina kakwate ki n’ebyo Katonda by’ayagala okukolebwa?
OBWAKABAKA BWA KATONDA KYE KI?
4. Obwakabaka bwa Katonda kye ki, era Kabaka waabwo y’ani?
4 Obwakabaka bwa Katonda ye gavumenti Yakuwa Katonda ggye yateekawo era n’alonda ne Kabaka waayo. Kabaka oyo y’ani? Ye Yesu Kristo. Yesu ye Kabaka asinga abafuzi b’ensi bonna era ayitibwa “Kabaka wa bakabaka, era Mukama w’abaami.” (1 Timoseewo 6:15) Alina obusobozi obw’okukola ebintu ebirungi okusinga omufuzi yenna ow’oku nsi.
5. Obwakabaka bwa Katonda bunaasinzirira wa okufuga, era bunaafuga wa?
5 Obwakabaka bwa Katonda bunaasinzirira wa okufuga? Lowooza ku kino, Yesu ali ludda wa? Oyinza okuba ng’ojjukira nti yawanikibwa ku muti n’attibwa, ate oluvannyuma n’azuukizibwa. Waayitawo akaseera katono, n’agenda mu ggulu. (Ebikolwa 2:33) N’olwekyo, Obwakabaka bwa Katonda buli mu ggulu. Eyo ye nsonga lwaki Baibuli ebuyita ‘Obwakabaka obw’omu ggulu.’ (2 Timoseewo 4:18) Wadde ng’Obwakabaka bwa Katonda buli mu ggulu, bujja kufuga ku nsi.—Okubikkulirwa 11:15.
6, 7. Kiki ekifuula Yesu okuba Kabaka omulungi ennyo?
6 Kiki ekifuula Yesu okuba Kabaka omulungi ennyo? Ensonga emu eri nti, talifa. Ng’eraga enjawulo eriwo wakati wa Yesu ne bakabaka b’ensi, Baibuli egamba nti ‘ye yekka atafa era atuula mu kitangaala ekitasemberekeka.’ (1 Timoseewo 6:16) Kino kiraga nti ebintu byonna ebirungi Yesu by’alikola bijja kuba bya lubeerera. Era tuli bakakafu nti bijja kuganyula abantu be.
7 Lowooza ku bunnabbi bwa Baibuli buno obwogera ku Yesu: “Omwoyo gwa Mukama gulibeera ku ye, omwoyo ogw’amagezi n’okutegeera, omwoyo ogw’okumanya n’okutya Mukama; n’okutya Mukama kw’alisanyukira: so taasalenga misango ng’okulaba kw’amaaso ge bwe kunaabanga, so taanenyenga ng’okuwulira kw’amatu ge bwe kunaabanga; naye anaasaliranga omwavu emisango gya nsonga, era anaanenyanga n’obutuukirivu olw’abawombeefu abali ku nsi.” (Isaaya 11:2-4) Ebigambo ebyo biraga nti Yesu yandibadde Kabaka mutuukirivu era afaayo ku bantu be yandifuze ku nsi. Wandyagadde omufuzi ng’oyo?
8. Baani abanaafuga ne Yesu?
8 Ate era, Yesu tajja kufuga yekka mu Bwakabaka bwa Katonda. Waliwo abalala abajja okufuga naye. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yagamba Timoseewo: ‘Bwe tugumiikiriza, tulifuga naye.’ (2 Timoseewo 2:12) Yee, Pawulo, Timoseewo, awamu n’abeesigwa abalala Katonda abalonze okufuga ne Yesu mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Bameka abanaafuna enkizo eyo?
9. Abo abanaafuga ne Yesu bali bameka, era Katonda yatandika ddi okubalonda?
9 Nga bwe kyalagibwa mu Ssuula 7 ey’akatabo kano, omutume Yokaana yafuna okwolesebwa mwe yalabira “Omwana gw’endiga [Yesu Kristo] ng’ayimiridde ku Lusozi Sayuuni, [ekifo ky’alina mu ggulu nga Kabaka] era wamu naye akasiriivu mu obukumi buna mu enkumi nnya, nga balina erinnya lye n’erinnya lya Kitaawe nga liwandiikiddwa ku byenyi byabwe.” Abo 144,000 be baani? Yokaana atugamba: “Abo be bagoberera omwana gw’endiga buli gy’agenda. Abo baagulibwa mu bantu okuba ebibala eby’olubereberye eri Katonda n’eri Omwana gw’endiga.” (Okubikkulirwa 14:1, 4) Yee, be bagoberezi ba Yesu Kristo abeesigwa abaalondebwa okufugira awamu naye mu ggulu. Oluvannyuma lw’okuzuukizibwa mu bulamu obw’omu ggulu, ‘baakufuga ku nsi’ nga bali wamu ne Yesu. (Okubikkulirwa 5:10) Okuviira ddala mu kiseera ky’abatume, Katonda azze alonda Abakristaayo abeesigwa okusobola okumalayo omuwendo gwa 144,000.
