ESSOMO 80
Yesu Alonda Abatume Ekkumi n’Ababiri
Oluvannyuma lw’okumala omwaka nga gumu n’ekitundu ng’abuulira, Yesu yalina okusalawo ku nsonga enkulu ennyo. Baani be yandironze okukolera awamu naye? Baani be yanditendese okutwala obukulembeze mu kibiina Ekikristaayo? Okusobola okusalawo ku nsonga ezo, Yesu yali yeetaaga obulagirizi bwa Yakuwa. Bwe kityo, yagenda ku ku lusozi yekka n’asaba ekiro kyonna. Enkeera ku makya, Yesu yayita abamu ku bayigirizwa be n’alondamu abatume 12. Omanyi amannya g’abatume ba Yesu 12? Amannya gaabwe ge gano: Peetero, Andereya, Yakobo, Yokaana, Firipo, Battolomaayo, Tomasi, Matayo, Yakobo mutabani wa Alufaayo, Saddayo, Simooni, ne Yuda Isukalyoti.
Abatume abo 12 baali ba kutambulanga ne Yesu. Oluvannyuma lw’okubatendeka, Yesu yabatuma okugenda bokka okubuulira. Yakuwa yawa abatume abo amaanyi okugoba dayimooni n’okuwonya abantu endwadde.
Yesu yagamba nti abatume abo ekkumi n’ababiri baali mikwano gye era yali abeesiga. Abafalisaayo baali batwala abatume abo okuba abantu abataasoma era aba wansi. Naye Yesu yabatendeka okukola omulimu ogw’okubuulira. Abatume abo baali wamu ne Yesu ng’ebula ekiseera kitono attibwe era n’oluvannyuma lw’okuzuukira kwe. Okufaananako Yesu, abasinga obungi ku batume 12 baali b’e Ggaliraaya. Abamu ku bo baali bafumbo.
Abatume abo baali tebatuukiridde era baakolanga ensobi. Oluusi baayogeranga nga tebasoose kulowooza era oluusi baasalangawo mu ngeri etali ya magezi. Ebiseera ebimu tebaabanga bagumiikiriza. Ate era baakaayana bokka na bokka ku ani ku bo eyali asinga obukulu. Naye baali bantu balungi era baali baagala nnyo Yakuwa. Abatume abo be baali bagenda okuba omusingi gw’ekibiina Ekikristaayo oluvannyuma lwa Yesu okuddayo mu ggulu.
“Mbayise mikwano gyange kubanga mbategeezezza ebintu byonna bye nnawulira okuva eri Kitange.”—Yokaana 15:15