ESSUULA 43
Engero Ezikwata ku Bwakabaka
MATAYO 13:1-53 MAKKO 4:1-34 LUKKA 8:4-18
YESU AGERA ENGERO EZIKWATA KU BWAKABAKA
Yesu w’anenyeza Abafalisaayo ayinza okuba ng’ali Kaperunawumu. Oluvannyuma ku olwo, ava mu nnyumba n’atambula n’agenda ku Nnyanja y’e Ggaliraaya, ekibiina ky’abantu ne kikuŋŋaana. Yesu atuula mu lyato n’avaako katono ku lubalama n’atandika okuyigiriza abantu ebikwata ku Bwakabaka obw’omu ggulu. Ayigiriza ng’akozesa ebyokulabirako oba engero eziwerako. Ayogera ku bintu bangi ku abo abamuwuliriza bye bamanyi obulungi ekyo ne kibayamba okutegeera obulungi ebintu ebitali bimu by’ayogerako ebikwata ku Bwakabaka.
Okusookera ddala, Yesu ayogera ku musizi asiga ensigo. Ezimu ku nsigo zigwa ku mabbali g’ekkubo ebinyonyi ne bizirya. Endala zigwa awali enjazi awatali ttaka lingi. Okuva bwe kiri nti emirandira gyazo tegiyingira munda mu ttaka, enjuba bw’evaayo ezookya ne zikala. Ensigo endala zigwa mu maggwa, era bwe zimera amaggwa gatta ekimera ekyakatandika okukula. Ate ensigo ezimu zigwa ku ttaka eddungi. Ensigo ezo zikula ne zibala ebibala, “emu n’ebala n’ekubisaamu emirundi 100, endala emirundi 60, ate endala emirundi 30.”—Matayo 13:8.
Mu lugero olulala, Yesu ageraageranya Obwakabaka ku ekyo ekibaawo ng’omuntu asize ensigo. Mu mbeera eyo, omuntu oyo k’abe nga yeebase oba ng’atunula, ensigo zigenda mu maaso n’okukula. Naye omuntu oyo “tamanya ngeri ekyo gye kibaawo.” (Makko 4:27) Ensigo zikula zokka ne zivaamu empeke z’asobola okukungula.
Oluvannyuma, Yesu agera olugero olw’okusatu olukwata ku kusiga ensigo. Omuntu asiga ensigo ennungi mu nnimiro ye, naye ‘abantu bwe baba beebase,’ omulabe ajja n’asiga omuddo mu ŋŋaano. Abaddu ba nnannyini nnimiro bamubuuza obanga yandyagadde bagende bakuule omuddo ogwo mu ŋŋaano. Abagamba nti: “Nedda; kubanga bwe munaaba mugukuulamu muyinza okukuuliramu eŋŋaano. Mubireke bikulire wamu okutuusa ku makungula; era mu kiseera eky’amakungula ndigamba abakunguzi nti: Musooke mukuŋŋaanye omuddo, mugusibe mu binywa okwokebwa; oluvannyuma mulyoke mukuŋŋaanyize eŋŋaano mu tterekero lyange.”—Matayo 13:24-30.
Bangi ku abo abawuliriza Yesu bategeera bulungi eby’obulimi. Yesu era ayogera ku kintu ekimanyiddwa ennyo, nga kano ke kasigo ka kalidaali akatono ennyo. Akasigo ako kakula ne kavaamu omuti omunene ne kiba nti ebinyonyi bisobola okujja ne bibeera mu matabi gaagwo. Ng’ayogera ku kasigo ako, Yesu agamba nti: “Obwakabaka obw’omu ggulu bulinga akasigo ka kalidaali omuntu ke yasimba mu nnimiro.” (Matayo 13:31) Kyokka, Yesu tayigiriza bantu bikwata ku bimera. Mu kifo ky’ekyo, alaga engeri ey’ekyewuunyo akantu akatono ennyo gye kayinza okukula oba okugaziwa ne kavaamu ekintu ekinene ennyo.
Oluvannyuma Yesu ayogera ku kintu ekirala abamuwuliriza kye bamanyi obulungi. Ageraageranya Obwakabaka obw’omu ggulu ku ‘kizimbulukusa omukazi kye yatabula mu bipimo bisatu eby’obuwunga.’ (Matayo 13:33) Wadde ng’ekizimbulukusa kiba tekirabibwa na maaso, kibuna eŋŋaano yonna n’ezimbulukuka. Enkyukyuka ze kireetawo, mu kusooka, tezirabika.