10. Lwaki abantu okufugibwa Yesu ng’ali wamu ne 144,000 kikolwa kya kwagala?
10 Abantu okufugibwa Yesu ng’ali wamu ne 144,000 kikolwa kya kwagala. Ekyo kiri kityo olw’okuba, Yesu amanyi embeera y’abantu era naye yabonaabonako. Pawulo yagamba nti Yesu ‘alumirwa wamu naffe mu bunafu bwaffe, era nti yakemebwa mu byonna nga ffe, so nga ye teyalina kibi.’ (Abebbulaniya 4:15; 5:8) N’abo abagenda okufuga naye bayise mu kubonaabona era ne bagumiikiriza embeera enzibu. Okugatta ku ekyo, balwanyisizza obutali butuukirivu bwabwe era ne bagumiikiriza endwadde eza buli ngeri. Awatali kubuusabuusa, bajja kuba bategeera bulungi ebizibu by’abo abanaaba ku nsi!
OBWAKABAKA BWA KATONDA BUNAAKOLA KI?
11. Kiki Yesu kye yagamba abayigirizwa be okusaba ku bikwata ku ebyo Katonda by’ayagala?
11 Yesu bwe yagamba abayigirizwa be okusaba Obwakabaka bwa Katonda okujja, era yabagamba n’okusaba, Katonda by’ayagala bikolebwe ‘mu nsi.’ Katonda ali mu ggulu, era by’ayagala bulijjo bibadde bikolebwa bamalayika be abeesigwa mu ggulu. Naye, mu Ssuula 3 ey’ekitabo kino, twayiga nti malayika omubi yalekera awo okukola Katonda by’ayagala era n’aleetera Adamu ne Kaawa okwonoona. Mu Ssuula 10, tujja kuyiga ebisingawo mu Baibuli ebikwata ku malayika ono omubi ayitibwa Setaani Omulyolyomi. Setaani awamu n’ebitonde ebirala eby’omwoyo ebyamugoberera, ebiyitibwa badayimooni, byalekebwa okubeera mu ggulu okumala akaseera. N’olwekyo, mu kiseera ekyo, si bonna abaali mu ggulu nti baali bakola ebyo Katonda by’ayagala. Ekyo kyandikyuse ng’Obwakabaka bwe butandise okufuga. Yesu Kristo bwe yanditudde ku ntebe nga kabaka, yandirwanyisizza Setaani.—Okubikkulirwa 12:7-9.
12. Bintu ki ebibiri ebikulu ennyo ebyogeddwako mu Okubikkulirwa 12:10?
12 Ebigambo eby’obunnabbi ebiddirira byogera ku ekyo ekyandibaddewo: “Ne mpulira eddoboozi eddene mu ggulu nga lyogera nti: Kaakano obulokozi buzze n’amaanyi n’obwakabaka bwa Katonda waffe, n’obuyinza bwa Kristo we: kubanga aloopa baganda baffe [Setaani] yasuulibwa, abaloopa mu maaso ga Katonda waffe emisana n’ekiro.” (Okubikkulirwa 12:10) Olabye ebintu ebibiri ebikulu ennyo ebyogeddwako mu lunyiriri olwo? Ekisooka, Obwakabaka obufugibwa Yesu Kristo butandika okufuga. Eky’okubiri, Setaani agobebwa mu ggulu n’asuulibwa ku nsi.
13. Biki ebivuddemu Setaani bw’agobeddwa mu ggulu?
13 Ebintu bino ebibiri bivuddemu ki? Ku bikwata ku ebyo ebyaliwo mu ggulu tusoma: “Kale musanyuke eggulu n’abatuulamu.” (Okubikkulirwa 12:12) Yee, bamalayika abeesigwa mu ggulu basanyuka olw’okuba Setaani ne badayimooni be bagobeddwa mu ggulu, era nga buli ali mu ggulu mwesigwa eri Yakuwa Katonda. Waliyo emirembe n’obumu eby’olubeerera. Kati, Katonda by’ayagala bikolebwa mu ggulu.
