ESSOMO 52
Lwaki Kikulu Okufaayo ku Nnyambala Yaffe ne ku Ndabika Yaffe?
Buli muntu alina engeri gy’ayagala okwambalamu n’okwekolako. Bwe tukolera ku misingi egiri mu Bayibuli, tusobola okusalawo okwambala engoye ze twagala era nga zisaana mu maaso ga Yakuwa. Ka tulabe egimu ku misingi egyo.
1. Misingi ki gye tusaanidde okulowoozaako nga tusalawo engeri gye tunaayambalamu n’engeri gye tuneekolako?
Tusaanidde ‘okwambala ebyambalo ebisaana, ebiweesa ekitiibwa, ebiraga nti tuli beegendereza,’ era endabika yaffe esaanidde okulaga nti ‘tuwa Katonda ekitiibwa.’ (1 Timoseewo 2:9, 10) Lowooza ku misingi egyo ena: (1) Ebyambalo byaffe birina okuba nga ‘bisaana.’ Nga bw’okirabye mu nkuŋŋaana zaffe, Abajulirwa ba Yakuwa tetwambala mu ngeri y’emu, naye ennyambala yaffe n’engeri gye twekolako biraga nti tussa ekitiibwa mu Katonda gwe tusinza. (2) Okwambala ebyambalo “ebiweesa ekitiibwa” kitegeeza nti ennyambala yaffe terina kuleetera balala kufuna birowoozo bibi oba kutumalirako birowoozo. (3) Tukiraga nti ‘tuli beegendereza’ nga tetumala gakoppa buli musono oguba guzze ku mulembe. (4) Endabika yaffe bulijjo esaanidde okukyoleka nti ‘twemalidde ku Katonda,’ era n’abalala ne baba nga bakiraba nti tusinza Katonda ow’amazima.—1 Abakkolinso 10:31.
2. Ennyambala yaffe eyinza kukwata etya ku bakkiriza bannaffe?
Wadde nga tulina eddembe okwambala n’okwekolako mu ngeri gye tuba twagadde, tusaanidde okulowooza ku ngeri endabika yaffe gy’eyinza okukwata ku balala. Tulina okufuba ennyo obuteesittaza muntu yenna, wabula tusaanidde ‘okusanyusanga bannaffe ku lw’obulungi bwabwe, tusobole okubazimba.’—Soma Abaruumi 15:1, 2.
3. Ennyambala yaffe eyinza etya okuleetera abalala okutandika okusinza Yakuwa?
Wadde nga tufuba okwambala mu ngeri esaana buli kiseera, okusingira ddala tufaayo nnyo ku ngeri gye twambalamu nga tugenda mu nkuŋŋaana, oba nga tugenda okubuulira. Tetwagala ndabika yaffe eremese balala kuwuliriza bubaka bwaffe obukulu ennyo. Endabika yaffe esobola okuleetera abalala okuwuliriza obubaka bwe tubabuulira, era ‘n’okulungiya okuyigiriza kw’Omulokozi waffe.’—Tito 2:10.
YIGA EBISINGAWO
Laba engeri gye tuyinza okukakasaamu nti ennyambala yaffe n’endabika yaffe eraga nti ddala tuli Bakristaayo.
4. Ennyambala yaffe bw’eba ennungi, kiba kiraga nti tuwa Yakuwa ekitiibwa
Ensonga esinga obukulu lwaki tusaanidde okufaayo ku ndabika yaffe y’eruwa? Soma Zabbuli 47:2, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Okuba nti tukiikirira Yakuwa, kisaanidde kukwata kitya ku ngeri gye twambalamu?
Olowooza kya magezi okufaayo ku ndabika yaffe bwe tuba tugenda mu nkuŋŋaana oba okubuulira? Lwaki ogamba bw’otyo?
5. Engeri y’okusalawo obulungi ku bikwata ku nnyambala n’okwekolako
Engoye zaffe ka zibe nga za bbeeyi oba nga si za bbeeyi, zisaanidde okuba nga nnyonjo era nga zituukana n’ekyo kye tuba tukola oba kye tuba tuliko. Soma 1 Abakkolinso 10:24 ne 1 Timoseewo 2:9, 10. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku nsonga lwaki tusaanidde okwewala okwambala engoye . . .
ennene ennyo oba ez’ekisaazisaazi.
ezitukwata, ezitangaala, oba ezireetera abalala okufuna ebirowoozo ebibi.
Wadde ng’Abakristaayo tebali wansi w’Amateeka ga Musa, amateeka ago gatuyamba okumanya endowooza ya Yakuwa. Soma Ekyamateeka 22:5, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Lwaki tusaanidde okwewala okwambala n’okwekolako mu ngeri ereetera abasajja okulabika ng’abakazi oba abakazi okulabika ng’abasajja?
Soma 1 Abakkolinso 10:32, 33 ne 1 Yokaana 2:15, 16, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Lwaki tusaanidde okukakasa nti ennyambala yaffe teyeesittaza balala mu kitundu gye tubeera oba mu kibiina?
Misono ki egy’engoye n’engeri y’okwekolako abantu bye bettanira mu kitundu kyo?
Olowooza egimu ku misono egyo giyinza okuba nga si mirungi eri Abakristaayo? Lwaki ogamba bw’otyo?
ABAMU BAGAMBA NTI: “Nnina eddembe okwambala nga bwe njagala.”
Okkiriziganya n’endowooza eyo? Lwaki ogamba bw’otyo?
MU BUFUNZE
Bwe tusalawo obulungi ku ngeri gye twambalamu n’engeri gye twekolako, kiba kiraga nti tussa ekitiibwa mu Katonda era ne mu bantu bannaffe.
Okwejjukanya
Lwaki Yakuwa akwatibwako olw’engeri gye twambalamu n’engeri gye twekolako?
Egimu ku misingi gye tusaanidde okulowoozaako nga tusalawo engeri gye tunaayambalamu n’engeri gye tuneekolako gye giruwa?
Endabika yaffe eyinza kukwata etya ku ngeri abalala gye batwalamu okusinza okw’amazima?
LABA EBISINGAWO
Laba engeri ennyambala yo gy’eyinza okukwata ku ngeri abalala gye bakutwalamu.
Laba ensonga lwaki kya magezi okusooka okulowooza nga tonnaba kwekuba ttatu.
Laba emisingi emirala egisobola okutuyamba okusalawo obulungi.
“Engeri gy’Oyambalamu Eweesa Katonda Ekitiibwa?” (Omunaala gw’Omukuumi, Ssebutemba 2016)
Kiki ekyayamba omukyala omu okufuna endowooza ennuŋŋamu ku ngeri abalala gye bambalamu ne gye beekolako?
“Ennyambala n’Okwekolako Byali Nkonge Gyendi” (Awake!, Ddesemba 22, 2003)