ESSUULA 14
Yesu Atandika Okufuna Abayigirizwa
ABAYIGIRIZWA YESU BE YAAKAFUNA BATANDIKA OKUMUGOBERERA
Yesu amaze ennaku 40 mu ddungu, naye nga tannagenda Ggaliraaya asooka kuddayo eri Yokaana eyamubatiza. Yesu aba anaatera okutuuka Yokaana w’ali, Yokaana amusongako era agamba b’ali nabo nti: “Laba Omwana gw’Endiga owa Katonda, aggyawo ebibi by’ensi! Ono gwe nnayogerako nti: ‘Waliwo omuntu anvaako emabega ansinga, kubanga ye yansooka okubaawo.’” (Yokaana 1:29, 30) Wadde nga Yokaana asingako Yesu obukulu, akimanyi nti Yesu yaliwo dda ng’ekitonde eky’omwoyo mu ggulu nga tannajja ku nsi.
Wiiki ntono emabega Yesu bwe yajja eri Yokaana okubatizibwa, Yokaana teyali mukakafu nti Yesu ye yali ow’okuba Masiya. Yokaana agamba nti: “Nange nnali simumanyi, naye nnajja mbatiza mu mazzi asobole okumanyibwa eri Isirayiri.”—Yokaana 1:31.
Yokaana abuulira abantu ekyaliwo ng’abatiza Yesu. Agamba nti: “Nnalaba omwoyo nga gukka ng’ejjiba okuva mu ggulu, ne gumusigalako. Nange nnali simumanyi, naye Oyo eyantuma okubatiza mu mazzi ye yaŋŋamba nti, ‘Gw’onoolaba ng’omwoyo gumukkako era ne gumusigalako, y’oyo abatiza n’omwoyo omutukuvu.’ Ekyo nnakiraba, era mpadde obujulirwa nti ono ye Mwana wa Katonda.”—Yokaana 1:32-34.
Olunaku Yesu lw’addamu okugenda eri Yokaana, Yokaana ali wamu n’abayigirizwa babiri. Yokaana abagamba nti: “Laba Omwana gw’Endiga owa Katonda!” (Yokaana 1:36) Abayigirizwa ba Yokaana abo ababiri bwe bawulira ekyo, bagoberera Yesu. Omu ku bo ayitibwa Andereya. Ate omulala ayinza okuba nga y’oyo eyawandiika bye twogerako kati, era nga naye ayitibwa Yokaana. Kirabika Yokaana ono alina oluganda ku Yesu, kubanga mutabani wa Saalome. Ate kirabika Saalome muganda wa Maliyamu, era omwami we ye Zebedaayo.
Yesu bw’akyuka n’alaba Andereya ne Yokaana nga bamugoberera, ababuuza nti: “Munoonya ki?”
Nabo bamubuuza nti: “Labbi, obeera wa?”
Yesu abaddamu nti: “Mujje mulabeyo.”—Yokaana 1:37-39.
Essaawa ziri nga kkumi ez’olweggulo, era Andereya ne Yokaana babeera ne Yesu olw’eggulo lwonna. Andereya musanyufu nnyo era oluvannyuma bw’asanga muganda we Simooni, era ayitibwa Peetero, amugamba nti: “Tuzudde Masiya.” (Yokaana 1:41) Andereya atwala Peetero eri Yesu. Ebiddirira biraga nti ne Yokaana asanga muganda we Yakobo n’amutwala eri Yesu; kyokka Yokaana bwe yali awandiika ebyo ebyaliwo, teyawandiika ku nsonga eno.
Ku lunaku oluddako, Yesu asisinkana Firipo, ow’e Besusayida. Besusayida kiri ku luuyi olw’ebukiikakkono olw’ennyanja y’e Ggaliraaya, era nga kye kibuga Andereya ne Peetero gye bazaalibwa. Yesu agamba Firipo nti: “Beera mugoberezi wange.”—Yokaana 1:43.
Oluvannyuma Firipo asanga Nassanayiri, era ayitibwa Battolomaayo, era amugamba nti: “Tusanze Yesu omwana wa Yusufu ow’e Nazaaleesi, Musa gwe yawandiikako mu Mateeka era ne Bannabbi gwe baawandiikako.” Naye Nassanayiri abuusabuusa era agamba Firipo nti: “Waliwo ekirungi ekiyinza okuva e Nazaaleesi?”
Firipo agamba Nassanayiri nti, “Jjangu olabe.” Nassanayiri aba anaatera okutuuka awali Yesu, Yesu agamba nti: “Laba Omuyisirayiri wawu, ataliimu bukuusa.”
Nassanayiri abuuza Yesu nti: “Kijja kitya okuba nti ommanyi?”
Yesu amuddamu nti: “Nnakulabye ng’otudde wansi w’omutiini nga Firipo tannakuyita.”
Nassanayiri yeewuunya nnyo era agamba nti: “Labbi, ggwe Mwana wa Katonda, ggwe Kabaka wa Isirayiri.”
Yesu amugamba nti: “Okkirizza olw’okuba nkugambye nti nnakulabye wansi w’omutiini? Ojja kulaba ebintu ebisinga bino.” Era agattako nti: “Mazima ddala mbagamba nti mujja kulaba eggulu nga libikkuse, nga bamalayika ba Katonda bambuka era nga bakka eri Omwana w’omuntu.”—Yokaana 1:45-51.
Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu awamu n’abayigirizwa be yaakafuna, bava mu Kiwonvu kya Yoludaani ne bagenda e Ggaliraaya.