Oluvannyuma lw’okugera engero ezo, Yesu asiibula ekibiina ky’abantu n’addayo mu nnyumba mw’asula. Wayita ekiseera kitono, abayigirizwa be ne bajja gy’ali nga baagala okumanya amakulu g’ebyo by’abadde ayogera.
BAGANYULWA MU NGERO ZA YESU
Abayigirizwa babaddenga bawulira Yesu ng’akozesa engero, naye tebamuwulirangako ng’akozesa engero nnyingi omulundi gumu nga bw’akoze. Bamubuuza nti: “Lwaki oyogera nabo ng’okozesa ngero?”—Matayo 13:10.
Emu ku nsonga lwaki akola bw’atyo kwe kuba nti ekyo kituukiriza obunnabbi obuli mu Byawandiikibwa. Enjiri ya Matayo egamba nti: “Teyayogeranga nabo nga takozesezza ngero, ebyo nnabbi bye yayogera ne bituukirira, ebigamba nti: ‘Ndyogera nga nkozesa ngero; ndimanyisa ebintu ebyakwekebwa okuva ku kutondebwa kw’ensi.’”—Matayo 13:34, 35; Zabbuli 78:2.
Waliwo n’ensonga endala lwaki Yesu akozesa engero. Ekyo kiyamba mu kumanya endowooza z’abantu. Bangi ku abo abawuliriza Yesu bamutwala ng’omusajja agera obugezi engero ennungi era akola obukozi ebyamagero. Tebamutwala nga Mukama waabwe gwe basaanidde okugondera n’okugoberera. (Lukka 6:46, 47) Si beetegefu kukyusa ndowooza zaabwe wadde okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe. Tebakkiriza bubaka Yesu bw’abuulira kutuuka ku mitima gyabwe.
Bw’aba addamu ekibuuzo ky’abayigirizwa, Yesu agamba nti: “Eyo ye nsonga lwaki njogera nabo nga nkozesa ngero, kubanga batunula naye tebalaba, bawuliriza naye tebawulira, era tebategeera makulu gaabyo. Obunnabbi bwa Isaaya butuukiridde ku bo. Bugamba nti: ‘. . . Omutima gw’abantu bano gugubye.’”—Matayo 13:13-15; Isaaya 6:9, 10.
Kyokka si bwe kityo bwe kiri eri abantu bonna abawuliriza Yesu. Agamba nti: “Mulina essanyu kubanga amaaso gammwe galaba, n’amatu gammwe gawulira. Mazima mbagamba nti, bannabbi bangi n’abantu abatuukirivu beegomba okulaba ebintu bye mulaba naye ne batabiraba, era n’okuwulira ebintu bye muwulira naye ne batabiwulira.”—Matayo 13:16, 17.
Mu butuufu, abatume 12 n’abayigirizwa abalala abeesigwa emitima gyabwe si mikakanyavu. Eyo ye nsonga lwaki Yesu agamba nti: “Mmwe muweereddwa okumanya ebikwata ku byama ebitukuvu eby’Obwakabaka obw’omu ggulu, naye bo tebaweereddwa.” (Matayo 13:11) Olw’okuba baagala nnyo okutegeera amakulu g’ebyo by’ayigiriza, Yesu annyonnyola abayigirizwa be amakulu g’olugero lw’omusizi.
Yesu agamba nti: “Ensigo kye kigambo kya Katonda.” (Lukka 8:11) Ate ettaka likiikirira omutima. Okumanya ebintu ebyo kikifuula kyangu okutegeera amakulu g’olugero olwo.
Ng’ayogera ku nsigo ezigwa ku mabbali g’ekkubo ne zirinnyirirwa, Yesu agamba nti: ‘Omulyolyomi ajja n’aggya ekigambo mu mitima gyabwe baleme okukkiriza balokolebwe.’ (Lukka 8:12) Mu kwogera ku nsigo ezaagwa awali enjazi, Yesu alaga nti abantu abamu bakkiriza ekigambo n’essanyu naye ne kitasimba makanda mu mitima gyabwe. “Bwe wabaawo okubonaabona oba okuyigganyizibwa olw’ekigambo,” beesittala. Mu butuufu, ‘ekiseera ky’okugezesebwa’ bwe kijja, oboolyawo nga bayigganyizibwa ab’eŋŋanda zaabwe oba abantu abalala, bagwa.—Matayo 13:21; Lukka 8:13.