14. Biki ebivuddemu Setaani bw’asuuliddwa ku nsi?
14 Ate yo ensi ekwatiddwako etya? Baibuli egamba: “Zisanze ensi n’ennyanja: kubanga Omulyolyomi asse gye muli ng’alina obusungu bungi, ng’amanyi ng’alina akaseera katono.” (Okubikkulirwa 12:12) Setaani alina obusungu bungi olw’okuba yasuulibwa ku nsi era ng’alina akaseera katono. Olw’obusungu obwo obungi, aleeta ‘okubonaabona’ ku nsi. Tujja kuyiga bingi ebikwata ku ‘kubonaabona’ mu ssuula eddako. Nga tumaze okutegeera ebyo tuyinza okwebuuza, Obwakabaka buyinza butya okuleetera Katonda by’ayagala okukolebwa ku nsi?
15. Ekigendererwa kya Katonda eri ensi kye kiruwa?
15 Jjukira ekigendererwa kya Katonda eri ensi kye wayigako mu Ssuula 3. Mu Adeni, Katonda yalaga nti ekigendererwa kye kyali okufuula ensi eno olusuku lwe, nga mulimu abantu abatuukiridde ate nga tebafa. Setaani yaleetera Adamu ne Kaawa okwonoona, era ekigendererwa kya Katonda tekyatuukirira nga bwe yali ateeseteese. Wadde kyali kityo, ekigendererwa kya Katonda tekyakyuka. Yakuwa akyayagala ‘abatuukirivu okusikira ensi, era bagibeeremu emirembe gyonna.’ (Zabbuli 37:29) Era Obwakabaka bwa Katonda bwe bujja okutuukiriza ekyo. Mu ngeri ki?
16, 17. Danyeri 2:44 woogera ki ku Bwakabaka bwa Katonda?
16 Lowooza ku bunnabbi obuli mu Danyeri 2:44. Wagamba: “Mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.” Kino kitutegeeza ki ku Bwakabaka bwa Katonda?
17 Okusooka, olunyiriri lulaga nti Obwakabaka bwa Katonda bwali bwa kussibwawo “mu mirembe gya bakabaka abo,” oba ng’obwakabaka obw’oku nsi bukyafuga. Eky’okubiri, lulaga nti Obwakabaka obwo bwa kubeerawo emirembe gyonna. Tebuliwangulwa era tewali gavumenti ndala eridda mu kifo kyabwo. Eky’okusatu, lulaga nti wajja kubaawo olutalo wakati w’Obwakabaka bwa Katonda n’obwakabaka obw’omu nsi. Obwakabaka bwa Katonda bwe bujja okuwangula. Oluvannyuma lwa byonna, ye gavumenti yokka ejja okufuga abantu. Olwo abantu bajja kuba wansi w’obufuzi obusingayo obulungi.
18. Olutalo olunaabeera wakati w’Obwakabaka bwa Katonda ne gavumenti z’abantu luyitibwa lutya?
18 Baibuli eyogera bingi ku lutalo olunaaba wakati w’Obwakabaka bwa Katonda ne gavumenti z’abantu. Ng’ekyokulabirako, eyigiriza nti ng’enkomerero egenda esembera, bamalayika ababi bajja kulimba “bakabaka b’ensi zonna.” Nga balina kigendererwa ki? “Okubakuŋŋanya [ba kabaka] eri olutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna.” Bakabaka b’ensi bajja kukuŋŋanyizibwa “mu kifo ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Kalu-Magedoni.” (Okubikkulirwa 16:14, 16) Okusinziira ku ebyo ebyogeddwako mu nnyiriri ezo ebbiri, olutalo olunaasembayo wakati wa gavumenti z’abantu n’Obwakabaka bwa Katonda luyitibwa Kalu-Magedoni.
19, 20. Bintu ki ebiviiriddeko Katonda by’ayagala obutakolebwa ku nsi leero?
19 Obwakabaka bwa Katonda bunaatuukiriza ki okuyitira mu Kalu-Magedoni? Nate, lowooza ku kigendererwa kya Katonda eri ensi. Yakuwa Katonda yalina ekigendererwa ensi eno ebeere olusuku lwe, ng’erimu abantu abatuukiridde abamuweereza. Lwaki ensi si lusuku lwa Katonda kati? Okusooka byonna, tuli boonoonyi, tulwala, era tufa. Kyokka, mu Ssuula 5 twayiga nti Yesu yatufiirira tusobole okuba abalamu emirembe gyonna. Oyinza okuba okyajjukira n’ebigambo ebiri mu Njiri ya Yokaana: “Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.”—Yokaana 3:16.
