ESSOMO 62
Obwakabaka Obulinga Omuti Omunene
Lumu ekiro, Nebukadduneeza yaloota ekirooto ekitiisa. Yayita abasajja be abagezigezi bamubuulire amakulu g’ekirooto ekyo, naye tewali n’omu yamubuulira makulu gaakyo. Oluvannyuma kabaka yayita Danyeri n’amubuulira ekirooto ekyo.
Nebukadduneeza yagamba Danyeri nti: ‘Mu kirooto nnalabye omuti ogwakula ne gutuukira ddala ku ggulu. Gwabadde gusobola okulengerwa mu nsi yonna. Gwabaddeko ebikoola ebirabika obulungi n’ebibala bingi. Ensolo zaabadde ziwummulira wansi waagwo, era nga n’ebinyonyi biri ku matabi gaagwo. Oluvannyuma malayika yavudde mu ggulu n’agamba nti: “Muteme omuti, era mugutemeko amatabi gaagwo. Kyokka muleke ekikonge n’emirandira gyakyo mu ttaka era mukisibeko olukoba olw’ekyuma n’olw’ekikomo. Omutima gw’omuti gujja kukyuka gulekere awo okuba ogw’omuntu gufuuke ogw’ensolo era ebiseera musanvu biyitewo. Abantu bonna bajja kumanya nti Katonda ye Mufuzi era nti obwakabaka abuwa oyo yenna gw’ayagala.”’
Yakuwa yategeeza Danyeri amakulu g’ekirooto ekyo, era Danyeri yatya nnyo. Yagamba kabaka nti: ‘Ai kabaka, kyandibadde kirungi singa ekirooto kino kibadde kikwata ku balabe bo, naye kikwata ku ggwe. Omuti omunene ogwatemeddwa ye ggwe. Obwakabaka bwo bugenda kukuggibwako era ogenda kulya omuddo ng’ensolo ez’omu nsiko. Naye olw’okuba malayika yagambye baleke ekikonge n’emirandira gyakyo mu ttaka, ojja kuddamu okuba kabaka.’
Nga wayise omwaka gumu, Nebukadduneeza bwe yali atambula waggulu ku nnyumba mu lubiri lwe nga yeetegereza engeri Babulooni gye kyali kirabika obulungi, yagamba nti: ‘Laba ekibuga kino ekirabika obulungi kye nnazimba. Nga ndi wa kitiibwa nnyo!’ Bwe yali akyayogera ebigambo ebyo, eddoboozi lyava mu ggulu ne ligamba nti: ‘Nebukadduneeza! Obwakabaka bwo bukuggiddwako.’
Mu kiseera ekyo, Nebukadduneeza yagwa eddalu era n’atandika okweyisa ng’ensolo ez’omu nsiko. Yagobebwa mu lubiri n’atandika okubeera ku ttale n’ensolo ez’omu nsiko. Enviiri za Nebukadduneeza zaakula okwenkana ebyoya by’empungu, era enjala ze ne ziwanvuwa ng’ez’ebinyonyi.
Oluvannyuma lw’emyaka musanvu, Nebukadduneeza yaddamu okutegeera era Yakuwa n’addamu n’amufuula kabaka wa Babulooni. Nebukadduneeza yagamba nti: ‘Ntendereza Yakuwa, kabaka asingayo okuba waggulu. Kati nkimanyi nti Yakuwa ye Mufuzi. Atoowaza abantu ab’amalala, era awa obwakabaka oyo yenna gw’aba ayagadde okubuwa.’
“Amalala gaviirako omuntu okugwa, era okwegulumiza kuviirako omuntu okwesittala.”—Engero 16:18