Ate ensigo ezigwa mu maggwa? Yesu agamba nti zikiikirira abantu abawulira ekigambo, naye ne bakkiriza “okweraliikirira okw’omu kiseera kino n’obulimba bw’obugagga” okubalemesa okuweereza Katonda. (Matayo 13:22) Ekigambo kisigibwa mu mitima gyabwe naye ne kizika ne batabala bibala.
Ate era Yesu ayogera ku ttaka eddungi. Wano Yesu ayogera ku abo abawulira ekigambo ne bakikkiriza mu mitima gyabwe, ne bategeera amakulu gaakyo. Biki ebivaamu? “Babala ebibala.” Olw’okuba embeera zaabwe zaawukana, ng’abamu balwadde ate ng’abalala bakaddiye, bonna tebasobola kukola kye kimu; abamu babala ne bakubisaamu emirundi 100, abalala emirundi 60, ate abalala emirundi 30. Mu butuufu, abo abafuna emikisa mu kuweereza Katonda “beebo, oluvannyuma lw’okuwulira ekigambo n’omutima omulungi ddala abakinywererako era ne babala ebibala n’obugumiikiriza.”—Lukka 8:15.
Ebigambo ebyo biteekwa okuba nga bikutte nnyo ku bayigirizwa abagenze eri Yesu nga baagala abannyonnyole ebisingawo! Kati beeyongedde okutegeera engero z’akozesezza ng’ayigiriza. Yesu ayagala bategeere bulungi engero ezo nabo basobole okuzinnyonnyola abalala. Agamba nti: “Ettaala tevuunikibwako kibbo, era teteekebwa wansi wa kitanda. Eteekebwa ku kikondo kyayo, si bwe kiri?” Bwe kityo, Yesu agamba nti: “Buli alina amatu awulire.”—Makko 4:21-23.
ABAYIGIRIZA EBINTU EBIRALA BINGI
Yesu bw’amala okubannyonnyola ebikwata ku lugero lw’omusizi, abayigirizwa baagala okumanya ebisingawo. Bamugamba nti: “Tunnyonnyole olugero lw’omuddo mu nnimiro.”—Matayo 13:36.
Mu kumusaba abannyonnyole ebisingawo, abayigirizwa bakiraga nti ba njawulo nnyo ku bantu abalala abawulirizza Yesu ku lubalama. Wadde ng’abantu abo bawulidde engero Yesu z’ageze, tebaagala kumanya makulu gaazo n’engeri gye bayinza okukolera ku ebyo ebizirimu. Bamativu n’ebitono bye bawulidde ebikwata ku ngero ezo. Yesu akiraga nti waliwo enjawulo ya maanyi wakati w’abantu abo n’abayigirizwa be abazze gy’ali nga baagala okumanya ebisingawo. Agamba nti:
“Musseeyo omwoyo ku ebyo bye muwulira. Ekipima kye mukozesa okupimira abalala, nammwe kye bajja okukozesa okubapimira, era n’ebirala biribongerwako.” (Makko 4:24) Abayigirizwa bassizzaayo omwoyo ku ebyo Yesu by’ayigiriza. Olw’okuba bassizzaayo omwoyo, Yesu abayigiriza ebintu ebirala bingi. Bwe kityo abannyonnyola ebikwata ku lugero olw’eŋŋaano n’omuddo, ng’agamba nti:
“Eyasiga ensigo ennungi ye Mwana w’omuntu; ennimiro ye nsi. Ensigo ennungi be baana b’Obwakabaka, naye omuddo be baana b’omubi, era omulabe eyagusiga ye Mulyolyomi. Amakungula ze nnaku ez’enkomerero, era abakunguzi be bamalayika.”—Matayo 13:37-39.