20 Ensonga endala eri nti, abantu abasinga obungi bakola ebintu ebibi. Balimba, babba, era bakola eby’obugwenyufu. Tebaagala kukola ebyo Katonda by’ayagala. Abantu abakola ebintu ng’ebyo bajja kuzikirizibwa ku lutalo lwa Katonda Kalu-Magedoni. (Zabbuli 37:10) Ate era, ensonga endala eviirako Katonda by’ayagala obutakolebwa mu nsi eri nti, gavumenti tezikubiriza bantu kubikola. Era gavumenti nyingi tezifuga bulungi. Baibuli eyogera kaati: ‘Omuntu afuga muntu munne olw’okumukola obubi.’—Omubuulizi 8:9.
21. Obwakabaka bwa Katonda bunaasobozesa butya ebyo Katonda by’ayagala okukolebwa ku nsi?
21 Oluvannyuma lwa Kalu-Magedoni, abantu bajja kuba wansi wa gavumenti emu, Obwakabaka bwa Katonda. Obwakabaka obwo bujja kukola ebyo Katonda by’ayagala era buleete n’emikisa mingi. Ng’ekyokulabirako, bujja kujjawo Setaani ne badayimooni be. (Okubikkulirwa 20:1-3) Okuyitira mu Ssaddaaka ya Yesu abantu abeesigwa bajja kuba nga tebalwala era nga tebafa. Abantu bajja kubeerawo emirembe gyonna. (Okubikkulirwa 22:1-3) Ensi ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda. N’olwekyo, Obwakabaka bwa Katonda bujja kusobozesa ebyo Katonda by’ayagala okukolebwa ku nsi, era busobozese n’erinnya lya Katonda okutukuzibwa. Kino kitegeeza ki? Kitegeeza nti wansi w’Obwakabaka bwa Katonda buli muntu ajja kuwa erinnya lya Yakuwa ekitiibwa.
OBWAKABAKA BWA KATONDA BUNAATUUKIRIZA DDI EBYO KATONDA BY’AYAGALA KU NSI?
22. Lwaki tugamba nti Obwakabaka bwa Katonda tebwajja nga Yesu akyali ku nsi oba amangu ddala nga yakazuukira?
22 Yesu bwe yagamba abagoberezi be okusaba nti, “Obwakabaka bwo bujje,” kya lwatu mu kiseera ekyo Obwakabaka bwali tebunnajja. Yesu bwe yagenda mu ggulu bwajjirawo? Nedda, kubanga Peetero ne Pawulo baagamba nti nga Yesu amaze okuzuukira, obunnabbi obuli mu Zabbuli 110:1 bwatuukirira ku ye: “Mukama agamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.” (Ebikolwa 2:32-34; Abebbulaniya 10:12, 13) Waaliwo ekiseera eky’okulinda.
23. (a) Obwakabaka bwa Katonda bwatandika ddi okufuga? (b) Kiki ekinaayogerwako mu ssuula eddako?
23 Okulindirira kwandimaze bbanga ki? Mu kyasa 19, abayizi ba Baibuli baabalirira nti ekiseera ekyo eky’okulinda kyandikomye mu 1914. (Ku bikwata ku mwaka guno, laba, empapula 215-18.) Ebintu ebizze bibaawo mu nsi okuva mu 1914 bikakasa nti okubalirira okwo okw’abayizi ba Baibuli kwali kutuufu. Okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli kulaga nti mu 1914, Kristo yafuuka Kabaka era Obwakabaka obw’omu ggulu ne butandika okufuga. N’olwekyo, tuli mu ‘kaseera ako akatono’ Setaani k’asigazza. (Okubikkulirwa 12:12; Zabbuli 110:2) Era tuyinza okuba abakakafu nti, mangu ddala Obwakabaka bwa Katonda bujja kutuukiriza Katonda by’ayagala ku nsi. Gano si mawulire malungi? Okkiriza nti matuufu? Essuula eddako ejja kukuyamba okulaba nti ddala Baibuli eyigiriza ebintu ng’ebyo.
BAIBULI KY’EYIGIRIZA
▪ Obwakabaka bwa Katonda ye gavumenti ey’omu ggulu efugibwa Yesu Kristo era abantu 144,000 be bajja okufuga naye.—Okubikkulirwa 14:1, 4.
▪ Obwakabaka bwatandika okufuga mu 1914, era okuva mu kiseera ekyo Setaani yagobebwa mu ggulu n’asuulibwa ku nsi.—Okubikkulirwa 12:9.
▪ Mangu ddala Obwakabaka bwa Katonda bujja kuzikiriza gavumenti z’abantu era ensi efuuke Olusuku lwa Katonda. —Okubikkulirwa 16:14, 16.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 83]
Okugoba Setaani ne badayimooni be mu ggulu kyaviirako abali ku nsi okubonaabona. Mangu ddala okubonaabona okwo kujja kuggwaawo.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 84, 85]
Wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka, Katonda by’ayagala bijja kukolebwa ku nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu