ESSUULA 121
“Mugume! Nze Mpangudde Ensi”
MU KASEERA KATONO ABATUME BAJJA KUBA TEBAKYALABA YESU
ENNAKU Y’ABATUME EJJA KUFUULIBWA SSANYU
Yesu n’abatume banaatera okuva mu kisenge ekya waggulu gye bakwatidde embaga ey’Okuyitako. Oluvannyuma lw’okubagamba ebintu ebiwerako, Yesu agattako nti: “Mbabuulidde ebintu bino muleme kwesittala.” Lwaki Yesu abalabula? Agamba nti: “Abantu balibagoba mu kkuŋŋaaniro. Mu butuufu, ekiseera kijja, buli anaabattanga alowooze nti aweereza Katonda.”—Yokaana 16:1, 2.
Ekyo kiyinza okweraliikiriza ennyo abatume. Wadde ng’emabegako Yesu yabagamba nti ensi ejja kubakyawa, teyabagamba butereevu nti bajja kuttibwa. Lwaki? Yesu agamba nti: “Ebintu bino saabibabuulira mu kusooka kubanga nnali nammwe.” (Yokaana 16:4) Naye kati abibabuulira nga tannagenda. Ekyo kijja kubayamba obuteesittala.
Yesu era agamba nti: “Ŋŋenda eri oyo eyantuma; kyokka tewali n’omu ku mmwe ambuuza nti ‘Ogenda wa?’” Wayiseewo ekiseera kitono nga baakamubuuza gy’agenda. (Yokaana 13:36; 14:5; 16:5) Naye kati buli omu munakuwavu olw’okuba abagambye ebikwata ku kuyigganyizibwa. Eyo ye nsonga lwaki tewali n’omu ku bo amubuuza ebikwata ku kitiibwa ky’ajja okufuna oba engeri ekyo kye kinaaganyulamu abaweereza ba Katonda ab’amazima. Yesu abagamba nti: “Olw’okuba mbabuulidde ebintu bino, emitima gyammwe gijjudde ennaku.”—Yokaana 16:6.
Oluvannyuma Yesu abagamba nti: “Okugenda kwange kuganyula mmwe. Kubanga bwe sigenda omuyambi tajja kujja gye muli; naye bwe ŋŋenda nja kumubaweereza.” (Yokaana 16:7) Yesu alina kumala kufa na kugenda mu ggulu abayigirizwa be balyoke bafune omwoyo omutukuvu, era asobola okuguweereza abantu be ka babe mu kifo ki ku nsi, gubayambe.
Omwoyo omutukuvu “ajja kuwa ensi obukakafu obumatiza ku kibi, ku butuukirivu, ne ku kusala omusango.” (Yokaana 16:8) Kijja kweyoleka kaati nti ensi egaanye okukkiririza mu Mwana wa Katonda. Yesu okugenda mu ggulu kijja kulaga obutuukirivu bwe era kijja kulaga ensonga lwaki Sitaani, “omufuzi w’ensi eno,” agwanidde okusalirwa omusango.—Yokaana 16:11.
Yesu era agamba nti: “Nkyalina ebintu bingi eby’okubabuulira naye temuyinza kubitegeera kati.” Bw’anaabafukako omwoyo omutukuvu, gujja kubayamba “okutegeerera ddala amazima,” basobole okugatambulizaako obulamu bwabwe.—Yokaana 16:12, 13.
Ebigambo Yesu by’azzaako byewuunyisa nnyo abatume. Abagamba nti: “Mu kaseera katono mugenda kuba temukyandaba, ate wayitewo akaseera katono mundabe.” Bonna beebuuza ky’ategeeza. Yesu akimanya nti baagala kumubuuza ku ebyo by’ayogedde, n’olwekyo abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti, mujja kukaaba era mukube ebiwoobe, naye ensi ejja kusanyuka; mujja kunakuwala, naye ennaku yammwe ejja kufuulibwa ssanyu.” (Yokaana 16:16, 20) Yesu bw’anaattibwa, abakulembeze b’eddiini bajja kusanyuka naye abayigirizwa be banakuwale. Kyokka Yesu bw’anaazuukizibwa, ennaku yaabwe ejja kufuuka ssanyu! Ate era bajja kweyongera okufuna essanyu bw’anaabafukako omwoyo gwa Katonda omutukuvu.
Yesu ageraageranya embeera y’abatume ku bulumi omukazi bw’abaamu ng’azaala. Agamba nti: “Omukazi bw’aba azaala aba mu bulumi, kubanga ekiseera kye kiba kituuse; naye bw’amala okuzaala omwana, aba takyajjukira bulumi olw’essanyu ly’aba nalyo nti omuntu azaaliddwa mu nsi.” Yesu abazzaamu amaanyi ng’abagamba nti: “Nammwe kati mulumwa; naye nja kuddamu okubalaba era emitima gyammwe gijja kusanyuka, era tewali ajja kubaggyako ssanyu lyammwe.”—Yokaana 16:21, 22.
N’okutuusa kati, abatume tebannasaba kintu kyonna nga bayitira mu linnya lya Yesu. Abagamba nti: “Ku lunaku olwo mulisaba Kitange mu linnya lyange.” Lwaki balina okusaba mu linnya lye? Si lwa kuba nti Kitaawe tayagala kuddamu kusaba kwabwe. Mu butuufu, Yesu agamba nti: “Kitange kennyini abaagala olw’okuba munjagala era mukkirizza nti nnajja kukiikirira Kitange.”—Yokaana 16:26, 27.
Ebigambo bya Yesu ebyo birina okuba nga bizizzaamu abatume amaanyi era bagamba nti: “Tukkiriza nti wava eri Katonda.” Okukkiriza kwabwe kunaatera okugezesebwa, era Yesu abagamba nti: “Laba! Mazima ddala, ekiseera kijja era kituuse musaasaane buli omu adde ewuwe mundeke nzekka.” Naye abakakasa nti: “Mbabuulidde ebintu bino musobole okuba n’emirembe okuyitira mu nze. Mujja kuba n’ennaku mu nsi, naye mugume! Nze mpangudde ensi.” (Yokaana 16:30-33) Yesu tabaabulidde bwabulizi. Mukakafu nti nabo basobola okuwangula ensi nga bakola byonna Katonda by’ayagala, wadde nga Sitaani n’abo abali ku ludda lwe bajja kugezaako okwonoona enkolagana yaabwe ne Katonda.