Oluvannyuma lw’okulaga buli kimu ekiri mu lugero olwo kye kikiikirira, Yesu ayogera ku ebyo ebinaavaamu. Agamba nti mu nnaku ez’enkomerero, abakunguzi, oba bamalayika, bajja kwawulawo Abakristaayo ab’obulimba abali ng’omuddo okuva ku “baana b’Obwakabaka.” “Abatuukirivu” bajja kukuŋŋaanyizibwa era oluvannyuma bajja kwakaayakana “mu Bwakabaka bwa Kitaabwe.” Ate kiki ekinaatuuka ku “baana b’omubi”? Bajja kuzikirizibwa. N’olwekyo tekyewuunyisa nti bajja ‘kukaaba era balume obujiji.’—Matayo 13:41-43.
Oluvannyuma Yesu agerera abayigirizwa be engero endala ssatu. Okusooka, agamba nti: “Obwakabaka obw’omu ggulu bulinga eky’obugagga ekyakwekebwa mu kibanja, omuntu kye yazuula n’akikweka; era olw’essanyu lye yalina yagenda n’atunda ebintu bye byonna n’agula ekibanja ekyo.”—Matayo 13:44.
Agattako nti: “Obwakabaka obw’omu ggulu bulinga omusuubuzi anoonya luulu ennungi. Bwe yazuula luulu ey’omuwendo omungi, n’agenda amangu ago n’atunda ebintu byonna bye yalina n’agigula.”—Matayo 13:45, 46.
Mu ngero ezo zombi, Yesu ayogera ku muntu omwetegefu okwefiiriza asobole okufuna ekintu eky’omuwendo ennyo. Amangu ddala, omusuubuzi atunda ‘ebintu byonna by’alina’ asobole okufuna luulu ey’omuwendo omungi. Abayigirizwa ba Yesu bategeera bulungi olugero olukwata ku luulu ey’omuwendo. Era n’omuntu azuula eky’obugagga ekyakwekebwa mu kibanja “atunda ebintu bye byonna” asobole okufuna eky’obugagga ekyo. Mu mbeera ezo zombi, waliwo ekintu eky’omuwendo omuntu ky’alina okukakasa nti afuna. Ekyo kiraga nti omuntu alina okubaako bye yeefiiriza okusobola okukola ku byetaago bye eby’omwoyo. (Matayo 5:3) Abamu ku abo abawuliriza Yesu balina bingi bye bakoze okusobola okuyiga ebikwata ku Katonda n’okubeera abagoberezi ba Yesu ab’amazima.—Matayo 4:19, 20; 19:27.
Ate era Yesu ageraageranya Obwakabaka obw’omu ggulu ku katimba akakwasa ebyennyanja ebya buli ngeri. (Matayo 13:47) Ebyennyanja bwe byawulibwamu, ebirungi biteekebwa mu bisero ate ebibi ne bisuulibwa. Yesu agamba nti bwe kityo bwe kiriba ku mafundikira g’enteekateeka y’ebintu. Bamalayika bajja kwawula ababi ku batuukirivu.
Yesu bwe yayita abayigirizwa be abaasooka ‘okufuuka abavubi b’abantu,’ yali avuba mu ngeri ey’eby’omwoyo. (Makko 1:17) Kyokka, Yesu agamba nti olugero lw’akatimba lwa kutuukirizibwa mu kiseera eky’omu maaso, “mu mafundikira g’enteekateeka y’ebintu.” (Matayo 13:49) Bwe kityo, abatume n’abayigirizwa abalala abawuliriza Yesu bakiraba nti waliwo ebintu eby’ekitalo ebijja okubaawo mu biseera eby’omu maaso.
Abo abaawulidde Yesu ng’agera engero ng’ali mu lyato, beeyongedde okuyiga ebintu bingi. Yesu akiraga nti mwetegefu ‘okunnyonnyola abayigirizwa be ebintu byonna nga bali bokka.’ (Makko 4:34) Yesu “alinga omuntu alina ennyumba ye, aggya mu tterekero lye ebintu ebipya n’ebikadde.” (Matayo 13:52) Mu kugera engero ezo, Yesu tagezaako kweraga nga bw’alina obusobozi obw’ekitalo obw’okuyigiriza. Mu kifo ky’ekyo, ayagala okumanyisa abayigirizwa be amazima ag’omuwendo ennyo. Tewali kubuusabuusa nti Yesu muyigiriza mulungi nnyo.