ESSOMO 53
Salawo mu Ngeri Esanyusa Yakuwa ng’Olonda eby’Okwesanyusaamu
Yakuwa ye “Katonda omusanyufu.” (1 Timoseewo 1:11) Ayagala naffe tube basanyufu era tunyumirwe obulamu. Kimusanyusa bw’alaba nga tufunyeeyo obudde okuwummulako n’okwesanyusaamu. Mu ssomo lino, tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukozesaamu ebiseera eby’okwesanyusaamu mu ngeri etuleetera essanyu era esanyusa Yakuwa.
1. Kiki kye tusaanidde okujjukira bwe tuba nga tusalawo engeri y’okwesanyusaamu?
Kiki ky’otera okukola mu biseera byo eby’eddembe? Abamu baagala kubeera waka nga baliko ekitabo kye basoma, ennyimba ze bawuliriza, nga balaba firimu, oba nga bali ku Intaneeti. Ate abalala baagala okubaako ekintu eky’enjawulo kye bakola nga bali wamu ne mikwano gyabwe, gamba ng’okutambulako mu bifo ebitali bimu, okuwuga, oba okuzannya emizannyo egitali gimu. Ka tube nga tulonze bya kwesanyusaamu bya kika ki, birina okuba nga ‘bikkirizibwa mu maaso ga Mukama waffe.’ (Abeefeso 5:10) Kikulu nnyo okutegeera ensonga eno, kubanga eby’okwesanyusaamu ebisinga obungi leero birimu ebintu Yakuwa by’akyawa, gamba ng’ebikolwa eby’obukambwe, ebikolwa eby’obugwenyufu, n’eby’obusamize. (Soma Zabbuli 11:5.) Kiki ekinaatuyamba okulonda eby’okwesanyusaamu ebirungi?
Bwe tulonda emikwano egyagala Yakuwa, gisobola okutuzimba era n’okutuyamba okulonda eby’okwesanyusaamu ebirungi. Nga bwe twalaba mu ssomo eryaggwa, “omuntu atambula n’ab’amagezi naye ajja kuba wa magezi.” Ku luuyi olulala, bwe tuba nga tukolagana nnyo n’abantu abataagala kukolera ku mitindo gya Katonda, ‘tujja kugwa mu mitawaana.’—Engero 13:20.
2. Lwaki tusaanidde okussaawo ekkomo ku biseera bye tumala nga twesanyusaamu?
Eby’okwesanyusaamu bye tulonda ne bwe biba nga birungi, tusaanidde okwegendereza tuleme kubimalirako biseera bingi nnyo. Bwe tutakola tutyo, tuyinza obutaba na biseera bimala kukola bintu ebisinga obululu. Bayibuli etukubiriza ‘okukozesa obulungi ebiseera byaffe.’—Soma Abeefeso 5:15, 16.
YIGA EBISINGAWO
Manya engeri gy’oyinza okusalawo obulungi ku bikwata ku by’okwesanyusaamu.
3. Weewale eby’okwesanyusaamu ebitasaana
Lwaki tusaanidde okwegendereza nga tusalawo engeri y’okwesanyusaamu? Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.
Emizannyo gy’Abaruumi egy’edda, gifaananako gitya n’ebimu ku by’okwesanyusaamu ebiriwo leero?
Mu vidiyo eyo, kiki Danny kye yayiga ku by’okwesanyusaamu?
Soma Abaruumi 12:9, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Olunyiriri olwo lusobola lutya okukuyamba okulonda eby’okwesanyusaamu ebirungi?
Ebimu ku bintu Yakuwa by’akyawa bye biruwa? Soma Engero 6:16, 17 ne Abaggalatiya 5:19-21. Oluvannyuma lw’okusoma buli kyawandiikibwa, mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Ku bintu ebyogeddwako mu nnyiriri ezo, biruwa ebitera okuba mu by’okwesanyusaamu bingi leero?
Engeri y’okulondamu eby’okwesanyusaamu ebisaana
Weebuuze:
Biki? Birimu ebintu Yakuwa by’akyawa?
Ddi? Biyingirira ebiseera byange eby’okukoleramu ebintu ebisinga obukulu?
Baani? Bindeetera okukolagana n’abantu abatayagala Yakuwa oba okubeera ennyo nabo?
Kiba kya magezi bulijjo obutasemberera kintu eky’obulabe. Eyo ye nsonga lwaki tusaanidde okwewala eby’okwesanyusaamu bye tulowooza nti biyinza obutaba birungi gye tuli
4. Kozesa bulungi ebiseera byo
Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.
Wadde ng’ow’oluganda mu vidiyo eyo ebintu bye yali alaba tebyali bibi, engeri gye yali akozesaamu ebiseera bye yamukosa etya?
Soma Abafiripi 1:10, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Olunyiriri olwo luyinza lutya okutuyamba okusalawo ebiseera bye tulina okumala nga twesanyusaamu?
5. Londa eby’okwesanyusaamu ebirungi
Wadde ng’eby’okwesanyusaamu ebimu tebisanyusa Yakuwa, waliwo ebirala bingi ebinyuma era nga bimusanyusa. Soma Omubuulizi 8:15 ne Abafiripi 4:8, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Byakwesanyusaamu ki by’onyumirwa?
ABAMU BAGAMBA NTI: “Tewali kikyamu kiri mu kulaba bya kwesanyusaamu ebirimu ebikolwa eby’obukambwe, eby’obugwenyufu, oba eby’obusamize, kasita mba nga nze ebintu ebyo sibikola.”
Ggwe olowooza otya?
MU BUFUNZE
Yakuwa ayagala tulonde eby’okwesanyusaamu ebisaana.
Okwejjukanya
Byakwesanyusaamu bya ngeri ki Abakristaayo bye basaanidde okwewala?
Lwaki tusaanidde okussaawo ekkomo ku biseera bye tumala nga twesanyusaamu?
Lwaki wandironze eby’okwesanyusaamu ebirungi mu maaso ga Yakuwa?
LABA EBISINGAWO
Laba ani avunaanyizibwa ku by’okwesanyusaamu by’olondawo.
“Abajulirwa ba Yakuwa Bawera Firimu, Ebitabo, oba Ennyimba Ezimu?” (Kiri ku mukutu)
Laba engeri gy’oyinza okusalawo obulungi ku bikwata ku by’okwesanyusaamu.
“Eby’Okwesanyusaamu by’Olondawo Bikuganyula?” (Omunaala gw’Omukuumi, Okitobba 15, 2011)
Mu kitundu ekirina omutwe, “Nnalekera Awo Okusosola,” laba ensonga lwaki omusajja omu yalekayo eby’okwesanyusaamu bye yali anyumirwa.
“Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu” (Omunaala gw’Omukuumi, Jjulaayi 1, 2010)
Laba engeri maama omu gy’asalawo obulungi ku bikwata ku by’okwesanyusaamu ebirimu eby’obusamize.